Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kiki ky’Oluubirira mu Bulamu Bwo?

Kiki ky’Oluubirira mu Bulamu Bwo?

Kiki ky’Oluubirira mu Bulamu Bwo?

• Abantu bangi beemalidde nnyo ku bintu ebya bulijjo ne kiba nti tebafaayo ku bibi ebiyinza okubaviiramu.

• Baibuli etutegeeza ku bintu ebirungi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Era etulabula nti wagenda kubaawo enkyukakyuka ez’amaanyi ennyo okwetooloola ensi. Ffe okusobola okuwonawo n’okuganyulwa mu ebyo Baibuli by’etusuubiza, tulina okubaako kye tukolawo mu bwangu ddala.

• Waliwo abantu abamu abamanyi Baibuli ky’egamba era abagezaako okugigoberera kyokka ate ne baleka ebintu ebyeraliikiriza mu bulamu okubaggya ku kkubo ettuufu.

• Ggwe, by’oluubirira mu bulamu bwo bikuwa essanyu? Bw’obaako by’oteekateeka okukola, olowooza ku ngeri gye biyinza okukwata ku biruubirirwa byo ebikulu mu bulamu?

[Akasanduuko/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Kiki Ekisinga Obukulu gy’Oli?

Bino wammanga wandibisengese otya okusinziira ku bukulu bwabyo mu bulamu bwo?

Ebisinga obungi birina ekifo kyabyo ekituufu mu bulamu, naye bw’oba wa kulondako, kiki ky’okulembeza? Kiki ky’ozzaako? Ate ebirala obiddiriŋŋanya otya?

․․․ Eby’okwesanyusaamu

․․․ Omulimu gwange

․․․ Okwekuuma nga ndi mulamu bulungi

․․․ Ebinsanyusa

․․․ Munnange mu bufumbo

․․․ Bazadde bange

․․․ Abaana bange

․․․ Amaka amalungi, engoye ennungi

․․․ Okuba nti nze nsinga mu buli kye nkola

․․․ Okusinza Katonda

[Akasanduuko akili ku lupapula 10, 11]

Ddala By’Olondawo Okukola Binaakutuusa ku ky’Oluubirira?

LOWOOZA KU BIBUUZO BINO

EBY’OKWESANYUSAAMU: Eby’okwesanyusaamu bye nnondawo biŋŋanyula? Bibaamu ebintu ebiyinza okuteeka obulamu bwange mu kabi? Byandiba nga “bisanyusa” okumala akaseera katono naye nga bisobola okuleeta ennaku ey’olubeerera? Wadde ng’okwesanyusaamu kwe nnonzeewo kulungi, kummalako ebiseera mwe nnandikoledde ebintu ebisinga obukulu?

OMULIMU GWANGE: Gunnyamba okweyimirizaawo, oba gunfuga? Gunfuga nnyo ne kiba nti gutandise n’okukosa obulamu bwange? Nkola ne nsussa mu biseera eby’okunnyukiramu mu kifo ky’okumala ebiseera ebyo ne munnange mu bufumbo oba n’abaana bange? Singa mukama wange andagira okukola ekintu omuntu wange ow’omunda ky’atanzikiriza kukola oba ekyo ekinnemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange obw’eby’omwoyo, nnaakikola olw’okuba njagala okusigaza omulimu gwange?

OKWEKUUMA NGA NDI MULAMU BULUNGI: Nfuba okwekuuma nga ndi mulamu bulungi oba obulamu bwange sibutwala ng’ekikulu? Okwekuuma nga ndi mulamu bulungi kye njogerako buli kiseera? Engeri gye nfubamu okwekuuma nga ndi mulamu bulungi eraga nti nfaayo ku b’omu maka gange?

EBINSANYUSA: Bye nsooka okulowoozaako? Nsooka kufaayo ku binsanyusa mu kifo ky’ebyo ebisanyusa munnange mu bufumbo oba ab’omu maka gange? Engeri gye nnoonyamu essanyu eraga nti ndi muweereza wa Katonda?

MUNNANGE MU BUFUMBO: Mmutwala nga munnange biseera bimu na bimu? Mmuwa ekitiibwa ekimugwanira? Okukkiririza mu Katonda kulina kye kukola ku ngeri gye mpisaamu munnange mu bufumbo?

BAZADDE BANGE: Bwe mba nkyali mwana muto, ŋŋondera bazadde bange​—nga mbaddamu mu ngeri eraga nti mbawa ekitiibwa, nga nkola emirimu gye bandagira okukola, nga nkomawo awaka mu kiseera kye bandagira, nga nneewala emikwano n’ebintu bye baŋŋaana? Bwe mba ndi muntu mukulu, mpuliriza bazadde bange mu ngeri eraga nti mbawa ekitiibwa, era mbawa obuyambi buli lwe kiba kyetaagisa? Mbayisa nga bwe njagala oba ng’Ekigambo kya Katonda bwe kiragira?

ABAANA BANGE: Nkitwala nti buvunaanyizibwa bwange okuyigiriza abaana bange empisa, oba nsuubira nti essomero gye basomera lye linaakola ekyo? Mpaayo ebiseera okubeerako n’abaana bange, oba nsuubira nti eby’okuzannyisa, ttivi, oba kompyuta bye binaababeesabeesa? Nkangavvula abaana bange buli lwe basuula omuguluka amateeka ga Katonda, oba mbakangavvula lwe mba nnyiize lwokka?

AMAKA AMALUNGI, ENGOYE ENNUNGI: Nsinziira ku ki okufaayo ku ndabika yange n’ebintu byange? Nkikola lwa kuwuniikiriza balala? Lwa bulungi bwa maka gange? Oba lwa kuba ndi musinza wa Katonda?

OKUBA NTI NZE NSINGA MU BULI KYE NKOLA: Nkitwala nti kikulu nnyo okukola ebintu obulungi? Nduubirira kusukkuluma ku balala? Mpulira bubi bwe wabaawo ansinze?

OKUSINZA KATONDA: Okusiimibwa Katonda kukulu nnyo gye ndi okusinga okusiimibwa munnange mu bufumbo, abaana bange, bazadde bange, oba mukama wange ku mulimu? Okuweereza Katonda nkussa mu kifo kya kubiri olw’okuba njagala okubeera mu bulamu obwa waggulu?

WEEKENNEENYE OKUBUULIRIRA KWA BAIBULI

Katonda alina kifo ki mu bulamu bwo?

Omubuulizi 12:13: “Otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.”

WEEBUUZE: Obulamu bwange bwoleka nti bwe ntyo bwe nkola? Okwagala okugondera amateeka ga Katonda kulina kye kukola ku ngeri gye ntuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwange awaka, ku mulimu, oba ku ssomero? Oba ndowooza okukola Katonda by’ayagala nga mmaze okukola ku bizibu byange?

Nkolagana ki gye nnina ne Katonda?

Engero 3:5, 6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe. Mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”

Matayo 4:10: “Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga [ye] yekka.”

WEEBUUZE: Bwe ntyo bwe nkola? Bye nkola buli lunaku, n’engeri gye nkwatamu embeera enzibu, biraga nti Katonda mmwesiga era mmwemaliddeko ng’ebyawandiikibwa ebyo bwe biraze?

Okusoma Baibuli kukulu kwenkana wa gy’oli?

Yokaana 17:3: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”

WEEBUUZE: Engeri gye ntwalamu okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako ddala eraga nti kino nkikiriza?

Okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo kikulu kwenkana wa gy’oli?

Abebbulaniya 10:24, 25: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu, . . . nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.”

Zabbuli 122:1: “N[n]asanyuka bwe baŋŋamba nti: tugende mu nnyumba ya Mukama.”

WEEBUUZE: Engeri gye nneeyisaamu eraga nti nsiima okukubirizibwa kuno okuli mu Kigambo kya Katonda? Waliwo enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo ze nayosa omwezi ogwayita olw’okuba nnali nneenyigidde mu bintu ebirala?

Oli munyiikivu mu kubuulira abantu abalala ebikwata ku Katonda era n’ekigendererwa kye?

Matayo 24:14: “Enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna okuba omujulirwa . . . , awo enkomerero n’eryoka ejja.”

Matayo 28:19, 20: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.”

Zabbuli 96:2: “Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.”

WEEBUUZE: Omulimu guno nguwadde ekifo ekigugwanira mu bulamu bwange? Engeri gye mbuuliramu eraga nti ntegeera bulungi obukulu bw’ekiseera kye tulimu?