Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensi Empya Katonda Gye Yasuubiza

Ensi Empya Katonda Gye Yasuubiza

Ensi Empya Katonda Gye Yasuubiza

EKIGAMBO kya Katonda, Baibuli, kituwa essuubi bwe kigamba nti: “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe bu[li]tuula.”​—2 Peetero 3:13.

“Eggulu eriggya” kye ki? Baibuli ekwataganya eggulu n’obufuzi. (Ebikolwa 7:49) “Eggulu eriggya” ye gavumenti empya eneefuga ensi. Eyitibwa mpya, olw’okubanga y’ejja okudda mu kifo ky’enteekateeka y’eby’obufuzi eriwo kati; ate era eno nteekateeka mpya ey’okutuukirizamu ekigendererwa kya Katonda. Buno bwe Bwakabaka Yesu bwe yatuyigiriza okusaba. (Matayo 6:10) Okuva bwe kiri nti Katonda ye yabussaawo ate ng’abeera mu ggulu, kyebuva buyitibwa ‘obwakabaka obw’omu ggulu.’​—Matayo 7:21.

“Ensi empya” kye ki? Si nsi ndala, okuva Baibuli bw’ekiraga obulungi nti ensi eno kwe tuli ejja kutuulwamu emirembe gyonna. “Ensi empya” kye kibiina ky’abantu ekippya. Kijja kuba kippya, kubanga ababi bajja kuba bazikiriziddwa. (Engero 2:21, 22) Abo bonna abalibeerawo mu kiseera ekyo bajja kuba bawa Omutonzi waabwe ekitiibwa, nga bamugondera era nga bakolera ku by’abeetaagisa. (Zabbuli 22:27) Abantu mu mawanga gonna bakubirizibwa okuyiga ebyo Katonda by’abeetaagisa era babikolereko mu bulamu bwabwe kati. Bw’otyo bw’okola?

Mu nsi empya, buli omu ajja kuba assa ekitiibwa mu bufuzi bwa Katonda. Okwagala Katonda kukuleetera okumugondera? (1 Yokaana 5:3) Ogondera ebiragiro bye ng’oli awaka, ku mulimu, ku ssomero, era n’engeri gye weeyisaamu mu bulamu?

Mu nsi eyo empya, abantu bajja kuba bumu mu kusinza Katonda ow’amazima. Osinza Omutonzi w’eggulu n’ensi? Ddala engeri gy’osinzamu ekugasse wamu ne basinza banno ab’omu mawanga gonna, ab’ebika byonna, n’ab’ennimi zonna?​—Zabbuli 86:9, 10; Isaaya 2:2-4; Zeffaniya 3:9.

[Akasanduuko akali ku lupapula 17]

Katonda Asuubiza Bino

Ye Mutonzi w’eggulu n’ensi. Y’oyo Yesu Kristo gwe yayogerako nga “Katonda omu ow’amazima.”​—Yokaana 17:3.

Abantu abasinga obungi basinza bakatonda be beekoledde. Abantu bukadde na bukadde bavunnamira ebifaananyi. Abalala bakulembeza enteekateeka z’abantu, endowooza ez’okululunkanira eby’obugagga, oba okwegomba kwabwe bo. Tekiri nti bonna abeetwala okugoberera Baibuli, bassa ekitiibwa mu linnya ly’oyo Baibuli gw’eyogerako nga ‘Katonda ow’amazima.’​—Ekyamateeka 4:35.

Omutonzi yennyini yeeyogerako bw’ati: “Nze Mukama [“Yakuwa,” NW]. Eryo lye linnya lyange.” (Isaaya 42:5, 8) Erinnya lino lirabika emirundi egisukka mu 7,000 mu Baibuli, mu nnimi mwe yasooka okuwandiikibwa. Yesu Kristo yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”​—Matayo 6:9.

Katonda ow’amazima muntu wa ngeri ki? Ye kennyini yeeyogerako nga “ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okusaasira okungi n’amazima amangi,” era nga taggya musango ku abo abamenya amateeka ge mu bugenderevu. (Okuva 34:6, 7) Engeri gy’abadde akolaganamu n’abantu mu byafaayo ekakasa obutuufu bw’ebigambo ebyo.

Nnyini linnya eryo alina okuweebwa ekitiibwa era n’erinnya lye lirina okutukuzibwa. Olw’okuba ye Mutonzi era Omufuzi w’Obutonde Bwonna, tusaanidde okumugondera n’okumusinza. Ggwe omusinza era omugondera?

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Nkyukakyuka Ki “Eggulu Eriggya n’Ensi Empya” Ze Binaaleeta?

Ensi efuuliddwa Olusuku lwa Katonda Lukka 23:43

Ekibiina ky’abantu okuva mu buli ggwanga, Yokaana 13:35

ebika, n’ennimi nga bali bumu mu kwagala Okubikkulirwa 7:9, 10

Emirembe mu nsi yonna, Zabbuli 37:10, 11;

abantu bonna nga batebenkedde Mikka 4:3, 4

Emirimu egimatiza, Isaaya 25:6;

emmere ennyingi Isaaya 65:17, 21-23

Obulwadde, ennaku, Isaaya 25:8;

okufa nga biggiddwawo Okubikkulirwa 21:1, 4

Ensi ng’eri bumu mu Okubikkulirwa 15:3, 4

kusinza Katonda ow’amazima

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]

Onooganyulwa?

Katonda tayinza kulimba!​—Tito 1:2.

Yakuwa yagamba nti: “Ekigambo kyange . . . tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”​—Isaaya 55:11.

Yakuwa atonda “eggulu eriggya n’ensi empya.” Gavumenti ye ey’omu ggulu yatandika dda okufuga. Era n’omusingi ‘ogw’ensi empya’ gumaze okuteekebwawo.

Oluvannyuma lw’okumenya ebimu ku birungi “eggulu eriggya n’ensi empya” bye binaatuusa ku lulyo lw’omuntu, ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga Katonda kennyini, Omufuzi w’Obutonde Bwonna ng’ayogera nti: “Laba! Byonna mbizzizza buggya. [Era] n’ayogera nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo bya bwesige era bya mazima.”​—Okubikkulirwa 21:1, 5.

Ekibuuzo ekikulu kiri nti, Tukola enkyukakyuka ezinaatusobozesa okuba nga tusaanira okubeera mu ‘nsi empya’ wansi ‘w’eggulu eriggya’?