Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Muleme Okukemebwa”

“Muleme Okukemebwa”

“Muleme Okukemebwa”

“Mutunulenga era musabenga, muleme okukemebwa.”​—MATAYO 26:41, NW.

OKUGEZESEBWA kwali kwa maanyi nnyo nga kusinga okulala kwonna kwe yali ayiseemu emabega. Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, yali anaatera okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe obw’oku nsi. Yesu yakitegeera nti mu kaseera katono yali agenda kukwatibwa, asalirwe ogw’okufa, era awanikibwe ku muti ogw’okubonyaabonya. Yali akimanyi nti buli kyasalawo ne ky’akola kirina engeri gye kijja okukwata ku linnya lya Kitaawe. Era Yesu yali akimanyi nti essuubi ly’abantu ery’okufuna obulamu mu biseera eby’omu maaso lyali liri mu lusuubo. Ng’ayolekaganye n’okugezesebwa okwo yakola ki?

2 Yesu yagenda n’abayigirizwa be mu lusuku Gesusemane. Yesu yayagalanga nnyo okugenda mu kifo kino. Ng’ali eyo, yatambulako akabanga katono okuva awaali abayigirizwa be. Ng’ali yekka, yasaba Kitaawe ow’omu ggulu okumuwa amaanyi, ng’amubuulira ekyamuli ku mutima​—si mulundi gumu naye emirundi essatu. Wadde yali atuukiridde, Yesu teyagezaako kwolekagana n’okugezesebwa ku bubwe yekka.​—Matayo 26:36-44.

3 Leero, naffe tugezesebwa. Mu katabo kano, twalaba obukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma ez’omulembe guno omubi. Ebikemo n’ebizibu ebiva mu nsi ya Setaani byeyongera. Okusalawo n’ebikolwa bya buli omu eyeeyita omuweereza wa Katonda ow’amazima birina kye bikola ku linnya lye era ne ku ssuubi ery’okufuna obulamu mu nsi empya. Twagala Yakuwa. Twagala ‘okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero’​—enkomerero y’obulamu bwaffe oba enkomerero y’omulembe guno, oba kyonna ekiba kisoose. (Matayo 24:13) Tuyinza tutya obuteerabira bukulu bwa biseera bye tulimu n’okusigala nga tutunula?

4 Ng’akimanyi nti abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka n’ab’ekiseera kino baali ba kugezesebwa, Yesu yabakubiriza: “Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.” (Matayo 26:41) Ebigambo bino birina makulu ki gye tuli leero? Kukemebwa kwa ngeri ki kw’oyolekaganye nakwo? Era oyinza otya ‘okusigala ng’otunula’?

Kukemebwa Kukola Ki?

5 Buli lunaku ffenna tukemebwa okugwa “mu mutego gwa Setaani”? (2 Timoseewo 2:26) Baibuli etulabula nti okusingira ddala Setaani ayagala kukwasa basinza ba Yakuwa. (1 Peetero 5:8; Okubikkulirwa 12:12, 17) Lwaki? Ekigendererwa kye si kututta. Setaani aba talina buwanguzi bw’aba atuuseeko singa tufa nga tuli beesigwa eri Katonda. Mu butuufu Setaani akimanyi bulungi nti Yakuwa, mu kiseera Kye ekitegeke, ajja kumalawo okufa ng’ayita mu kuzuukira.​—Lukka 20:37, 38.

6 Omulabe waffe ayagala okutufiiriza ekintu eky’omuwendo ennyo ekisinga obulamu bwaffe obw’ekiseera kino​—obugolokofu bwaffe eri Katonda. Setaani afuba okulaba nti atulemesa okusinza Yakuwa. N’olwekyo, singa tusendebwasendebwa obutaba beesigwa eri Katonda​—ne tulekerawo okubuulira amawulire amalungi oba ne tuva ku mitindo gy’Ekikristaayo​—olwo Setaani aba atuuse ku buwanguzi! (Abeefeso 6:11-13) N’olwekyo “Omukemi” atuteerawo ebikemo.​—Matayo 4:3.

7 “Enkwe” za Setaani za ngeri nnyingi. (Abeefeso 6:11) Ayinza okutukema ng’akozesa eby’obugagga, okutya, okutuleetera okubuusabuusa, oba okwagala amasanyu. Naye akamu ku bukodyo bw’akozesa ennyo kwe kutumalamu amaanyi. Kalinkwe ono, amanyi bulungi nti singa tuggwaamu amaanyi kiba kyangu okutuwangula. (Engero 24:10) Naddala mu kiseera ekyo nga ‘tuyongobedde,’ atuleetera ebikemo.​—Zabbuli 38:8.

8 Nga tusemberera enkomerero, kirabika nti ebintu ebimalamu amaanyi byeyongera bweyongezi, era naffe bisobola okubaako kye bitukolako. (Laba akasanduuko “Ebimu ku Bintu Ebimalamu Amaanyi.”) Ka kibe nga kivudde ku ki, okuggwaamu amaanyi kutunafuya. ‘Okugula ebiseera’ tusobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’eby’omwoyo​—ng’okweyigiriza Baibuli, okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, era n’okwenyigira mu buweereza​—kiyinza okuba ekizibu singa oba mukoowu mu mubiri, ne mu birowoozo. (Abeefeso 5:15, 16) Jjukira nti Omukemi ono ayagala olekulire. Naye kino si ky’ekiseera okuddirira oba okwerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu! (Lukka 21:34-36) Oyinza otya okuziyiza okukemebwa n’osigala ng’otunula? Weekenneenye ebintu bina ebiyinza okukuyamba.

‘Musabenga’

9 Weesige Yakuwa ng’oyitira mu kusaba. Jjukira ekyokulabirako kya Yesu mu lusuku Gesusemane. Ng’azitoowereddwa nnyo mu birowoozo, yakola ki? Yakyukira Yakuwa okufuna obuyambi, yasaba nnyo ‘entuuyo ze ne ziba ng’amatondo g’omusaayi nga gatonnya wansi.’ (Lukka 22:44, NW) Lowooza ku kino. Yesu yali amanyi bulungi Setaani. Bwe yali mu ggulu, Yesu yalaba ebikemo byonna Setaani bye yakozesa okukwasa abaweereza ba Katonda. Kyokka, Yesu teyakitwala nti yali ajja kwanguyirwa okwaŋŋanga buli kikemo Omukemi kye yandimuleetedde. Bwe kiba nti Omwana wa Katonda atuukiridde kyali kimwetaagisa okusaba afune obuyambi n’amaanyi okuva eri Katonda, ffe tetwandisinzeewo!​—1 Peetero 2:21.

10 Jjukira, nti, bwe yamala okukubiriza abayigirizwa be ‘okusabanga,’ Yesu yagamba: ‘Omwoyo gwagala naye omubiri munafu.’ (Matayo 26:41) Mubiri gw’ani Yesu gwe yali ayogerako? Kya lwatu yali tayogera ku mubiri gwe; ogugwe gwali gutuukiridde era nga tegulina bunafu bwonna. (1 Peetero 2:22) Gwali gwa njawulo ku gy’abayigirizwa be. Olw’okuba baasikira obutali butuukirivu n’ekibi, baali beetaga obuyambi okuziyiza okukemebwa. (Abaruumi 7:21-24) Eno y’ensonga lwaki yabakubiriza​—era n’akubiriza n’Abakristaayo ab’amazima abandizeewo oluvannyuma lwabwe​—okusaba obuyambi nga boolekaganye n’okukemebwa. (Matayo 6:13) Yakuwa addamu okusaba okwo. (Zabbuli 65:2) Mu ngeri ki? Mu ngeri nga bbiri?

11 Esooka, Katonda atuyamba okutegeera ebikemo Setaani by’akozesa. Ebikemo ebyo biringa emitego egitegeddwa wano na wali mu kkubo erikutte enzikiza. Emitego egyo bw’otagiraba oyinza okugigwamu. Okuyitira mu Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako, Yakuwa atuwa ekitangaala ne tusobola okulaba emitego gya Setaani, bwe tutyo ne tusobola okwewala okukukemebwa. Okumala emyaka mingi, ebitabo ebikubiddwa mu kyapa era n’enkuŋŋaana ennene emirundi mingi bitulabudde ku kabi akali mu kutya abantu, obugwenyufu, okuluubirira eby’obugagga, era n’okukemebwa okulala Setaani kw’aleeta. (Engero 29:25; 1 Abakkolinso 10:8-11; 1 Timoseewo 6:9, 10) Toli musanyufu nti Yakuwa atulabula ku nkwe za Setaani? (2 Abakkolinso 2:11) Jjukira nti okulabula okwo kwonna kuba kuddamu kusaba kwo okw’okufuna obuyambi okuziyiza okukemebwa.

12 Eky’okubiri, Yakuwa addamu okusaba kwaffe ng’atuwa amaanyi okugumiikiriza okukemebwa. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Katonda . . . taabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro.” (1 Abakkolinso 10:13) Katonda tajja kukkiriza tukemebwe kisukkiridde ne kiba nti tetulina maanyi gamala mu by’omwoyo kukuziyiza​—singa tweyongera okumwesiga. ‘Atuteerawo atya obuddukiro’? Awa ‘omwoyo omutukuvu abamusaba.’ (Lukka 11:13) Omwoyo ogwo guyinza okutuyamba okujjukira emisingi gya Baibuli eginaatuwa amaanyi okukola ekituufu era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. (Yokaana 14:26; Yakobo 1:5, 6) Guyinza okutuyamba okwoleka engeri ezeetaagisa okweggyamu engeri enkyamu. (Abaggalatiya 5:22, 23) Omwoyo gwa Katonda guyinza okukubiriza bakkiriza bannaffe ‘okutuzzaamu amaanyi.’ (Abakkolosaayi 4:11) Toli musanyufu nti Yakuwa addamu okusaba kwaffe mu ngeri ey’okwagala?

Tosuubira Kisukkiridde

13 Okusobola okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, twetaaga okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Olw’okunyigirizibwa kwe twolekagana nakwo mu bulamu, tutera okuggwamu amanyi. Kyokka tulina okujjukira nti Katonda teyasuubiza nti tetujja kuba na bizibu mu nteekateeka eno ey’ebintu eriwo. Ne mu biseera bya Baibuli, abaweereza ba Katonda baayolekagana n’ebizibu, nga mw’otwalidde okuyigganyizibwa, obwavu, okwennyamira, n’obulwadde.​—Ebikolwa 8:1; 2 Abakkolinso 8:1, 2; 1 Abassessalonika 5:14; 1 Timoseewo 5:23.

14 Leero, tulina ebizibu. Tuyinza okuyigganyizibwa, okweraliikirira olw’eby’enfuna, okwennyamira, okulwala, oba okubonaabona mu ngeri endala. Singa Yakuwa yali atukuuma mu ngeri ey’ekyamagero okuva ku buli kabi, ekyo tekyandireetedde Setaani okubaako w’asinziira okusoomooza Yakuwa? (Engero 27:11) Yakuwa akkiriza abaweereza be okugezesebwa era n’okukemebwa, emirundi egimu ne batuuka n’okuttibwa abo ababayigganya.​—Yokaana 16:2.

15 Kati olwo, Yakuwa asuubizza ki? Nga bwe twakirabye, asuubizza nti ajja kutusobozesa okuziyiza okukemebwa kwe tuyinza okwolekagana nakwo, singa tumwesigira ddala. (Engero 3:5, 6) Okuyitira mu Kigambo kye, omwoyo gwe, era n’ekibiina kye, atukuuma mu by’omwoyo, ne kituyamba okuba n’enkolagana ennungi naye. Singa enkolagana eno tugikuuma, ne bwe tufa, tuba tutuuse ku buwanguzi. Tewali kintu kyonna​—nga mw’otwalidde okufa​—ekiyinza okulemesa Katonda okuwa abaweereza be abeesigwa empeera. (Abebbulaniya 11:6) Era mu nsi empya, eneetera okutuuka, Yakuwa tajja kulemererwa kutuukiriza bisuubizo bye byonna eby’ekitalo eri abo abamwagala.​—Zabbuli 145:16.

Jjukira Ensonga Enkulu Ezaabalukawo

16 Okusobola okugumiikiriza okutuukira ddala ku nkomerero, tulina okujjukira ensonga lwaki Katonda aleseewo obubi. Singa ekiseera ekimu ebizibu byaffe birabika nga bitusukiriddeko era ne twagala okulekulira, kiba kirungi okukijjukira nti eba nkola ya Setaani eyasoomooza obutuufu bw’obufuzi bwa Yakuwa. Omulimba oyo yabuusabuusa obwesigwa bw’abasinza ba Katonda. (Yobu 1:8-11; 2:3, 4) Ensonga ezo era n’engeri Yakuwa gy’asazeewo okuzigonjoolamu bikulu nnyo n’okusinga obulamu bwaffe. Mu ngeri ki?

17 Katonda okuleka ebizibu okubaawo okumala akaseera katono kisobozesezza abalala okuyiga amazima. Lowooza ku kino: Yesu yabonaabona tusobole okufuna obulamu. (Yokaana 3:16) Tetuli basanyufu olw’ekyo? Bwe kiba nga kye kyetaagisa, tuyinza okugumiikiriza ebizibu bino okumala akaseera abalala basobole okufuna obulamu? Okusobola okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero, tulina okumanya nti amagezi ga Yakuwa gasinga agaffe. (Isaaya 55:9) Ajja kukomya obubi mu kiseera kyennyini ekituufu era tuganyulwe emirembe gyonna. Mazima ddala, waliwo engeri yonna esinga eno? Katonda mwenkanya!​—Abaruumi 9:14-24.

“Musembererenga Katonda”

18 Okusobola okumanya obukulu bw’ebiseera bye tulimu, kitwetaagisa okusemberera Yakuwa. Teweerabira nti Setaani akola kyonna ky’asobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Setaani ayagala tulowooze nti enkomerero tejja kujja, ensi embi ejja kubaawo emirembe gyonna, era nti tekyetaagisa kubuulira mawulire malungi oba okugoberera emitindo gya Baibuli egy’empisa. Naye “ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44) Tuteekwa okuba abamalirivu ‘okuziyiza Omulyolyomi.’ Enkolagana yaffe ne Yakuwa kye kintu kye tutalina kulagajjalira. Baibuli etukubiriza: “Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe.” (Yakobo 4:7, 8) Kati olwo oyinza otya okusemberera Yakuwa?

19 Kikulu nnyo okufumiitiriza ku by’osaba. Singa ebizibu mu bulamu bikuyitirirako, saba Yakuwa. Singa oyogerera ddala ekikuli ku mutima, ne by’osaba bijja kuddibwamu mangu. Eky’okuddamu kiyinza obutaba nga bw’obadde osuubira, naye bw’oba oyagala kumuwa ekitiibwa era n’okukuuma obugolokofu, ajja kukuwa obuyambi bwe weetaaga okusobola okugumiikiriza era otuuke ku buwanguzi. (1 Yokaana 5:14) Bw’ogenda olaba obulagirizi bwe bw’akuwa mu bulamu bwo, enkolagana gy’olina naye ejja kweyongera. Kikulu nnyo okusoma n’okufumiitiriza ku ngeri za Yakuwa n’amakubo ge, nga bwe biri mu Baibuli. Okufumiitiriza ng’okwo kukuyamba okwongera okumumanya obulungi; omutima gwo gukwatibwako era weeyongera okumwagala. (Zabbuli 19:14) Era okwagala okwo, okusinga ekintu ekirala kyonna, kujja kukuyamba okuziyiza okukemebwa era osigale ng’otunula.​—1 Yokaana 5:3.

20 Bwe tuba ab’okusemberera Yakuwa, kiba kikulu nnyo okufuna enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe. Kino kijja kwogerwako mu kitundu ekisembayo ekya katabo kano.

EBIBUUZO

• Yesu yakola ki bwe yali mu kugezesebwa okw’amaanyi ng’anaatera okutuuka ku nkomerero y’obulamu bwe, era abayigirizwa be yabakubiriza kukola ki? (But. 1-4)

• Lwaki Setaani asinga kwagala kukwasa basinza ba Yakuwa, era atukema mu ngeri ki? (But. 5-8)

• Okusobola okuziyiza okukemebwa, lwaki tulina kusaba obutayosa (But. 9-12), okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bye tusuubira (But. 13-15), okujjukira ensonga ezaabalukawo (But. 16-17), era n’okusemberera Katonda mu kusaba (But. 18-20)?

[Akasanduuko akili ku lupapula 25]

Ebimu ku Bintu Ebimalamu Amaanyi

Emyaka gyo oba embeera y’obulamu bwo. Singa tulwala obulwadde obw’olukonvuba oba singa obukadde bubaako bye butulemesa okukola, tuyinza okuggwaamu amaanyi kubanga tuba tetusobola kukola bingi nga bwe twandyagadde mu buweereza bwa Katonda.​—Abebbulaniya 6:10.

Bye tusuubira bwe bitatuukirira. Tuyinza okuggwaamu amaanyi singa okufuba kwaffe mu kubuulira Ekigambo kya Katonda kuvaamu ebibala bitono.​—Engero 13:12.

Okwewulira ng’atali wa mugaso. Singa omuntu amala ekiseera ng’ayisibwa bubi, ayinza okulowooza nti bonna tebamwagala nga mw’otwalidde ne Yakuwa.​—1 Yokaana 3:19, 20.

Abalala bwe batuyisa obubi. Singa omuntu aba ayisiddwa bubi musinza munne, ayinza okwennyamira ennyo n’alekera n’awo okujja mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo oba okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro.​—Lukka 17:1.

Okuyigganyizibwa. Abo bwe mutafaananya nzikiriza bayinza okukuziyiza, okukuyigganya, oba okukusekerera.​—2 Timoseewo 3:12; 2 Peetero 3:3, 4

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Yesu yatukubiriza ‘okusabanga’ obuyambi obwetaagisa okusobola okuziyiza okukemebwa