Buuka ogende ku bubaka obulimu

Byonna Ebitutuukako Byatutegekerwa Dda? Oba Tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’Ebyo bye Tukola?

Byonna Ebitutuukako Byatutegekerwa Dda? Oba Tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’Ebyo bye Tukola?

Byonna Ebitutuukako Byatutegekerwa Dda? Oba Tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’Ebyo bye Tukola?

WANDIZZEEMU otya ebibuuzo ebyo? Oyinza okuba nga tobirowoozangako. Oba oyinza okuba nga weebuuza engeri ebibuuzo ebyo gye bikwataganamu, ng’ogamba nti, ‘kya lwatu, tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’ebyo bye tukola. Ate era, buli kimu ekyatuteekerwateekerwa kijja kututuukako.’

Bwe kiba nti bw’otyo bw’olowooza, siriikiriramu ofumiitirize!

Tuvunaanyizibwa eri ani olw’ebyo bye tukola? Tuvunaanyizibwa eri Katonda. Kati olwo ani yatuteekerateekera ebitutuukako? Bangi era bayinza okugamba nti: “Katonda.” Naye ekyo kya magezi? Oyinza okuwaliriza omuntu okukola ekintu ate oluvannyuma n’omunenya olw’okukikola? Lowooza ku taata asiba enzigi z’ennyumba ye ku makya okusobola okuziyiza mutabani we okufuluma wabweru. Bw’akomawo awaka olweggulo asanga mutabani we asiibye mu nju olunaku lwonna. Kati kiba kitya singa taata abuuza mutabani we ensonga lwaki yasigadde mu nju olunaku lwonna, oboolyawo n’amubonereza n’okumubonereza ng’amulanga obugayaavu? Ekyo kyandibadde kya bwenkanya? Taata ng’oyo wandimututte otya?

‘Ekyo tekisobola kubaawo,’ bw’otyo bw’oyinza okugamba. Kyokka, okusinziira ku bantu abamu, ekyo Katonda ky’akola. Bwe kiba nti ebintu ebirungi n’ebibi byonna biva wa Katonda, era nga buli kimu ekitutuukako yakiteekateeka dda, kati lwaki yandibadde atuvunaana olw’ebintu ebibi bye tukola? Bwe kiba nti ebintu bye tukola Katonda ye yabiteekateeka, lwaki tuvunaanyizibwa olw’ebikolwa byaffe? Lwaki Katonda atuvunaana olw’ebintu bye twakola nga tetweyagalidde?

Wandiba nga kati ogamba: ‘Ensonga eno nzibu nnyo okutegeera. Tetulina magezi wadde obuyigirize obumala okusobola okutegeera amakubo ga Katonda. Ka tugirekere abeekenneenya ebikwata ku Katonda bagikubaganyeeko ebirowoozo.’

Okwatibwako

Kyokka, sooka ofumiitirize. Ebibuuzo ebyo waggulu bitukwatako ffenna. Ffenna ensi eno tugibeerako ekiseera kitono ne tufa. Engeri gye tuddamu ebibuuzo ebyo erina kinene nnyo ky’ekola ku ngeri gye tweyisaamu mu bulamu. Bwe kiba nti Katonda yateekateeka dda ebintu ebyanditutuuseeko, lwaki tutawaana okulongoosa engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe? Lwaki tutawaana n’okuyiga ebikwata ku Katonda? Ebigambo nga “ekituufu” ne “ekikyamu,” “ekibi” ne “ekirungi,” tebiba na makulu. Bwe kiba nti Katonda yatuteekerateekera okukola ekintu kye tutwala ng’ekibi, tetusobola kukikyusaamu kubanga ekyo ky’aba yatuteekerateekera.

Bwe kiba nti ebintu bwe bityo bwe biri, lwaki Katonda atuyigirizza amateeka ge? Lwaki yatuma bannabbi be? Lwaki ebitabo ebiyitibwa Ekigambo kya Katonda, byawandiikibwa? Bwe kiba nti ebintu ebitutuukako mu bulamu byatuteekerwateekerwa dda, ebyo byonna byandibadde n’amakulu? Mazima ddala, omuntu ategeera tayinza kukkiririza mu bintu ebikontana.

Ku luuyi olulala, bwe tuba nga tulina eddembe ly’okwesalirawo, era nga tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’ebyo bye tukola, tuba tulina okukozesa obulungi obulamu bwaffe obumpi nga tuyiga ebikwata ku Katonda, ebigendererwa bye, era nga tufuba okweyisa mu ngeri gy’asiima. Buno buba buvunaanyizibwa bwa buli muntu yenna omulamu. Tewali muntu mulala yenna ayinza kuweereza Katonda ku lwaffe. Buli omu ku ffe avunaanyizibwa ku lulwe olw’ebintu ebibi by’akola.

Kati ndowooza olaba ensonga lwaki kikulu okufuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo bino: Tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’ebyo bye tukola? Oba ebitutuukako mu bulamu biba byatuteekerwateekerwa dda?

We Tuyinza Okufuna eby’Okuddamu

Wa we tuyinza okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo? Ekifo ekimu we tuyinza okubiggya ye Baibuli, mu Basiraamu emanyiddwa ng’erimu Tevrat (Tawuleeti), Zebur (Zabbuli), ne Incil (Enjiri), era ng’ekkirizibwa nga “Ekigambo kya Katonda.” * Tusoma bwe tuti mu Baibuli: “Omubi bw’akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n’akwata amateeka gange gonna, n’akola ebyalagirwa eby’ensonga, talirema kuba mulamu, talifa. Nnina essanyu ly’ensanyukira okufa kw’omubi? . . . Naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?” (Ezeekyeri 18:21, 23) Kya lwatu, omuntu omubi asobola okukyusa amakubo ge. Teyateekerwateekerwa kusigala nga mubi obulamu bwe bwonna.

Ensonga eyo era eyogerwako mu kyawandiikibwa kya Baibuli kino: “Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi . . . , kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulabula okuva gye ndi. Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n’otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.”​—Ezeekyeri 3:17, 18.

Yee, Ekigambo kya Katonda kikyoleka bulungi nti ebintu ebituuka ku muntu biba tebyamuteekerwateekerwa dda. Omuntu asobola okwesalirawo eky’okukola. Asobola okukola ekirungi oba ekibi. Era bw’akola ebibi olw’obutamanya, bw’ayiga amazima asobola okukyusa n’akola ebirungi, bwe kityo n’afuna obulamu. Mu butuufu tuvunaanyizibwa olw’ebikolwa byaffe.

Osobola Otya Okusalawo?

Baibuli egamba nti Omutonzi waffe ye Katonda ow’okwagala, atalina bubi bwonna. Katonda ono ow’okwagala agamba: “Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo.” (Ekyamateeka 30:19) Katonda yatonda omuntu ng’alina eddembe ly’okwesalirawo. Abantu bwe basalawo okweyisa mu ngeri etatuukagana na bigendererwa bye, baba bajja kuzikirizibwa. Kyokka, osobola okusalawo okufuna obulamu. Naye gwe kennyini gwe olina okwesalirawo ku lulwo. Tewali ayinza kukusalirawo.

Osobola otya okusalawo okufuna obulamu? Okusookera ddala, ggwe kennyini olina okuba omukakafu nti Baibuli Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. Okusobola okuba omukakafu, olina okufuba okugisoma ng’olina endowooza etagudde lubege. Oluvannyuma oba olina okuyiga okuva mu Baibuli, ensonga lwaki Katonda yatonda omuntu, lwaki tufa, ekibaawo nga tufudde, n’engeri gy’oyinza okusanyusaamu Katonda.

Leka kugamba nti: ‘Kino kizibu nnyo; Sisobola kukikola.’ Katonda yanditusuubizza okutuwa obulamu ate n’alemesa abamu okubufuna? Bwe kiba nti bye twetaaga biri mu Baibuli, Katonda taatuyambe nga tugisoma? Gwe ky’olina okukola kwe kufuba okugisoma. Kye kintu ekisingayo okuba eky’omugaso ky’osobola okukola.

Ebiseera Bye Tulimu Bikulu Nnyo

Tolwa. Ebiseera bye tulimu bikulu nnyo. Baibuli eyogera ku “kabonero” akalamba ennaku ez’oluvannyuma ez’embeera y’ebintu bino. (Matayo 24:3) Bino bye bimu ku bintu ebiri mu kabonero:

‘Eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaa la kabaka. Walibaawo enjala.’ (Matayo 24:7) ‘Walibaawo ebikankano ebinene.’ ‘Walibaawo kawumpuli mu bifo bingi.’ (Lukka 21:11) ‘Obujeemu buliyinga obungi.’​Matayo 24:12.

Okusinziira ku Baibuli, bino n’ebintu ebirala ebiri mu kabonero ak’enakku ez’oluvannyu, byandibaddewo mu kiseera kye kimu. Obujulizi bwonna bulaga nti ebintu bino ebiri mu kabonero bibaddewo okuva mu kiseera kya Ssematalo I, eyabalukawo mu 1914.

Olw’ensonga eno, tukukubiriza okusoma Baibuli awatali kulwa. Ekigambo kya Katonda kitugamba nti: “Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu. Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.”​—Omubuulizi 12:13, 14.

Bw’oba ng’oyagala okuyiga ebisingawo ebikwata ku ku ngeri gy’oyinza okusalawo mu ngeri ey’amagezi okusobola okufuna obulamu mu nnaku zino ez’oluvannyuma enzibu ennyo, wandiika ng’okozesa ezimu ku ndagiriro zino wammanga, era tujja kusanyuka nnyo okukuyamba.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 13 Tusoma bwe tuti mu Kolaani: “Oluvannyuma lwa bannabbi abo, Twatuma Isa, mutabani wa Mariamu, nga kikakasa ekyo ekyayogerwa edda mu Tawuleeti era ne tumuwa Enjiri omuli obulagirizi n’ekitangaala. Kino kikakasa ekyo ekyayogerwa edda mu Tawuleeti, nti mu [njiri] mulimu obulagirizi n’okubuulirira eri abatuukirivu. N’olw’ekyo, ka abagoberezi b’Enjiri bagoberere ebyo Allah by’ababikkulidde mu yo. Abakozi b’obubi be bo abatagoberera ebyo Allah bye yabikkula.” (“Emmeeza” [ssuula ttaano], olunyiriri 46 ne 47, ekyavvuunulwa N. J. Dawood) Abamu bagamba nti Tawuleeti, Zabbuli, n’Enjiri​—ebimu ku bitabo bya Baibuli​—byakyusibwamu. Naye ekyo kiba kitegeeza nti Katonda tasobola kukuuma bitabo bye yatuwa. N’olwekyo, abo aboogera bwe batyo baba bagamba nti Katonda munafu.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Photo Credit: Car interior on cover: H. Armstrong Roberts.