Ensi Eno Eyolekedde Ki?
Ensi Eno Eyolekedde Ki?
Okwetooloola ensi amawulire agafuluma googera ku bizibu eby’amaanyi n’ebintu eby’entiisa ebiriwo! Bino bitegeeza ki?
EBY’OBUKUUMI: Bbomu zaatulikidde mu butale. Abasomesa n’abayizi baakubiddwa amasasi mu masomero. Abazadde babbibwako abaana baabwe. Abakazi ne bannamukadde baanyagiddwako ebyabwe emisana tuku.
EMBEERA ERIWO MU MADIINI: Amakanisa gawagira enjuyi ezirwanagana. Abakadde b’amakanisa bavunaanibwa olw’okwenyigira mu kutta abantu okw’ekikungo. Abasasseroddooti bakoze eby’obuseegu ku baana abato; ekkanisa ebibikkirira. Omuwendo gw’abantu abagenda mu kkanisa guddiridde; amakanisa gatundibwa.
OBUTONDE BW’ENSI: Ebibira bisaanyizibwawo okusobola okufuna aw’okukolera eby’obusuubuzi. Abaavu batemye emiti gyonna nga banoonya enku. Ensulo z’amazzi zoonooneddwa, amazzi ne gaba nti tegakyanyweka. Obukyafu obuva mu makolero awamu n’engeri ezimu ez’okuvuba byonoonye eby’obuvubi. Empewo eyonooneddwa.
EBY’OKWEYIMIRIZAAWO: Kigambibwa nti mu nsi za Afirika eziri wansi w’eddungu Sahara ennyingiza ya buli muntu okutwalira awamu eringa doola 480 buli mwaka. Omulugube gw’abakulembeze b’amakampuni guviirako bizineesi okugwa, ne kireetera abantu nkumi na nkumi okufiirwa emirimu gyabwe. Abantu bafiirwa ssente ze beekoledde obulamu bwabwe bwonna olw’okukumpanyizibwa.
EBBULA LY’EMMERE: Abantu nga 800,000,000 okwetooloola ensi basula njala.
ENTALO: Abantu abasukka mu 100,000,000 baafiira mu ntalo mu kyasa eky’amakumi abiri. Waliwo eby’okulwanyisa nnamuzisa ebisobola okusaanyizaawo ddala olulyo lw’omuntu. Entalo ez’omunda. Ebikolwa eby’obukambwe bigenda byeyongera buli wamu mu nsi.
ENDWADDE EZ’AMAANYI: Okuva mu 1918 sseseeba yatta abantu 21,000,000. Mukenenya ye “ndwadde ekyasinze okukosa abantu mu byafaayo.” Kookolo era n’obulwadde bw’omutima bireeta ennyiike mu nsi yonna.
Wekkaanye ebifulumira mu mawulire. Biri mu kitundu kimu eky’ensi? Oba bibunye wonna mu nsi?
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ddala Katonda Afaayo?
Bwe bafuna ekikangabwa oba bwe bafiirwa ebintu, abantu bangi beebuuza lwaki Katonda talina ky’akolawo okuziyiza ebintu ng’ebyo.
Katonda afaayo. Awa obulagirizi obwesigika n’obuweerero obwa nnamaddala. (Matayo 11:28-30; 2 Timoseewo 3:16, 17) Alina enteekateeka ey’okukomya ettemu, obulwadde era n’okufa. Enteekateeka z’akoze ziraga nti afaayo, si ku bantu ba ggwanga limu lyokka, naye afaayo ku bantu mu mawanga gonna, ebika, era n’ennimi.—Ebikolwa 10:34, 35.
Ffe tumufaako kwenkana wa? Omutonzi w’eggulu n’ensi omumanyi? Erinnya lye y’ani? Alina kigendererwa ki? Ebibuuzo bino Katonda abiddamu mu Baibuli. Mu Baibuli atubuulira enteekateeka z’akoze okusobola okukomya ettemu, obulwadde awamu n’okufa. Kiki kye tulina okukola okusobola okuganyulwa? Twetaaga okuyiga ebimukwatako awamu n’ekigendererwa kye. Tetuyinza kuganyulwa mu nteekateeka Katonda z’atukoledde okuggyako nga tumukkiririzamu. (Yokaana 3:16; Abebbulaniya 11:6) Era kitwetaagisa n’okugondera ebiragiro bye. (1 Yokaana 5:3) Ggwe obigondera?
Okusobola okutegeera lwaki Katonda akyaleseewo embeera eziriwo kati, waliwo ensonga enkulu gye tulina okuteegera. Baibuli eginnyonnyola. Ensonga eno eyogerwako ku lupapula 15 olw’akatabo kano.