Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Okusinga Byonna, Mubenga n’Okwagala Okungi Ennyo”

“Okusinga Byonna, Mubenga n’Okwagala Okungi Ennyo”

“Okusinga Byonna, Mubenga n’Okwagala Okungi Ennyo”

“Enkomerero ya byonna eri kumpi. . . . Okusinga byonna, mubenga n’okwagala okungi ennyo mwekka na mwekka.”​—1 PEETERO 4:7, 8, NW.

YESU yali akimanyi nti ekiseera kye yali asigazzaayo ng’ali n’abayigirizwa be kyali kikulu nnyo. Era yali amanyi bye baali boolekedde mu maaso. Waaliwo omulimu ogw’amaanyi gwe baalina okutuukiriza, wadde nga bandikyayiddwa era ne bayigganyizibwa nga ye. (Yokaana 15:18-20) Mu kiro kye yasembayo okuba nabo, enfunda n’enfunda yabajjukiza obukulu ‘bw’okwagalana.’​—Yokaana 13:34, 35; 15:12, 13, 17.

2 Omutume Peetero, eyaliwo ekiro ekyo, yategeera bulungi obukulu bw’ensonga eyo. Oluvannyuma lw’emyaka egiwerako, ng’ebulayo ekiseera kitono Yerusaalemi okuzikirizibwa, Peetero yaggumiza obukulu bw’okwagalana. Bw’ati bwe yabuulirira Abakristaayo: “Enkomerero ya byonna eri kumpi. . . . Okusinga byonna mubenga n’okwagala okungi ennyo mwekka na mwekka.” (1 Peetero 4:7, 8, NW) Ebigambo bya Peetero bikulu nnyo eri abo abali mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka eno ey’ebintu. (2 Timoseewo 3:1) “Okwagala okungi ennyo” kwe kuluwa? Lwaki kikulu okulaga abalala okwagala nga kuno? Era tuyinza kukulaga tutya?

“Okwagala Okungi Ennyo”​Kwe Kuluwa?

3 Abasinga balowooza nti okwagala eba nneewulira ejja obuzzi yokka. Naye, Peetero wano yali tayogera ku kwagala okw’ekika ekirala kyonna wabula okwo okusingirayo ddala okuba okwa waggulu. Ekigambo “okwagala” ekiri mu 1 Peetero 4:8 kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Oluyonaani a·gaʹpe. Ekigambo ekyo kitegeeza okwagala okutali kwa kwerowoozako, okwesigamiziddwa ku misingi. Ekitabo ekimu kigamba nti: ‘Okwagala okw’ekika kino omuntu aba asobola okukufuga olw’okuba tekwesigama ku nneewulira wabula oli aba akubirizibwa mu birowoozo bye okubaako ky’akola.’ Olw’okubanga twasikira engeri y’okwerowoozako, twetaaga okujjukizibwa bulijjo okulagaŋŋana okwagala, era ne tukulaga mu ngeri Katonda gy’atulagira.​—Olubereberye 8:21; Abaruumi 5:12.

4 Kino tekitegeeza nti twandibadde twagalana olw’okutuusa obutuusa omukolo. Okwagala okuyitibwa a·gaʹpe kubaamu okwoleka omukwano n’okufaayo. Peetero yagamba nti tulina ‘okuba n’okwagala okungi ennyo [obutereevu, “okw’ensusso”] fekka na fekka.’ * (Kingdom Interlinear) Kyokka era, okwagala okw’ekika kino kwetaagisa okufuba. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa “ennyo,” kakensa omu yakyogerako bw’ati: “Kikuwa ekifaananyi eky’akaseera omuddusi w’ayongereramu amaanyi ng’anaatera okumaliriza embiro.”

5 N’olwekyo okwagala kwaffe tekulina kulagibwa mu biseera ebyo byokka we kirabika nga tekiitukaluubirize oba okulagibwa abantu bamu na bamu. Tulina okulaga okwagala okw’Ekikristaayo ne mu mbeera eziyinza okulabika ng’enzibu. (2 Abakkolinso 6:11-13) Kya lwatu nti kitwetaagisa okufuba okusobola okukulaakulanya okwagala okw’ekika kino, ng’omuddusi bw’alina okufuba ennyo okusobola okwongera ku busobozi bwe. Kikulu nnyo okulaga bannaffe okwagala nga kuno. Lwaki? Ensonga ziri nga ssatu.

Lwaki Tulina Okwagalana?

6 Ensonga esooka, “okwagala kuva eri Katonda.” (1 Yokaana 4:7) Yakuwa, ensibuko y’engeri eno esikiriza, ye yasooka okutwagala. Omutume Yokaana agamba bw’ati: “Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw’oyo.” (1 Yokaana 4:9) Omwana wa Katonda ‘yatumibwa’ n’azaalibwa ku nsi ng’omuntu, n’atuukiriza obuweereza bwe, era n’afiira ku muti​—“tulyoke tube abalamu.” Ekikolwa ekyo ekisingirayo ddala okwoleka okwagala kwa Katonda kyandituleetedde kukola ki? Yokaana agamba: “Nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo, naffe kitugwanira okwagalananga.” (1 Yokaana 4:11) Weetegereze nti Yokaana yawandiika, “Nga Katonda bwe yatwagala”​—si ggwe wekka wabula ffenna. Ensonga eno etegeerekeka bulungi: Katonda bw’aba ng’ayagala basinza bannaffe, naffe tulina okubaagala.

7 Eky’okubiri, kikulu nnyo okwagalana naddala kati, tusobole okuyamba baganda baffe abali mu bwetaavu kubanga “enkomerero ya byonna eri kumpi.” (1 Peetero 4:7) Tuli mu “biro eby’okulaba ennaku.” (2 Timoseewo 3:1) Embeera y’ensi, obutyabaga, n’okuziyizibwa bikalubya obulamu bwaffe. Nga tuli mu mbeera enzibu ng’ezo, twetaaga okunyweza enkolagana yaffe ne bannaffe. Okwagala okungi ennyo kujja kutukumaakuma era kutukubirize ‘okuyambagananga ffekka na ffekka.’​—1 Abakkolinso 12:25, 26.

8 Eky’okusatu, tulina okwagalana kubanga tetwagala ‘kuwa Setaani bbanga’ kutukozesa bikyamu. (Abeefeso 4:27) Setaani ali bulindaala okukozesa obutali butuukirivu bwa basinza bannaffe​—obunafu bwabwe, n’ensobi zaabwe​—atuleetere okwesittala. Ebigambo eby’ensumattu n’ebikolwa ebitali bya kisa binaatuleetera okwesamba ekibiina? (Engero 12:18) Si bwe tujja okukola singa tuba twagalana ffekka na ffekka! Okwagala nga kuno kutuyamba okukuuma emirembe n’okubeera obumu nga tuweereza Katonda “n’omwoyo gumu.”​—Zeffaniya 3:9.

Engeri gy’Oyinza Okulaga Abalala nti Obaagala

9 Okulaga abalala okwagala kirina kutandikira waka. Yesu yagamba nti abagoberezi be banditegeereddwa ku kwagala kwe bandibadde balaga buli omu eri munne. (Yokaana 13:34, 35) Okwagala tekulina kulagibwa mu kibiina mwokka naye kulina okulagibwa ne mu maka​—wakati w’omwami n’omukyala ne wakati w’abazadde n’abaana. Tekimala okuwulira obuwulizi muli nti twagala ab’omu maka gaffe; tulina okulaga okwagala okwo mu bikolwa.

10 Abafumbo bayinza batya okulaga nti baagalana? Omwami ayagalira ddala mukyala we, akimumanyisa era n’akimulaga ne mu bikolwa nti amwenyumirizaamu​—mu lujjudde ne bwe baba nga bali bokka. Amussaamu ekitiibwa era afaayo ku ndowooza ye n’enneewulira. (1 Peetero 3:7) Afaayo nnyo ku bikwata ku mukyala we, era akola kyonna ky’asobola okukola ku byetaago bye eby’omubiri, eby’omwoyo n’enneewulira ye. (Abeefeso 5:25, 28) Omukyala ayagala bba, ‘amussaamu ekitiibwa,’ wadde nga ebiseera ebimu bba tatuukiriza by’amusuubiramu. (Abeefeso 5:22, 33) Ayamba omwami we era amugondera, tamupeeka bintu, naye akolagana naye bulungi basobole okussa essira ku bintu eby’omwoyo.​—Olubereberye 2:18; Matayo 6:33.

11 Abazadde, muyinza mutya okulaga abaana bammwe okwagala? Olw’okuba mukola butaweera okubalabirira mu by’omubiri, kiraga nti mubaagala. (1 Timoseewo 5:8) Naye eby’okulya, eby’okwambala, n’aw’okusula si bye byokka abaana bye beetaaga. Bwe banaaba ba kwagala Katonda era n’okumuweereza, beetaaga okutendekebwa mu by’omwoyo. (Engero 22:6) Kino kiba kyetaagisa okuwaayo ebiseera okusomera awamu Baibuli ng’amaka, okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, n’okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. (Ekyamateeka 6:4-7) Okusobola okutuukiriza ebintu nga bino kyetaagisa okufuba kwa maanyi, naddala mu biseera bino ebizibu. Bw’ofaayo era n’ofuba okukola ku byetaago by’abaana bo eby’eby’omwoyo kiraga nti obaagala, kubanga mu kukola bw’otyo oba olaga nti ofaayo ku biseera byabwe eby’omu maaso.​—Yokaana 17:3.

12 Ate era kikulu abazadde okulaga abaana baabwe okwagala nga bafaayo ku nneewulira zaabwe ez’omunda. Abaana balina okukakasibwa nti baagalibwa. Bategeeze nti obaagala era okibalage ne mu bikolwa, kubanga awo kiba kibakakasa nti baagalibwa era ba mugaso. Beebaze, kubanga bw’okola bw’otyo kiba kibalaga nti olaba bye bakola era obisiima. Bakangavvule mu ngeri ey’okwagala, kubanga ekyo kiba kiraga nti oyagala bakule nga bantu balungi. (Abeefeso 6:4) Ebikolwa ng’ebyo ebyoleka okwagala biyamba amaka okubeera amasanyufu era nga gali bumu, mu ngeri eyo ne gasobola okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo mu nnaku zino ez’oluvannyuma.

13 Okwagala kutuleetera okubuusa amaaso ensobi z’abalala. Kijjukire nti Peetero bwe yali akubiriza abo be yawandiikira ‘okwagalana ennyo,’ yawa ensonga lwaki kino kikulu, ng’agamba nti: “Okwagala kubikka ku bibi bingi.” (1 Peetero 4:8) ‘Okubikka’ ku bibi, tekitegeeza ‘kubikka’ ku bibi bya maanyi. Ebibi ng’ebyo bitegeezeebwa abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina era ne bikolebwako. (Eby’Abaleevi 5:1; Engero 29:24) Tekiba kikolwa kya kwagala​—era kiba kikontana n’ebyawandiikibwa​—okuleka abakozi b’ebibi okweyongera okulumya oba okwonoona abalala.​—1 Abakkolinso 5:9-13.

14 Emirundi egisinga obungi, ensobi za bakkiriza bannaffe teziba za maanyi nnyo. Ffenna ebiseera ebimu tusobya mu bigambo ne mu bikolwa, ne tulumya abalala oba ne tutatuukiriza bye batusuubiramu. (Yakobo 3:2) Twandiraalaasizza ensobi za bannaffe? Bwe tukola bwe tutyo, kijja kwongera kuleetawo butategeeragana mu kibiina. (Abeefeso 4:1-3) Bwe tuba n’okwagala, tetujja ‘kuwaayiriza’ musinza munnaffe. (Zabbuli 50:20) Nga pulasita ne langi bwe bibikka bbulooka z’ekisenge, n’okwagala bwe kutyo bwe kubikka ku butali butuukirivu bw’abalala.​—Engero 17:9.

15 Okwagala kujja kutukubiriza okuyamba abo abali mu bwetaavu. Ng’embeera bwe zeeyongera okwonooneka mu nnaku zino ez’oluvannyuma, wayinza okubaawo ebiseera bakkiriza bannaffe lwe baba beetaaga obuyambi bw’ebintu oba emmere. (1 Yokaana 3:17, 18) Ng’ekyokulabirako, waliwo ow’oluganda mu kibiina afunye obuzibu obw’amaanyi ennyo mu by’enfuna oba agobeddwa ku mulimu? Tuyinza okumuwa obuyambi nga bwe tuba tusobodde. (Engero 3:27, 28; Yakobo 2:14-17) Amaka ga nnamwandu akaddiye geetaaga okuddaabirizibwa? Oboolyawo tuyinza okubaako kye tukola mu kugaddaabiriza.​—Yakobo 1:27.

16 Tetusaanidde kwagala abo bokka abatuli okumpi. Emirundi egimu tuyinza okuwulira alipoota ezikwata ku baweereza ba Katonda mu nsi endala abakoseddwa kibuyaga, musisi, n’obutali butebenkevu. Bayinza okuba nga balina obwetaavu bwa maanyi obw’emmere, eby’okwambala, n’ebintu ebirala. Tetwandifuddeyo oba ba ggwanga ki oba kika ki. ‘Twagala ab’oluganda bonna.’ (1 Peetero 2:17) Okufaananako ebibiina by’omu kyasa ekyasooka, tuli beetegefu okuwagira enteekateeka ez’okuwa obuyambi. (Ebikolwa 11:27-30; Abaruumi 15:26) Bwe tulaga okwagala mu ngeri nga zino, tunyweza omukwano gwe tulina ng’ab’oluganda mu nnaku zino ez’oluvannyuma.​—Abakkolosaayi 3:14.

17 Okwagala kutukubiriza okubuulirako abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Weetegereze ekyokulabirako kya Yesu. Lwaki yabuulira era n’ayigiriza? ‘Yasaasira’ ebibiina olw’embeera embi ey’eby’omwoyo gye byalimu. (Makko 6:34) Baali tebafiibwako ate nga bakyamiziddwa abakulembeze b’amadiini ag’obulimba, abandibadde babayigiriza amazima n’okubawa essuubi. N’olwekyo, ng’akubirizibwa okwagala okuviira ddala mu mutima n’okusaasira, Yesu yagumya abantu ng’ababuulira “enjiri ey’Obwakabaka bwa Katonda.”​—Lukka 4:16-21, 43.

18 Ne leero abantu bangi tebafiiriddwako mu by’omwoyo, babuzaabuziddwa era ne basigala nga tebalina ssuubi. Okufaananako Yesu, singa tulowooza ku bwetaavu obw’eby’omwoyo obw’abo abatamanyi Katonda ow’amazima, tujja kukubirizibwa okwagala tubabuulire amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Matayo 6:9, 10; 24:14) Olw’okuba esigadde ekiseera kitono, kyetaagisa okubuulira mu bwangu obubaka buno obuwonya obulamu.​—1 Timoseewo 4:16.

“Enkomerero ya Byonna Eri Kumpi”

19 Kijjukire nti Peetero bwe yali akubiriza ebikwata ku kwagalana ffekka na ffekka yatandika n’ebigambo: “Enkomerero ya byonna eri kumpi.” (1 Peetero 4:7) Mangu ddala ensi ya Katonda empya etuukiridde ejja kudda mu kifo ky’ensi eno embi. (2 Peetero 3:13) N’olwekyo, kino si kiseera kya kwesuulirayo gwa nnagamba. Yesu yatulabula: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme okuzitoowererwanga olw’obuluvu n’okutamiiranga n’okweraliikiriranga eby’obulamu buno, era olunaku luli luleme okubatuukako ng’ekyambika.”​—Lukka 21:34, 35.

20 N’olw’ensonga eyo, ka ‘tutunulenga’ nga tujjukira ekiseera kye tulimu. (Matayo 24:42) Ka twekuume ebikemo ebiva eri Setaani ebiyinza okutuwugula. Ka tuleme kukkiriza nsi eno etaliimu kwagala okutulemesa okulaga abalala okwagala. Okusinga byonna, ka tweyongere okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda ow’amazima, Yakuwa, agenda okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi ng’ayitira mu Bwakabaka bwa Masiya.​—Okubikkulirwa 21:4, 5

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Mu 1 Peetero 4:8, enzivuunula za Baibuli endala zigamba nti, tulina okwagalana ffekka na ffekka “mu bwesimbu.”

EBIBUUZO

• Yesu yabuulirira atya abayigirizwa be ng’ayawukana nabo, era kiki ekiraga nti Peetero yategeera bulungi okubuulirira okwo? (But. 1-2)

• “Okwagala okungi ennyo” kwe kuluwa? (But. 3-5)

• Lwaki tusaanidde okwagalana? (But. 6-8)

• Oyinza otya okulaga abalala nti obaagala? (But. 9-18)

• Lwaki kino si kiseera kya kwesuulirayo gwa nnagamba, era twandibadde bamalirivu kukola ki? (But. 19-20)

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Amaka agali obumu gasobola bulungi okwaŋŋanga ebizibu ebiriwo mu nnaku zino ez’oluvannyuma

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Okwagala kutukubiriza okuyamba abo abali mu bwetaavu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda kikolwa kya kwagala