Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Ogitwala Otya?

Bayibuli Ogitwala Otya?

Ogitwala . . .

  • ng’ekitabo ky’abazungu?

  • ng’ekitabo ky’engero n’enfumo?

  • ng’Ekigambo kya Katonda?

BAYIBULI KY’EGAMBA

“Buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda.”​—2 Timoseewo 3:16, Enkyusa ey’Ensi Empya.

OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO

Oba osobola okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebikulu bye weebuuza.​—Engero 2:1-5.

Oba osobola okufuna obulagirizi obusobola okukuyamba mu bulamu bwo.​—Zabbuli 119:105.

Oba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso.​—Abaruumi 15:4.

TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA

Lwa nsonga nga ssatu:

  • Ekwatagana. Bayibuli yawandiikibwa abantu nga 40 ab’enjawulo mu bbanga erisukka mu myaka 1,600. Abasinga obungi ku bo tebaalabaganako. Kyokka bye baawandiika bikwatagana!

  • Erimu ebyafaayo ebituufu. Abawandiisi b’ebyafaayo tebatera kwogera ku kuwangulwa kw’amawanga gaabwe. Naye abawandiisi ba Bayibuli baawandiika ku nsobi zaabwe n’ez’eggwanga lyabwe.​—2 Ebyomumirembe 36:15, 16; Zabbuli 51:1-4.

  • Obunnabbi bwayo butuukirira. Bayibuli yayogera ku kuzikirizibwa kw’ekibuga Babulooni ng’ebulayo emyaka nga 200. (Isaaya 13:17-22) Yalaga n’engeri ekibuga ekyo gye kyandizikiriziddwamu awamu n’erinnya ly’oyo eyandikizikirizza!​—Isaaya 45:1-3.

    Mu Bayibuli mulimu obunnabbi obulala bungi nnyo obwatuukirizibwa. Ekyo si kye twandisuubidde mu Kigambo kya Katonda?​—2 Peetero 1:21.

KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO

Oganyulwa otya ng’ogoberedde Ekigambo kya Katonda?

Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ISAAYA 48:17, 18 ne 2 TIMOSEEWO 3:16, 17.