Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Si ba Nsi”

“Si ba Nsi”

“Si ba Nsi”

“Ensi ebakyaye, kubanga si ba nsi nga nange bwe siri wa nsi.”​—YOKAANA 17:14.

Kye Kitegeeza: Olw’okuba Yesu teyali wa nsi, teyalinaako ludda lw’awagira mu by’obufuzi era teyeenyigiranga mu bukuubagano bw’ensi obwaliwo mu kiseera kye. Yagamba nti: “Singa Obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, abantu bange bandirwanye ne siweebwayo eri Abayudaaya. Naye Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yokaana 18:36) Ate era yakubiriza abagoberezi be okwewala ekintu kyonna ekivumirirwa mu Kigambo kya Katonda.​—Matayo 20:25-27.

Engeri Abakristaayo ab’Omu Kyasa Ekyasooka Gye Baakiragamu nti Tebaali ba Nsi: Omuwandiisi omu ayitibwa Jonathan Dymond yagamba nti Abakristaayo abaasooka “baagaana okwenyigira mu ntalo; ka kibe nti ekyo kyali kiyinza okubaviirako okukyayibwa abantu abalala, okusibwa mu kkomera, oba okuttibwa.” Baalondawo okubonaabona, mu kifo ky’okuba ekitundu ky’ensi. Ate era n’engeri gye beeyisangamu yali ebafuula okuba ab’enjawulo ku bantu abalala. Omutume Peetero yagamba Abakristaayo nti: “[Abantu] basoberwa olw’okuba temukyatambulira wamu nabo mu mpisa zaabwe embi ennyo, era babavuma.” (1 Peetero 4:4) Munnabyafaayo eyali ayitibwa Will Durant yagamba nti abakaafiiri ‘abaali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu baali tebaagala Bakristaayo olw’okuba baali bakolera ku Bayibuli ky’egamba era nti baali bamalako abakaafiiri abo emirembe.’

Baani Leero Abatali Kitundu kya Nsi? Ekitabo ekiyitibwa New Catholic Encyclopedia kigamba nti: “Kikyamu okugaana okwenyigira mu ntalo.” Ate magazini emu ey’omu Switzerland yagamba nti amakanisa gonna geenyigira mu kitta bantu ekyali e Rwanda mu 1994, “okuggyako Abajulirwa ba Yakuwa.”

Omusomesa omu owa siniya bwe yali ayogera ku bikolobero ebyakolebwa Abanazi, yagamba nti “tewaliiwo kibiina kyonna kyavaayo kugamba nti kyali tekikkiriziganya na bulimba bw’Abanazi awamu n’ebintu ebibi bye baakola.” Naye oluvannyuma lw’okunoonyereza, yakitegeera nti Abajulirwa ba Yakuwa baanywerera ku nzikiriza zaabwe wadde nga baatulugunyizibwa nnyo.

Ate kiri kitya ku bikwata ku bufumbo n’eby’okwegatta? Magazini eyitibwa U.S. Catholics yagamba nti: “Abavubuka Abakatuliki abasinga obungi tebakkiriziganya n’ekyo Kkereziya ky’eyogera ku bantu okubeera awamu nga si bafumbo ne ky’eyogera ku by’okwegatta. Magazini eyo yayogera ku mukulembeze w’eddiini omu eyagamba nti: “Abantu kimu kya kubiri abafumbiriganwa, baba baatandika dda okubeera awamu.” Ekitabo ekiyitibwa The New Encyclopædia Britannica kigamba nti ebyo “Bayibuli by’eyogera ku kwegatta ne ku bufumbo, Abajulirwa ba Yakuwa babitwala nga bikulu nnyo.”