Buuka ogende ku bubaka obulimu

Okubudaabuda Abennyamivu

Okubudaabuda Abennyamivu

Okubudaabuda Abennyamivu

“Ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.” (Abaruumi 8:​22) Okulumizibwa kw’omuntu kwali kunene nnyo bino we byawandiikirwa emyaka egisukka 1,900 egiyise. Bangi baali bennyamivu. N’olwekyo, Abakristaayo baakubirizibwa: “Mugumyenga emmeeme ennennyamivu.”​—⁠1 Abasessaloniika 5:​14, New World Translation.

Leero, ennaku y’omuntu esingawo obunene, era bangi abennyamivu okusinga bwe kyali kibadde. Naye ekyo kyanditwewuunyisizza? Ddala nedda, kubanga Baibuli eraga nga zino ‘nnaku za nkomerero’ era n’eziyita “ebiro eby’okulaba ennaku.” (2 Timoseewo 3:​1-5) Yesu Kristo yalagula nti mu nnaku ez’oluvannyuma, “amawanga galinakuwala” era “abantu nga bazirika olw’entiisa n’olw’okutunuulira ebyo ebijja ku nsi.”​—⁠Lukka 21:​7-11, 25-27; Matayo 24:​3-14.

Abantu bwe baba mu bweraliikirivu, okutya, obuyinike oba ebisaasaazi ebirala eby’ennaku okumala ebbanga eggwanvu, batera okwennyamira. Nga ekireeta obwennyamivu oba ennaku esukkiridde kiyinza okuba okufiirwa omwagalwa, okugattululwa mu bufumbo, okufiirwa omulimu, oba obulwadde obutakkakkana. Abantu era bayinza okufuuka abennyamivu bwe batandika okulowooza nti tebalina kye bagasa, bwe balowooza nti bo, baalemwa era tewali n’omu gwe bagasa. Omuntu yenna ayinza okutabulwatabulwa embeera ezinnyigiriza, naye omuntu bw’atandika okwewulira nti teri ssuubi era nga tasobola kulaba w’aviira mu mbeera eyo embi, obwennyamivu obusuffu buyinza okumujjira.

Abantu mu biseera eby’edda baatuukibwako embeera efaananako. Yobu yalumibwa olumbe era n’ajjirwa ebizibu nfaafa. Yalowooza nti Katonda yali amwabulidde, bw’atyo n’ayogera nga bwe yali akyaye obulamu. (Yobu 10:⁠1; 29:​2, 4, 5) Yakobo yennyamira bwe yalowooza nga mutabani we yali afudde, n’agaana okumukubagiza era ng’ayagala afe. (Olubereberye 37:​33-35) Olw’okuwulira ng’omusango gumusse mu vvi olw’ekisobyo eky’amaanyi kye yakola, Kabaka Dawudi yakungubaga nti: “Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.”​—⁠Zabbuli 38:​6, 8; 2 Abakkolinso 7:​5, 6.

Leero, bangi bennyamivu olw’okuluubasana ekisusse nga bagezaako okugoberera enkola y’ebintu eya buli lunaku esukkirira obusobozi bw’obwongo bwabwe, ebisaasaazi, era n’amaanyi ag’omubiri. Kifaanana nga okunyigirizibwa, awamu n’ebirowoozo n’ebisaasaazi ebinakuwaza, bisobola okubaako enkyukakyuka gye bireeta ku mubiri era ne kikwata ne ku bwongo, mu ngeri eyo ne kireeta obwennyamivu.​—⁠Geraageranya Engero 14:⁠30.

Obuyambi Bwe Beetaaga

Epafuloddito, Omukristaayo ow’omu kyasa ekyasooka, “yeeraliikirira nnyo [yennyamira nnyo, NW ], kubanga [mikwano gye] [ba]awulira nga yalwala.” Epafuloddito, eyalwala nga mikwano gye bamaze okumutuma e Rooma atwalire omutume Pawulo eby’okukozesa, mpozzi yakiwulira ng’eyali aswazizza banne era nga baali bamulowooleza okuba atagasa. (Abafiripi 2:​25-27; 4:​18) Omutume Pawulo yayamba atya?

Yasindika Epafuloddito addeyo ewaabwe ng’alina ebbaluwa gye yawandiikira mikwano gye ab’omu Firipi ng’egamba nti: “Mumwanirizanga [Epafuloddito] mu Mukama waffe n’essanyu lyonna; era abafaanana ng’oyo mubassengamu ekitiibwa.” (Abafiripi 2:​28-30) Okuba nti Pawulo yamwogerako bulungi bw’atyo era n’okuba nti Abafiripi baamwaniriza n’ebbugumu n’okwagala, ddala biteekwa okuba nga byabudabuda Epafuloddito era ne biyamba okumuwonya obwennyamivu.

Awatali kubuusabuusa, amagezi ga Baibuli aga ‘okugumyanga emmeeme ennennyamivu’ ge gasingira ddala obulungi. “Weetaaga okumanya nga abalala bakufaako ng’omuntu,” bw’atyo omukazi eyali abaddeko omwennyamivu bwe yagamba. “Weetaaga okuwulira omuntu akugamba nti, ‘Mmanyi; ojja kuba bulungi.’ ”

Omuntu eyennyamidde emirundi egisinga kimwetaagisa anoonye omuntu ategeera ennaku ye gw’aba abuulira ebyama bye. Oyo ateekwa kuba muwuliriza mulungi era nga mugumiikiriza nnyo. Asaanidde okwewala okufukumula ebigambo ebingi eri omwennyamivu oyo oba okwogera ng’amunenya n’ebigambo nga bino, ‘Tosaanye kwewulira bw’otyo’ oba, ‘Eyo ndowooza nkyamu.’ Ebirowoozo by’omwennyamivu binafu, era ebigambo ebikolokota ng’ebyo bijja kumwongera bwongezi kwewulira bubi.

Oyo omwennyamivu ayinza okwewulira nti tagasa. (Yona 4:⁠3) Kyokka, omuntu asaanidde okujjukira nti ekikulu gwe mugaso Katonda gw’amulabamu. Yesu Kristo abantu ‘tebaamuyitamu ka buntu,’ naye ekyo tekyakyusa ngeri Katonda gy’amulabamu. (Isaaya 53:⁠3) Ba mukakafu nti, nga Katonda bw’ayagala Omwana we omwagalwa, naawe akwagala.​—⁠Yokaana 3:⁠16.

Yesu yasaasiranga abali mu nnaku era n’agezaako okubayamba okulaba omugaso gwe balina kinnoomu. (Matayo 9:​36; 11:​28-30; 14:​14) Yannyonnyola nti wadde enkazaluggya ezitalina kinene kya nnyo, Katonda aziraba nga za mugaso. “Tewali n’emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda,” bw’atyo bwe yagamba. Kale abantu abagezaako okukola by’ayagala ng’abalaba nga ba muwendo nnyo! Bano Yesu yaboogerako nti: “N’enviiri ez’oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna.”​—⁠Lukka 12:​6, 7.

Kya mazima, kiyinza okuzibuwalira omuntu eyennyamidde ennyo, abuutikiddwa obunafu n’ebisobyo bye, okukkiriza nti Katonda amulaba nga wa muwendo nnyo. Ayinza okuwulira nga mukakafu nti tasaanira kwagalibwa na kufiibwako Katonda. ‘Omutima gwaffe guyinza okutusalira omusango,’ kyo, ekyo Ekigambo kya Katonda kikyogera. Naye eyo ye nsonga esalawo byonna? Nedda si bwe kiri. Katonda akimanyi nti abantu aboonoonyi bayinza okulowooza ebitasaana era n’okwesalira bokka omusango. Bwe kityo ekigambo kye kibabudabuda nti: “Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.”​—⁠1 Yokaana 3:​19, 20.

Yee, Kitaffe omwagazi ow’omu ggulu alaba n’ebirala bingi ng’oggyeko ebibi byaffe n’ebisobyo. Amanyi embeera ezikendeeza omusango, enneeyisa yaffe yonna, ebiruubirirwa byaffe n’ebigendererwa. Amanyi nga twasikira ekibi, obulwadde n’okufa era nga n’olwekyo tulina ebitukugira bingi ddala. Okuba nti tunakuwala era nga tunyiikaala ku bwakyo bukakafu obulaga nga tetwagala kukola kibi era nti tetunnagenda wala nakyo ekisukkiridde. Baibuli egamba nti ‘twateekebwa okufugibwa obutaliimu’ nga tetwesiimidde. Bwe kityo Katonda atulumirwa mu nnaku gye tulimu, era mu busaasizi bwe ajjukira obunafu bwaffe.​—⁠Abaruumi 5:​12; 8:⁠20.

“Mukama [Yakuwa, NW ] ajjudde okusaasira n’ekisa,” bwe tutyo bwe tukakasibwa. “Ebuvanjuba n’ebugwanjuba bwe biri ewala, bw’atyo bw’atutadde ewala ebyonoono byaffe. Kubanga amanyi omubiri gwaffe; ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” (Zabbuli 103:​8, 12, 14) Mazima ddala, Yakuwa ye “Katonda ow’okubudabuda kwonna, atubudabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.”​—⁠2 Abakkolinso 1:​3, 4, NW.

Obuyambi abennyamivu bwe basinga okwetaaga buva mu kusemberera Katonda waabwe ow’ekisa era n’okukkiriza ky’abagamba ‘okussanga emigugu gyabwe ku ye.’ Ddala asobola “okulamya omutima gw’abo ababoneredde.” (Zabbuli 55:​22; Isaaya 57:​15) Bwe kityo Ekigambo kya Katonda kikubiriza okusaba, nga kigamba nti: “Musuule obweraliikirivu bwammwe bwonna ku [Yakuwa], kubanga abafaako.” (1 Peetero 5:​7, NW ) Yee, okuyitira mu kusaba n’okwegayirira, abantu bayinza okusemberera Katonda ne banyumirwa “emirembe gya Katonda egisinga okutegeerwa kwonna.”​—⁠Abafiripi 4:​6, 7; Zabbuli 16:​8, 9.

Okukyusakyusamu mu bulamu mu ngeri esoboka okussa mu nkola, nakwo kusobola okuyamba omuntu okuvvuunuka embeera ey’obwennyamivu. Okukozesa omubiri, okulya emmere ezimba, okufuna empewo ennungi n’okuwummulako okumala, okwewala okulaba ttivvi ekiyitiridde byonna bikulu. Omukazi omu ayambye abennyamivu bangi ng’abatambuzatambuza mu ngeri ey’amaanyi. Omukyala omu omwennyamivu bwe yagamba nti: “Nze saagala kutambulatambulako,” omukazi oyo yamuddamu n’eggonjebwa kyokka n’obunywevu nti: “Yee, ojja kugenda.” Omukazi oyo yategeeza nti: ‘Twatambula mayilo nnya. Bwe twakomawo, yali akooye, naye ng’awulira bulungiko. Si kyangu kukkiriza buyambi obuli mu kukola ebintu eby’amaanyi okutuusa nga okigezezzaako.’

Kyokka, ebiseera ebimu tekisoboka kuwangulira ddala bwennyamivu, wadde nga buli kintu kigezeddwako, nga muno mulimu n’obujjanjabi bw’omu ddwaliro. “Ngezezzaako buli kintu,” omukazi omu atuuludde bwe yagamba, “naye obwennyamivu bulemye.” Mu ngeri y’emu, kati tekitera kusoboka kuwonya bazibe b’amaaso, bakiggala, oba abalema. Naye, abennyamivu bayinza okufuna okubudabudibwa era n’essuubi nga basoma Ekigambo kya Katonda obutayosa, ekiwa essuubi ekkakafu ery’okuwonyezebwa okw’enkalakkalira okuva mu ndwadde zonna ez’obuntu.​—⁠Abaruumi 12:​12; 15:⁠4.

Lwe Watalibaawo Mwennyamivu Nate

Yesu bwe yannyonnyola ebintu eby’entiisa ebiribaawo ku nsi mu nnaku ez’oluvannyuma yagattako nti: “Ebigambo ebyo bwe bitanulanga okubaawo mutunulanga waggulu, muyimusanga emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kunaatera okutuuka.” (Lukka 21:​28) Yesu yali ayogera ku kununulibwa okuyingira mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu, ng’omwo “ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.”​—⁠Abaruumi 8:⁠21.

Nga kuliba kuwona kwa maanyi eri abantu, okuwona emigugu egy’omu biseera ebyayita n’okuzuukukanga buli lunaku n’ebirowoozo ebiteerevu, ebyetegefu okwaŋŋanga emirimu egy’olunaku! Waliba tewakyali muntu yenna alemesebwa olw’enzikiza y’obwennyamivu. Ekisuubizo ekikakafu eri abantu kiri nti Katonda “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukaaba, newakubadde okulumwa. Eby’olubereberye biweddewo.”​—⁠Okubikkulirwa 21:⁠3, 4.

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.