‘Ekiseera eky’Omusango Kituuse’
‘Ekiseera eky’Omusango Kituuse’
EKITABO eky’Okubikkulirwa ekisembayo mu Baibuli, kitutegeeza ku malayika ali mu bbanga ng’alina ‘enjiri ey’emirembe n’emirembe.’ Ayogera n’eddoboozi ddene nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa, kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.” (Okubikkulirwa 14:6, 7) ‘Ekiseera eky’omusango’ kizingiramu okulangirira omusango Katonda gw’asaze era n’okugussa mu nkola. Ekiseera ekyo kye kijja okuba entikko ‘y’ennaku ez’oluvannyuma.’ Kati tuli mu nnaku ezo ez’oluvannyuma.—2 Timoseewo 3:1.
Okuba nti ‘ekiseera eky’omusango’ kituuse, mawulire malungi eri abaagala obutuukirivu. Ekyo kye kiseera Katonda w’anaaleetera obuweerero eri abaweereza be ababonyeebonye mu nteekateeka zino ez’ebintu ezijjudde obukambwe.
Ng’okuzikirizibwa kw’enteekateeka zino embi ez’ebintu tekunnafundikira ‘kiseera kino eky’omusango,’ tukubirizibwa: ‘Mutye Katonda era mumuwe ekitiibwa.’ Bw’otyo bw’okola? Kino tekitegeeza kugamba bugambi nti ‘nzikiririza mu Katonda.’ (Matayo 7:21-23; Yakobo 2:19, 20) Okutya Katonda kwandituleetedde okumuwa ekitiibwa era n’okukyawa obubi. (Engero 8:13) Kwanditusobozesezza okwagala ekirungi ne tukyawa ekibi. (Amosi 5:14, 15) Singa tuwa Katonda ekitiibwa, tujja kumuwuliriza n’obwegendereza. Tetujja kulagajjalira kusoma Kigambo kye, Baibuli, olw’okuba tulina eby’okukola bingi. Ekiseera kyonna tujja kumwesiga n’omutima gwaffe gwonna. (Zabbuli 62:8; Engero 3:5, 6) Abo abamussaamu ekitiibwa, bakitegeera nti olw’okuba ye Mutonzi w’eggulu n’ensi, ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, era baagala okumugondera nga bamanyi nti y’alina obuyinza ku bulamu bwabwe. Bwe kiba nti tulina we twetaaga okulongoosaamu mu nsonga zino, ka tukikole mu bwangu.
Ekiseera malayika kye yayogerako eky’okussa mu nkola omusango Katonda gw’asaze, era kimanyiddwa nga ‘olunaku lwa Yakuwa.’ Olunaku nga luno lwatuuka ku Yerusaalemi eky’edda mu 607 B.C.E. olw’okubanga abantu abaakirimu baali tebafuddeyo ku kulabula okwabaweebwa Yakuwa okuyitira mu bannabbi be. Okulowooza nti olunaku lwa Yakuwa lwali lukyali wala nnyo kyayongera kussa bulamu bwabwe mu kabi. So nga Yakuwa yali abalabudde nti: “Luli kumpi, era lwanguwa mangu nnyo.” (Zeffaniya 1:14) ‘Olunaku lwa Yakuwa’ olulala lwatuuka ku Babulooni eky’edda mu 539 B.C.E. (Isaaya 13:1, 6) Nga beesiga bbuggwe waabwe ne bakatonda baabwe, Abababulooni tebassaayo mwoyo eri okulabula okwabaweebwa bannabbi ba Yakuwa. Kyokka, mu kiro kimu Babulooni eky’amaanyi kyawambibwa Abameedi n’Abaperusi.
Kiki kye twolekedde leero? ‘Olunaku lwa Yakuwa’ olulala olukulu ennyo. (2 Peetero 3:11-14) Katonda amaze okusalira “Babulooni Ekinene” omusango. Mu Okubikkulirwa 14: 8, malayika ayogera bw’ati: “Kigudde kigudde Babulooni ekinene.” Ekyo kyamala dda okutuukirira. Babulooni Ekinene tekikyasobola kukugira basinza ba Yakuwa. Obukuusa bwakyo n’engeri gye kyenyigidde mu ntalo bimanyise buli wamu. Kaakano okuzikirizibwa kwakyo kusembedde. N’olw’ensonga eyo, Baibuli ekubiriza abantu bonna nti: “Mukifulumemu [Babulooni Ekinene] . . . muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye. Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebyonoono bye.”—Okubikkulirwa 18:4, 5.
Babulooni Ekinene kye Ki? Ye nteekateeka y’amadiini mu nsi yonna agalina bye gafaanaganya ne Babulooni eky’edda. (Okubikkulirwa, essuula 17, 18) Weetegereze ebimu ku ebyo:
• Bakabona mu Babulooni eky’edda benyigiranga mu by’obufuzi. Bwe kityo bwe kiri ne mu madiini mangi leero.
• Bakabona ba Babulooni baakubirizanga eggwanga lyabwe okwenyigira mu ntalo. Amadiini agaliwo mu biseera bino, emirundi mingi gawadde abajaasi emikisa ng’amawanga gagenda okulwanagana.
• Enjigiriza n’ebikolwa ebyali mu Babulooni eky’edda byaleetera eggwanga lyonna okwenyigira mu by’obugwenyufu. Abakulembeze b’amadiini leero bwe basudde omuguluka emisingi gya Baibuli egikwata ku mpisa, obugwenyufu bweyongedde mu bo bennyini era ne mu abo be bakulembera. Olw’okuba Babulooni Ekinene kyenda n’ensi awamu n’enteekateeka ez’eby’obufuzi, ekitabo ky’Okubikkulirwa kikifaananyiriza ku mwenzi.
• Baibuli era egamba nti Babulooni Ekinene ‘kyejalabya.’ Mu Babulooni eky’edda, yeekaalu yabanga n’ettaka ddene, era bakabona baatutumuka nnyo mu by’obusuubuzi. Ng’oggyeko amasinzizo gaakyo, Babulooni Ekinene kirina bizineesi n’eby’obugagga bingi mu kiseera kino. Enjigiriza zaakyo n’ennaku zaakyo enkulu zikigaggawazza nnyo awamu n’ab’eby’obusuubuzi.
• Mu Babulooni eky’edda okusinza ebifaananyi, okukola eby’obufumu, n’okuloga byacaaka nnyo, nga bwe kiri mu bitundu bingi leero. Okufa kwatwalibwanga okuba ekkubo erituusa omuntu mu bulamu obulala. Babulooni kyali kijjudde amasinzizo Abababulooni mwe baasinzizanga bakatonda baabwe, naye nga baziyiza abasinza ba Yakuwa. Enzikiriza n’ebikolwa ebifaananako bwe bityo bye bimu n’ebiri mu Babulooni Ekinene.
Mu biseera eby’edda, Yakuwa yakozesa amawanga ag’amaanyi okubonereza abo abaamujeemeranga nga tebaagala kukola by’ayagala. Bwe kityo, Abaasuuli baazikiriza Samaliya mu 740 B.C.E. Yerusaalemi ne kizikirizibwa Abababulooni mu 607 B.C.E., ate Abaruumi ne bakizikiriza mu 70 C.E. Ate Babulooni kyo kyawambibwa oluvannyuma Abameedi n’Abaperusi mu 539 B.C.E. Baibuli yalagula nti, mu kiseera kyaffe, gavumenti okufaananako ensolo enkambwe zijja kutaagulataagula “omwenzi” zimwambule era zimwanikire ddala ki ky’ali. Zijja kumuzikiririza ddala.—Okubikkulirwa 17:16.
Ddala gavumenti eziriwo mu nsi zinaamuzikiriza? Baibuli egamba nti ‘Katonda ajja kukissa mu mitima gyazo.’ (Okubikkulirwa 17:17) Kijja kubaawo mbagirawo, mu ngeri eyeewuunyisa, nga tewali n’omu akisuubira.
Kiki kye wandikoze? Weebuuze: ‘Nkyali mu kibiina ky’eddiini ekirimu enjigiriza n’ebikolwa ebyoleka nti ekibiina ekyo kitundu kya Babulooni Ekinene?’ Wadde nga wavaayo, oyinza okwebuuza: ‘Nkyatwalirizibwa omwoyo gwakyo?’ Omwoyo ogw’engeri ki? Okwenyigira mu mpisa ez’obugwenyufu, okwagala ebintu n’eby’amasanyu okusinga Katonda, oba okusuula omuguluka Ekigambo kya Yakuwa (wadde ne mu bintu ebirabika ng’ebitono). Ebibuuzo ebyo birowoozeeko n’obwegendereza.
Ffe okusobola okusiimibwa Yakuwa, kikulu okukiraga mu bikolwa byaffe n’endowooza yaffe nti tetuli mu Babulooni Ekinene. Tetusaanidde kulonzalonza kukikola. Ng’etulabula nti enkomerero ejja kujja mbagirawo, Baibuli egamba: “Babulooni, ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa bwe kityo n’okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.”—Okubikkulirwa 18:21.
Naye, waliwo n’ebirala ebigenda okubaawo. Okubikkulirwa 13:1, 2; 19:19-21) Okwolesebwa okw’obunnabbi okuli mu Danyeri 2:20-45 kulaga ng’obufuzi okuviira ddala ku bwa Babulooni eky’edda okutuukira ddala ku buliwo kati bukiikirirwa ekifaananyi ekyakolebwa mu zaabu, ffeeza, ekikomo, ekyuma, n’ebbumba. Obunnabbi obwo bwayogera bwe buti ku biseera byaffe: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna.” Ate bw’eba eyogera ku ekyo Obwakabaka obwo kye bunaakola mu ‘kiseera kya Yakuwa eky’okusala omusango,’ Baibuli egamba: “Bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
Mu ‘kiseera ekyo eky’okusala omusango,’ Yakuwa Katonda ajja kuzikiriza enteekateeka y’eby’obufuzi mu nsi yonna, abakulembeze baayo, era n’abo bonna abagaana obufuzi bw’Obwakabaka bwe obw’omu ggulu obukulemberwa Yesu Kristo. (Baibuli erabula abasinza ab’amazima obutayagala “ebiri mu nsi,” kwe kugamba, embeera y’obulamu ekubirizibwa ensi eno eyeeyawudde ku Katonda ow’amazima. (1 Yokaana 2:15-17) Ebyo by’osalawo era ne by’okola biraga nti owagira Obwakabaka bwa Katonda? Ddala obuteeka mu kifo ekisooka mu bulamu bwo?—Matayo 6:33; Yokaana 17:16, 17.
[Akasanduuko akali ku lupapula 14]
Enkomerero Enejja Ddi?
“Ekiseera kye mutalowoolezaamu, Omwana w’omuntu ky’ajjiramu.”—Matayo 24:44.
“Mutunule, . . . kubanga temumanyi lunaku newakubadde ekiseera.”—Matayo 25:13.
‘Terirwawo.’—Kaabakuuku 2:3.
[Akasanduuko akali ku lupapula 14]
Wandikozeewo eky’Enjawulo Singa Ekiseera Kyennyini Wali Okimanyi?
Singa okimanya nti ebulayo emyaka mitono Katonda aleete enkomerero, kyandikuleetedde okukyusa engeri gye weeyisaamu? Oddiridde mu buweereza bwo eri Yakuwa olw’okuba enkomerero y’enteekateeka zino tezze mangu nga bwe wali okisuubira?—Abebbulaniya 10:36-38.
Obutamanya kiseera kyennyini, kituwa akakisa okulaga nti tetuweereza Katonda lwa kigendererwa kikyamu. Abo abamanyi Yakuwa bakitegeera bulungi nti okuba omunyiikivu ku ddakiika esembayo tekijja kusanyusa Katonda akebera emitima.—Yeremiya 17:10; Abebbulaniya 4:13.
Abo abaagala Yakuwa, bulijjo bamussa mu kifo ekisooka mu bulamu bwabwe. Okufaananako abantu abalala, Abakristaayo ab’amazima bayinza okuba n’emirimu gyabwe gye bakola. Kyokka, ekiruubirirwa kyabwe si kufuuka bagagga naye okufuna bye beetaaga ebimala awamu ne bye bayinza okugabirako abalala. (Abeefeso 4:28; 1 Timoseewo 6:7-12) Era nabo bafunayo ebiseera eby’okwesanyusamu naye ng’ekigendererwa kyabwe kuwummulamu, so si kukola bitasaana ng’abalala bwe bakola. (Makko 6:31; Abaruumi 12:2) Okufaananako Yesu Kristo, basanyuka okukola Katonda by’ayagala.—Zabbuli 37:4; 40:8.
Abakristaayo ab’amazima baagala okubeerawo emirembe gyonna nga baweereza Yakuwa. Ekyo kye baagala kisigala nga kya muwendo nnyo ka kibe nti kibeetaagisa okulindirira ekiseera ekiwanvuko okusinga bwe baali basuubira.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ensonga Eyabalukawo Ekwata ku Bufuzi
Okusobola okutegeera ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona, tulina okutegeera ensonga eyabalukawo ekwata ku bufuzi.
Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi, y’agwanidde okufuga ensi ne bonna abagituulako. Kyokka, Baibuli ennyonnyola nti edda ennyo mu byafaayo by’omuntu, obufuzi bwa Yakuwa bwasoomoozebwa. Setaani Omulyolyomi yagamba nti Yakuwa yali akugira abantu ekiyitiridde, era nti yalimba bazadde baffe abaasooka ku ekyo ekyandibatuuseeko singa baajeemera etteeka lya Katonda, era mbu bandibadde bulungi singa beefuga bokka.—Olubereberye, essuula 2, 3.
Singa Katonda yazikiririzaawo abajeemu abo, kyandiraze amaanyi g’alina, naye, tekyandigonjodde nsonga eyali ezzeewo. Olw’okuba teyabazikiririzaawo, Yakuwa asobozesezza buli kitonde ekirina amagezi okulaba ebiva mu bujeemu. Wadde nga kino kireeseewo okubonaabona kungi, kitusobozesezza okuzaalibwa.
Ate era, mu kwagala okungi ennyo Yakuwa yakola enteekateeka abantu abawulize era abakkiririza mu ssaddaaka ey’ekinunulo ky’Omwana we, basobole okusumululwa okuva mu kibi n’ebyo ebikivaamu era babeere mu Lusuku lwa Katonda. Bwe kiriba kyetaagisa, abo abaliba bafudde balizuukizibwa.
Ate era okuba nti aleseewo ekiseera okuyitawo, kiwadde abaweereza ba Yakuwa akakisa okwoleka nti bamwagala era nti basobola okusigala nga bamwesiga mu mbeera zonna. Obutonde bwonna okusobola okugondera amateeka, kyetaagisa okugonjoola ensonga ekwata ku bufuzi bwa Katonda, n’eyo ekwata ku bwesigwa bw’abantu. Awatali ekyo, emirembe egya nnamaddala tegisobola kubaawo. *
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 36 Ebisingawo ebikwata ku nsonga zino bisangibwa mu katabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa, akakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi]
Enteekateeka ey’eby’obufuzi eriwo mu nsi ejja kuzikirizibwa