Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okussaayo Omwoyo Kwawonyawo Obulamu Bwabwe

Okussaayo Omwoyo Kwawonyawo Obulamu Bwabwe

Okussaayo Omwoyo Kwawonyawo Obulamu Bwabwe

YESU KRISTO yalabula ku nkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya eyali yeesigamye ku kusinza okw’omu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Teyawa lunaku ekyo lwe kyandibaddewo. Naye, yayogera ebintu ebyandibaddewo ng’okuzikirizibwa kunaatera okutuuka. Yakubiriza abayigirizwa be okusigala nga batunula era n’okuva mu kitundu ekyandibaddemu akabi.

Yesu yagamba: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka.” Ate era yagamba nti: “Bwe muliraba eky’omuzizo ekizikiriza . . . nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, . . . kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.” Yesu yakubiriza abayigirizwa be obutaddayo kutaakiriza bintu. Baalina okuddukamu mu bwangu okusobola okuwonyawo obulamu bwabwe.​—Lukka 21:20, 21; Matayo 24:15, 16.

Okusobola okukomya akeegugungo, Sesitiyasi Galasi yakulembera eggye ly’Abaruumi okulumba Yerusaalemi mu 66 C.E. Yayingira mu kibuga era n’azingiza yeekaalu. Ekibuga kyagwaamu ensasagge. Abo abaali obulindaala baali basobola okulaba nti akabi kaali katuuse. Kyali kisoboka okudduka? Nga tekisuubirwa, Sesitiyasi Galasi yajjulula amagye ge. Bakyewaggula Abayudaaya baabawondera. Kino kye kyali ekiseera eky’okudduka okuva mu Yerusaalemi ne Buyudaaya!

Omwaka ogwaddako, amagye g’Abaruumi gaakomawo nga gaduumirwa Vesipasiyani ne mutabani we Tito. Eggwanga lyonna lyabuutikirwa olutalo. Ng’omwaka gwa 70 C.E. gwakatandika, Abaruumi baazimba ekigo okwetooloola Yerusaalemi. Kati kyali tekikyasoboka kudduka okukivaamu. (Lukka 19:43, 44) Ebibinja ebitali bimu byattiŋŋana byokka na byokka mu kibuga. Abo abaasigalawo battibwa Abaruumi, abamu ne batwalibwa mu buwambe. Ekibuga ne yeekaalu yaakyo byasaanyizibwawo. Okusinziira ku Josephus, munnabyafaayo Omuyudaaya ow’omu kyasa ekyasooka, Abayudaaya abasukka mu kakadde battibwa. Yeekaalu eyo teddangamu kuzimbibwa.

Singa Abakristaayo baali bakyali mu Yerusaalemi mu 70 C.E., bandittiddwa oba banditwaliddwa mu buddu wamu n’abantu abalala abaasangibwayo. Kyokka, bannabyafaayo ab’edda bagamba nti Abakristaayo baakolera ku kulabula okwava eri Katonda ne badduka okuva mu Yerusaalemi ne Buyudaaya ne bagenda mu nsozi eziri ebuvanjuba w’Omugga Yoludaani. Abamu baasenga mu Pella eky’omu ssaza ly’e Pereya. Badduka mu Buyudaaya era tebaddayo. Okugoberera okulabula kwa Yesu kyawonyawo obulamu bwabwe.

Ossaayo Omwoyo ku Kulabula Okwesigika?

Olw’okuba bawulidde okulabula kungi ne kutatuukirira, abantu bangi tebakyefiirayo ku kulabula okw’engeri yonna. Kyokka, okukolera ku kulabula kiyinza okuwonyawo obulamu bwo.

Mu 1975, waaliwo okulabula mu China, nti musisi yali agenda kuyita. Abakungu baalina kye baakolawo. Abantu baawuliriza. Era nkumi na nkumi ne bawonyezebwawo.

Mu Philippines, mu Apuli 1991, abantu abaabeeranga ku Lusozi Pinatubo baategeeza nti olusozi olwo lwali luvaamu olunyata. Oluvannyuma lw’okwetegereza embeera okumala emyezi ebiri, ettendekero ly’omu Philippines eriyigiriza ebikwata ku nsozi eziwandula omuliro ne musisi, lyalabula ku kabi akaali kagenda okubaawo amangu ddala. Mu bwangu ddala, abantu nkumi na nkumi baasengulwa okuva mu kitundu ekyo. Nga Jjuuni 15, waaliwo okubwatuka okunene, olusozi ne luwandula waggulu olunyata ttani buwumbi na buwumbi oluvannyuma ne luyiika mu bitundu ebyetooloddewo. Okukolera ku kulabula kyawonyawo enkumi n’enkumi z’abantu.

Baibuli etulabula ku nkomerero y’embeera zino ez’ebintu, era nga kati tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Ng’enkomerero egenda esembera, oli bulindaala? Olina ky’okozeewo ekinaakusobozesa okuwonawo? Ng’otegeera bulungi obukulu bw’ekiseera kye tulimu, olabula abalala nabo babeeko kye bakolawo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Okukolera ku kulabula kyawonyawo obulamu bw’abantu bangi Olusozi Pinatubo bwe lwawandula olunyata

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Abakristaayo abaakolera ku kulabula kwa Yesu baawonyezebwawo, Yerusaalemi bwe kyali kizikirizibwa mu 70 C.E.