Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Essomo 6

Essomo 6

Tunuulira engalo zo, era nyeenya obugere bwo. Songa ku matu go ne ku nnyindo yo.

Tunuulira amagulu go agakusobozesa okutambula, okudduka, okubuuka, n’okukola ebintu ebirala ebikunyumira!

Tunula mu ndabirwamu. Bitundu ki eby’omubiri gwo by’olaba?

Byonna Yakuwa yabitonda mu ngeri eyeewuunyisa!

EBY’OKUKOLA

Somera omwana wo:

Zabbuli 139:14

Gamba omwana wo asonge ku:

Ngalo ze Obugere bwe Ennyindo ye

Amatu ge Akamwa ke

Ekkovu Kkapa

Buuza omwana wo:

Ani yatutonda?