Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Mwagalanenga”

“Mwagalanenga”

“Mwagalanenga”

“Mbawa etteeka eriggya, mwagalanenga; nga bwe mbadde mbaagala, nammwe bwe muba mwagalana. Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.”​—YOKAANA 13:34, 35.

Kye Kitegeeza: Kristo yagamba abagoberezi be okwagalana nga naye bwe yabaagala. Yabalaga atya okwagala? Yesu yali wa njawulo ku bantu abasinga obulungi abaaliwo mu kiseera kye. Yali tasosola, era yalaganga abantu bonna okwagala. (Yokaana 4:7-10) Okwagala kwamuleetera okukozesa ebiseera bye, amaanyi ge, n’okubaako ebintu bye yeefiiriza okusobola okuyamba abalala. (Makko 6:30-34) Mu butuufu, Yesu yalaga okwagala ku kigero ekisingirayo ddala. Yagamba nti: “Nze musumba omulungi; omusumba omulungi awaayo obulamu bwe ku lw’endiga.”​—Yokaana 10:11.

Engeri Abakristaayo Abaasooka Gye Baalaga Okwagala: Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo beeyitanga ‘ba luganda.’ (Firemooni 1, 2) Abantu ab’amawanga ag’enjawulo baali baanirizibwa mu kibiina Ekikristaayo kubanga baali bakimanyi nti “tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani. Bonna Mukama waabwe y’omu.” (Abaruumi 10:11, 12) Oluvannyuma lwa Pentekooti, mu mwaka 33 E.E., abayigirizwa mu Yerusaalemi “baatundanga ebintu byabwe, ssente ezaavangamu ne bazigabana okusinziira ku bwetaavu bwa buli omu.” Lwaki baakola batyo? Baakola batyo kisobozese abayigirizwa abapya abaali baakabatizibwa okusigala mu Yerusaalemi beeyongere “okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.” (Ebikolwa 2:41-45) Kiki ekyakubiriza Abakristaayo okukola ekyo? Nga tewannayita myaka 200 oluvannyuma lw’abatume okufa, munnabyafaayo ayitibwa Tertullian yagamba nti abantu baali boogera bwe bati ku Bakristaayo: “Abantu bano nga baagalana nnyo . . . era beetegefu n’okufiirira bannaabwe!”

Baani Abalaga Okwagala ng’Okwo Leero? Ekitabo ekimu eky’ebyafaayo kigamba nti abantu abeeyita Abakristaayo “bazze bakola ebikolwa eby’obukambwe ku Bakristaayo bannaabwe. Mu butuufu, baleetede bannaabwe okubonaabona ennyo okusinga abantu abatali Bakristaayo bwe bakoze.” Okunoonyereza okumu okwakolebwa mu Amerika kwalaga nti abantu bangi abettanira eby’eddiini basosola abantu aba langi endala. Abantu ab’eddiini emu mu nsi emu tebaba na kakwate konna na bantu balala eb’eddiini eyo abali mu nsi endala. N’olwekyo, tebalaba bwetaavu bwa kuyambagana.

Mu 2004, oluvannyuma lw’omuyaga gwa mirundi ena okukosa essaza ly’e Florida mu bbanga lya myezi ebiri, oyo eyali akulira ogw’okudduukirira abantu abaali bakozeddwa akatyabaga mu kitundu ekyo yajja okulaba obanga ebintu ebyali biweereddwayo okuyamba abantu b’omu kitundu ekyo byali bikozesebwa bulungi. Yagamba nti tewaaliwo kibiina kyalina nteekateeka nnungi ng’eky’Abajulirwa ba Yakuwa, era yeeyama okubawa ebintu bye baali beetaaga okuyamba abalala. Emabegako mu 1997, Abajulirwa ba Yakuwa baatwala eddagala, emmere, n’engoye mu Democratic Republic of Congo okudduukirira baganda baabwe awamu n’abantu abalala abaali mu bwetaavu. Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu Bulaaya be baali bawaddeyo ebintu ebyo ebyali bibalirirwamu ddoola akakadde kalamba.