Essomo 3
David akitegeerako nti mukwano gwe mulwadde.
Agamba nti: “Mmanyi eky’okukola.
Ka mmuwandiikire akabaluwa
oluvannyuma nkamutwalire!”Laga munno ekisa, mwembi mujja kuba basanyufu!
EBY’OKUKOLA
Somera omwana wo:
Gamba omwana wo asonge ku:
Nnyumba Emmeeza David
Enjuba Ekinyonyi Omuti
Buuza omwana wo:
Waliwo omuntu yenna gw’omanyi ateewulira bulungi?
Tuyinza kumuyamba tutya?