Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Biki Ebivudde mu Bujeemu?

Biki Ebivudde mu Bujeemu?

Ekitundu 7

Biki Ebivudde mu Bujeemu?

1-3. Ekiseera kikakasizza kitya nga Yakuwa mutuufu?

KU BIKWATA ku nsonga ey’obwannanyini bwa Katonda okufuga, kiki ekivuddemu mu byasa bino byonna eby’obufuzi bw’abantu obusudde Katonda omuguluka? Abantu balabise nga bafuzi balungi okusinga Katonda? Bwe tupimira ku bukambwe bw’omuntu eri muntu munne, ddala si bwe kibadde n’akamu.

2 Bazadde baffe abaasooka bwe baagaana obufuzi bwa Katonda, mitawaana gye gyaddirira. Beereetako bokka okubonaabona era ne ku lulyo lw’abantu olwabavaamu. Era tewali gwe baali bayinza kunenya okuggyako bo bennyini. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe.”​—Ekyamateeka 32:5.

3 Ebyafaayo biraze obutuufu bw’okulabula kwa Katonda eri Adamu ne Kaawa nti bwe bandivudde wansi w’ebiragiro bya Katonda, baali ba kugenda nga baddirira mu mibiri gyabwe n’oluvannyuma bafe. (Olubereberye 2:17; 3:19) Baava wansi w’obufuzi bwa Katonda, era oluvannyuma ne bagenda nga baddirira mu mibiri ne bafa.

4. Lwaki fenna tuzaalibwa nga tetutuukiridde?

4 Ekyatuuka ku zzadde lyabwe lyonna oluvannyuma kyali nga Abaruumi 5:12 bwe wannyonnyola: “Ku bw’omuntu omu [Adamu, omutwe gw’olulyo lw’abantu] ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna.” Bwe kityo bazadde baffe abaasooka bwe baajeemera obukulembeze bwa Katonda, baafuuka aboonoonyi abaliko obukyamu. Mu kutuukagana n’amateeka ag’ensikirano, obutali butuukirivu obwavaamu bwe bwokka bwe baali bayinza okusikiza abaana baabwe. Kyetuva tubeera nga fenna tuzaalibwa nga tuliko obukyamu, nga tulwala era nga tufa.

5, 6. Ebyafaayo biraze ki ku kufuba kw’omuntu okuleeta emirembe egy’amazima n’embeera ezeeyagaza?

5 Ebyasa bingi biyiseewo. Obwakabaka buzze ne bugenda. Buli kika kya gavumenti kyonna ekisoboka kigezeseddwa. Naye, enfunda n’enfunda, ebintu eby’entiisa bibaddewo eri olulyo lw’omuntu. Oluvannyuma lw’emyaka kakaaga, omuntu yandirowoozezza nti abantu batuuse ku ddaala ery’okussaawo emirembe, obwenkanya, n’embeera ezeeyagaza mu nsi yonna era nti kati bandibadde bayigidde ddala engeri ennungi ez’ekisa, obusaasizi, n’okukolaganira awamu.

6 Kyokka, ekiriwo kirala nnyo. Tewali kika kya gavumenti ekoleddwa abantu eyali ereese emirembe egy’amazima n’embeera ezeeyagaza eri bonna. Mu kyasa kino ekya 20 kyokka, tulabye okuttibwa kw’obukadde n’obukadde mu kiseera eky’Okuzikiriza Ssinzigu n’okutirimbulwa kw’abantu abasukka mu bukadde 100 mu ntalo. Mu kiseera kyaffe omuwendo gw’abantu ogutabalika babonyaabonyezeddwa, battiddwa, era ne bateekebwa mu makomera olw’obutagumiikiriza n’enjawukana z’eby’obufuzi.

Embeera Eriwo Leero

7. Embeera y’olulyo lw’abantu leero eyinza kunnyonnyolwa etya?

7 Okugatta ku ebyo, lowooza ku mbeera y’olulyo lw’abantu nga bw’eri leero. Obumenyi bw’amateeka n’ettemu bibunye wonna. Okwekamirira amalagala agatamiiza kuli mu bantu bangi nnyo. Endwadde ezisaasaanira mu kwetaba zibunye wonna era nga zikwata abantu bangi nnyo. Obulwadde obw’entiisa obwa mukenenya bukutte abantu bukadde na bukadde. Abantu mitwalo na mitwalo bafa enjala oba obulwadde buli mwaka, ng’ate abatono ddala be balina obugagga obungi. Abantu bajamawaza era boonoona ensi. Obulamu bw’amaka n’emitindo gy’empisa bisasise buli wamu. Mazima ddala, obulamu leero bwoleka obufuzi obubi obwa ‘katonda w’emirembe gino,’ Setaani. Ensi gy’akulira temuli mukwano n’akamu, nkambwe, era nnyonoonefu ddala.​—2 Abakkolinso 4:4.

8. Lwaki ebyo byonna omuntu by’atuuseeko tetuyinza kubiyita kukulaakulana okw’amazima?

8 Katonda aleseewo ekiseera ekimala abantu batuuke ku ntikko y’okukulaakulana kwabwe mu byasayansi n’eby’obugagga. Naye kuba kukulaakulana kwa nnamaddala ng’emmundu zisseruwandula masasi, tanka, ennyonyi ezisuula bbomu, n’ebikompola bya nukuliya bye bizze mu kifo ky’omutego n’akasaale? Kuba kukulaakulana ng’abantu bayinza okugenda mu bwengula naye nga tebasobola kubeera wamu mu mirembe ku nsi? Kuba kukulaakulana ng’abantu batya okutambula mu nguudo ekiro, oba n’emisana tukutuku mu bifo ebimu?

Ekiseera Bye Kiraze

9, 10. (a) Ebyasa by’emyaka ebiyiseewo biraze ki olwatu? (b) Lwaki Katonda tajja kuggyawo ddembe ery’okwesalirawo?

9 Ekiseera ekinene eky’ebyasa ebiyiseewo kiraze nti tekisoboka abantu okuluŋŋamya ebigere byabwe obulungi nga tebali wansi w’obufuzi bwa Katonda. Tekisoboka n’akamu era nga bwe kitayinzika gye bali okubeerawo awatali kulya, kunywa na kussa mukka. Obujulizi bwa lwatu: Twakolebwa nga tuli ba kwesigama ku bulagirizi bw’Omutonzi waffe era nga bwe twatondebwa nga tuli ba kwesigama ku mmere, amazzi, n’empewo.

10 Olw’okukkiriza obubi, Katonda alaze omulundi gumu era gwa mirembe gyonna eby’ennaku ebiva mu kukozesa obubi eddembe ery’okwesalirawo. Era eddembe ery’okwesalirawo kirabo kya muwendo nnyo mu kuba nti mu kifo ky’okukiggya ku bantu, Katonda abakkirizza okulaba ebiva mu kukikozesa obubi. Ekigambo kya Katonda kyogera mazima bwe kigamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” Era kiba kya mazima bwe kigamba nti: “Omuntu abadde n’obuyinza ku munne olw’okumulumya.”​—Yeremiya 10:23; Omubuulizi 8:9, NW.

11. Waliwo engeri yonna ey’obufuzi bw’omuntu eyali emazeewo okubonaabona?

11 Katonda okukkiriza obufuzi bw’omuntu okumala emyaka akakaaga kiraze bulungi nti omuntu tasobola kukomya kubonaabona. Tewali kiseera lw’asobodde kukikola. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kye Kabaka Sulemaani owa Isiraeri, n’amagezi ge gonna, obugagga, n’amaanyi, teyasobola kumalawo nnaku eva mu bufuzi bw’omuntu. (Omubuulizi 4:1-3) Mu ngeri y’emu, mu kiseera kyaffe abakulembeze b’ensi, yadde nga balina okukulaakulana okusingayo mu by’ekikugu, tebasobola kumalawo kubonaabona. N’ekisingayo obubi, ebyafaayo biraze nti abantu nga tebali wansi w’obufuzi bwa Katonda bongedde bwongezi ku kubonaabona mu kifo ky’okukumalawo.

Okulengera kwa Katonda okw’Ewala

12-14. Miganyulo ki egy’omu maaso egiva mu kuba nti Katonda akkirizza okubonaabona?

12 Katonda okuba nti akkirizza okubonaabona kibaddemu obulumi gye tuli. Naye abadde alengera eby’omu maaso ewala, ng’amanyi nti mu luvannyuma ebijja okuvaamu bijja kuba birungi. Endaba ya Katonda ejja kuganyula ebitonde, si kumala myaka mitono oba nkumi bukumi ez’emyaka, naye okumala obukadde n’obukadde bw’emyaka, yee, emirembe gyonna.

13 Singa embeera efaananako bw’etyo erisitukawo mu kiseera kyonna eky’omu maaso eyo, omuntu n’akozesa mu ngeri enkyamu eddembe ery’okwesalirawo okuwakanya enkola ya Katonda, tekiryetaagisa kumuwaayo kiseera akakase endowooza ze. Olw’okuba akkirizza bakyewaggula okumala enkumi z’emyaka, Katonda ataddewo eky’okuyimako ekikkirizibwa ekiyinza okukozesebwa mu bbanga lyonna mu maaso eyo mu butonde wonna.

14 Olw’okuba Yakuwa akkirizza okubonaabona n’obubi mu kiseera kino, kijja kuba nga kyamala dda okukakasibwa obulungi nti tewali kintu kiyinza kutuuka ku buwanguzi awatali bulagirizi bwe. Kijja kuba nga kyamala dda okulagibwa awatali kubuusabuusa kwonna nti tewali nkola ya bantu oba ey’ebitonde eby’omwoyo eya kyetwala eyinza okuleeta emiganyulo egy’enkalakkalira. N’olwekyo, Katonda ajja kuba mutuufu ddala mu kuzikiririzaawo kyewaggula yenna. “Ababi bonna alibazikiriza.”​—Zabbuli 145:20; Abaruumi 3:4.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Bazadde baffe abaasooka nga bamaze okulondawo okwewaggula ku Katonda, baalwaddaaki ne bakaddiwa ne bafa

[Ebifaananyi ebiri ku empapula 16]

Obufuzi bw’omuntu awatali Katonda bubadde bwa mitawaana myereere

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Kifaananyi kya U. S. Coast Guard