Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bino Byonna Bitegeeza Ki?

Bino Byonna Bitegeeza Ki?

Bino Byonna Bitegeeza Ki?

YESU KRISTO yagamba nti: Entalo, enjala, kawumpuli, ne musisi bye bimu ku byandiraze nti tuli mu ‘mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.’​Matayo 24:1-8, NW; Lukka 21:10, 11.

Okuviira ddala mu 1914 embeera y’obulamu eyonoonese nnyo olw’entalo ezizze zibaawo wakati w’amawanga n’ebika by’abantu, ng’emirundi mingi ziva ku bakulembeze b’amadiini okweyingiza mu by’obufuzi, era nga kati zeeyongedde nnyo olw’ebikolwa bya bannalukalala.

Wadde nga wabaddewo okukulaakulana mu bya sayansi, obukadde n’obukadde bw’abantu okwetooloola ensi tebalina mmere emala. Buli mwaka abantu bukadde na bukadde bafa enjala.

Kawumpuli, kwe kugamba, okusaasaana kw’endwadde ez’akabi, kye kimu ku bikola akabonero Yesu ke yayogerako. Oluvannyuma lwa Ssematalo I, sseseeba yatta abantu abasukka mu 21,000,000. Obutafaananako biseera eby’edda endwadde lwe zaakosanga akatundu obutundu ak’ensi, sseseeba yakosa amawanga mangi okwetooloola ensi nga mw’otwalidde n’ebizinga ebyesudde. Kati mukenenya atta abantu bangi okwetooloola ensi, ate ng’endwadde nga akafuba, omusujja gw’ensiri, obulwadde obuziba amaaso, n’endwadde endala zikyasimbye amakanda mu mawanga agakyakula.

Kigambibwa nti musisi ali ku bipimo eby’enjawulo ayita emirundi nkumi na nkumi buli mwaka. Wadde nga waliwo ebyuma ebisobola okukozesebwa okumanya ebikwata ku musisi, amawulire agafuluma galaga nti musisi akyakosa ebitundu bingi.

Baibuli era yalagula nti: “Tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda, nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo, era nabo obakubanga amabega.”​—2 Timoseewo 3:1-5.

Ggwe tokkiriza nti tuli mu ‘biro bya kulaba nnaku’?

Okyetegerezza nti okusinga bwe kyali kibadde abantu beerowoozako nnyo, baagala nnyo ensimbi, era ba malala nnyo?

Ani ayinza okukiwakanya nti ensi ejjudde abantu abatasiima, abatayagala kutabagana na balala, n’abatali beesigwa?

Okimanyi bulungi nti obutagondera bazadde awamu n’obutayagala ba luganda byeyongedde nnyo, si mu kitundu kimu kyokka naye okwetooloola ensi yonna?

Awatali kubuusabuusa okiraba nti tuli mu nsi eyagala ennyo eby’amasanyu kyokka nga teyagala kirungi. Baibuli bw’etyo bw’ennyonnyola engeri abantu gye bandyeyisizaamu eyandibaddewo mu “nnaku ez’oluvannyuma.”

Waliwo obukakafu obulala obwetaagibwa okusobola okutegeera ebiseera bye tulimu? Yesu yagamba nti mu kiseera kye kimu ekyo, amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gandibuuliddwa mu nsi yonna. (Matayo 24:14) Ekyo kikolebwa?

Magazini eyitibwa Omunaala gw’Omukuumi, eyeesigamiziddwa ku Baibuli era erangirira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Yakuwa, ekubibwa mu nnimi nnyingi okusinga magazini endala zonna.

Buli mwaka, Abajulirwa ba Yakuwa bamala essaawa ezisukka mu kawumbi nga babuulira abalala ku Bwakabaka bwa Katonda.

Bakuba ebitabo ebinnyonnyola Baibuli mu nnimi nga 400, ka zibe ezo ezoogerwa abantu abatono ennyo oba ezo ezoogerwa mu bitundu ebyesudde. Abajulirwa ba Yakuwa batuuse mu mawanga gonna nga babuulira amawulire amalungi; era batuuse ne mu bizinga n’ebitundu ebiralala bingi ebitamanyiddwa nnyo. Mu nsi ezisinga obungi balina enteekateeka ennungi ez’okuyigiriza abantu Baibuli obutayosa.

Mazima ddala, amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gabuulirwa mu nsi yonna, ng’ekigendererwa si kukyusa buli omu, wabula okuwa obujulirwa. Abantu okwetooloola ensi baweereddwa akakisa okulaga obanga baagala okumanya ani yatonda eggulu n’ensi, era obanga banassa ekitiibwa mu mateeka ge awamu n’okulaga bantu bannaabwe okwagala.​—Lukka 10:25-27; Okubikkulirwa 4:11.

Mangu ddala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kulongoosa ensi nga buggyawo ababi bugifuule olusuku lwa Katonda.​—Lukka 23:43.

[Akasanduuko akali ku lupapula 6]

Nnaku za Nkomerero Yaaki?

Zino si nnaku za nkomerero y’olulyo lw’omuntu. Abo abakola Katonda by’ayagala, Baibuli ebawa essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna.​—Yokaana 3:16, 36; 1 Yokaana 2:17.

Era si nnaku za nkomerero ya nsi. Ekigambo kya Katonda kisuubiza nti ensi eno etuuliddwamu ejja kubeerawo emirembe gyonna.​—Zabbuli 37:29; 104:5; Isaaya 45:18.

Wabula, nnaku za nkomerero y’enteekateeka eno embi ejjudde obukambwe era n’ey’abantu abagiwagira.​—Engero 2:21, 22.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Ddala Baibuli Kigambo kya Katonda?

Bannabbi b’omu Baibuli baakiddiŋŋananga emirundi mingi nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Yakuwa.’ (Isaaya 43:14; Yeremiya 2:2) Ne Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, yakiggumiza nti ‘bye yayogeranga teyabyogeranga ku bubwe.’ (Yokaana 14:10) Baibuli yennyini ekiraga kaati nti: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda.”​—2 Timoseewo 3:16.

Ekitongole ekiyitibwa United Bible Societies kiraga nti, ng’oggyeko Baibuli, teri kitabo kirala ekikubiddwa mu nnimi ezisukka mu 2,200. Teri kitabo kirala kyonna ekisaasaanyiziddwa nga Baibuli, era nga kati Baibuli ezisaasaanyiziddwa zisukka mu buwumbi buna. Ekyo si kye wandisuubidde ku bubaka bwa Katonda eri abantu bonna?

Okumanya mu bujjuvu obujulizi obulaga nti Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda, laba akatabo The Bible​God’s Word or Man’s?, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

Singa osoma Baibuli ng’otegeerera ddala nti Kigambo kya Katonda, ojja kufunamu emiganyulo mingi.

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8]

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Ye gavumenti ey’omu ggulu eyoleka obufuzi bwa Yakuwa, Katonda ow’amazima, eyatonda eggulu n’ensi. ​—Yeremiya 10:10, 12.

Baibuli eraga nti Yesu Kristo Katonda gw’awadde obuyinza okufuga. (Okubikkulirwa 11:15) Bwe yali ku nsi Yesu yakyoleka bulungi nti yalina obuyinza obwamuweebwa Katonda. Obuyinza obwo bwe bwamusobozesa okusirisa omuyaga, okuwonya endwadde ez’ebika byonna, n’okuzuukiza abafu. (Matayo 9:2-8; Makko 4:37-41; Yokaana 11:11-44) Obunnabbi bwa Baibuli obwaluŋŋamizibwa bwalagula nti Katonda yandimuwadde “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka, abantu bonna, amawanga n’ennimi bamuweerezenga.” (Danyeri 7:13, 14) Gavumenti eyo eyitibwa Obwakabaka obw’omu ggulu; era nga Yesu Kristo asinziira mu ggulu okufuga.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

Okubuulira amawulire amalungi okwetooloola ensi