Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essomo 4

Essomo 4

Enkuba etonnya.

Dina agamba nti: “Ennemesezza okufuluma ebweru.

Lwaki terekera awo kutonnya?”

Kati Dina musanyufu!

Enkuba ekedde, era

akasana kaaka.

Adduka n’agenda ebweru, era asanyuka nnyo okulaba ebimuli ebirabika obulungi.

Dina agamba nti: “Mbadde simanyi nti enkuba Katonda gy’atuwa y’ekuza ebimuli!”

EBY’OKUKOLA

Somera omwana wo:

Ebikolwa 14:17

Gamba omwana wo asonge ku:

Ddirisa Ekinyonyi Dina

Omuti Ebimuli

Omupiira Ennyonyi

Buuza omwana wo:

Lwaki Yakuwa atuwa enkuba?