Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Tebaafaayo’

‘Tebaafaayo’

‘Tebaafaayo’

OBUTAFAAYO ku kulabula kusobola okuvaamu akabi.

Mu 1974, mu kibuga Darwin eky’omu Australia, abantu baali bateekateeka ebikujjuko ne balabulwa nti embuyaga ez’amaanyi zaali zijja. Kyokka okumala emyaka nga 30 embuyaga ez’amaanyi ezaayitanga mu kibuga ekyo zaali tezirina kabi konna ke zikola. Kati ate bandibadde beeraliikirira ki? Abatuuze abasinga obungi tebaalowooza nti wajja kubaawo akabi konna okutuusa embuyaga bwe zaatandika okutikkulako obusolya era n’okumenya amayumba abantu mwe baali beewogomye. Mu lunaku lumu, ekibuga kyali kyonooneddwa.

Mu Colombia mu Noovemba 1985, olusozi lwawandula omuliro. Omuzira ogwasaanuuka gwakulukusa ettaka eryaziika abantu abasukka mu 20,000 ab’omu kibuga Armero. Tewaaliwo kulabula kwonna? Olusozi olwo lwali lumaze emyezi egiwerako nga lukankana. Kyokka, olw’okuba baali bamanyidde okubeera ku mabbali g’olusozi olwo, abantu abasinga obungi mu Armero tebaafaayo. Abakungu baalabulwa nti akabi kaali kanaatera okubaawo, naye tebalina kye baakolawo okulabula bantu. Baafuba bufubi kugumya bantu nga bayisa ebirango ku leediyo. Emizindaalo gy’ekkanisa gyakozesebwa okukubiriza abantu babeere bakkakkamu. Akawungeezi ako, waaliwo okubwatuka okw’amaanyi ennyo kwa mirundi ebiri. Singa wali mu kibuga ekyo wandirese ebintu byo n’odduka? Batono nnyo abaagezaako okudduka naye we baddukira kyali tekikyasoboka.

Emirundi mingi abanoonyereza ku by’omu ttaka bamanya ekifo kyennyini musisi w’anaayita. Kyokka, tebatera kumanya kiseera kyennyini lw’anaayita. Mu 1999 musisi yatta abantu nga 20,000 mu nsi yonna. Abasinga obungi ku abo abaafa baali tebalowooza nti musisi ayinza okubakolako akabi.

Okolawo Ki nga Katonda Akulabudde?

Baibuli yannyonnyola bulungi ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero. Ng’eyogera ku byandibaddewo, Baibuli etukubiriza okulowooza ku “nnaku za Nuuwa.” ‘Mu nnaku ezo ng’amataba tegannaba kujja,’ abantu baali beemalidde ku bintu ebya bulijjo, wadde beeraliikiriranga ebikolwa eby’obukambwe ebyali bibunye buli wamu. Okulabula Yakuwa kwe yabawa okuyitira mu muweereza we Nuuwa tebaakufaako, ‘okutuusa amataba lwe gajja ne gabatwala bonna.’ (Matayo 24:37-39) Wandifuddeyo ku kulabula okwo? Ofaayo?

Watya singa wali obeera mu kibuga Sodomu, ekyali okumpi n’Ennyanja Enfu, mu kiseera kya Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu? Ebitundu ebikyetoolodde byali birabika bulungi nnyo. Ekibuga kyali kigagga. Abantu baali mu mirembe. Mu nnaku za Lutti, abantu “baali nga balya, nga banywa, nga bagula, nga batunda, nga basiga, nga bazimba.” Ate era abantu b’omu kibuga ekyo baali bagwenyufu nnyo. Wandifuddeyo ku ebyo Lutti bye yayogera ng’avumirira ebikolwa ebyo ebibi? Wandiwulirizza bwe yandikugambye nti Katonda amaliridde okuzikiriza ekibuga Sodomu? Oba wandikitutte nti asaaga, nga bakoddomi be bwe baakitwala? Oba wanditandise okudduka naye ate n’okyuka okutunula ennyuma nga mukazi wa Lutti bwe yakola? Wadde ng’abalala tebaafaayo ku kulabula okwo, ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu, ‘omuliro n’ekibiriiti byatonnya okuva mu ggulu ne bibazikiriza bonna.’​—Lukka 17:28, 29.

Abasinga obungi mu kiseera kyaffe tebafaayo ku kulabula. Kyokka ebyokulabirako bino bikuumiddwa mu Kigambo kya Katonda okutulabula, yee okutukubiriza OKUBEERA OBULINDAALA!

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Ddala Waaliwo Amataba Agaabuna Ensi Yonna?

Abantu bangi bagamba tegaaliwo. Kyokka Baibuli egamba nti gaaliwo.

Yesu Kristo kennyini yagoogerako, era yali mu ggulu mu kiseera ekyo we gaabeererawo.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Ddala Sodomu ne Ggomola Byazikirizibwa?

Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda kino bakikakasa.

Ebyafaayo bikyogerako.

Yesu Kristo yakikakasa, era kyogerwako mu bitabo 14 mu Baibuli.