Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigendererwa kya Katonda Kyolekedde Okutuukirizibwa

Ekigendererwa kya Katonda Kyolekedde Okutuukirizibwa

Ekitundu 8

Ekigendererwa kya Katonda Kyolekedde Okutuukirizibwa

1, 2. Katonda abadde akola atya entegeka okuggyawo okubonaabona?

OBUFUZI bw’abantu abajeemu ne balubaale bubadde buwalula olulyo lw’omuntu okukkira ddala wansi okumala ebyasa bingi. Naye, Katonda tasudde muguluka okubonaabona kwaffe. Wabula, mu byasa ebyo byonna, abadde akola entegeka okusumulula abantu okuva mu bubi n’okubonaabona.

2 Mu kiseera eky’okujeema okwaliwo mu Adeni, Katonda yatandika okubikkula ekigendererwa kye eky’okuteekawo gavumenti ejja okufuula ensi eno olusuku lwe olw’okubeeramu abantu. (Olubereberye 3:15) Oluvannyuma, ng’omwogezi wa Katonda asinga obukulu, Yesu yafuula gavumenti eyo ejja omutwe gw’okuyigiriza kwe. Yagamba nti ye yali ejja okuba essuubi ly’abantu lyokka.​—Danyeri 2:44; Matayo 6:9, 10; 12:21.

3. Gavumenti ejja ey’ensi Yesu yagiyita atya, era lwaki?

3 Gavumenti eyo ejja Yesu yagiyita “obwakabaka obw’omu ggulu,” okuva bwe yali ey’okufuga okuva mu ggulu. (Matayo 4:17) Era yagiyita “obwakabaka bwa Katonda,” okuva Katonda bw’ali nga ye Nnyini Kugitekaawo. (Lukka 17:20) Ebyasa by’emyaka nga bwe byajja biyitawo Katonda yaluŋŋamya abawandiisi be okuwandiika obunnabbi ku abo abaali bajja okubeera mu gavumenti eyo era n’ebyo bye yali ejja okutuukiriza.

Kabaka Omuppya ow’Ensi

4, 5. Katonda yalaga atya nti Yesu ye yali Kabaka gw’asiimye?

4 Emyaka ng’enkumi bbiri egiyiseewo, Yesu ye yatuukiriza obunnabbi obungi obwali bukwata ku oyo ow’okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Yalaga nga bwe yali oyo Katonda gw’alonze okubeera Omufuzi mu gavumenti eyo ey’omu ggulu ey’okufuga abantu. Oluvannyuma lw’okufa kwe, Katonda yazuukiza Yesu mu bulamu obw’omu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo ekitafa, eky’amaanyi. Waaliwo abajulirwa bangi abaalaba okuzuukira kwe.​—Ebikolwa 4:10; 9:1-9; Abaruumi 1:1-4; 1 Abakkolinso 15:3-8.

5 Yesu awo “n’alyoka atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.” (Abebbulaniya 10:12) Eyo n’alindirira ekiseera Katonda lwe yandimuwadde obuyinza okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu. Kino kyatuukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 110:1, Katonda w’amugambira: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.”

6. Yesu yalaga atya nti asaanira okubeera Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda?

6 Ng’ali ku nsi, Yesu yalaga nga bw’asaanira ekifo ng’ekyo. Yadde nga waaliwo okuyigganyizibwa, yalondawo okukuuma obugolokofu bwe eri Katonda. Mu kukola bw’atyo, yalaga nga Setaani yali mulimba bwe yagamba nti tewali muntu yandisobodde kubeera mwesigwa eri Katonda wansi w’okugezesebwa. Yesu, omuntu atuukiridde, ‘Adamu ow’okubiri,’ yalaga nti Katonda teyali musobya okutonda abantu abatuukiridde.​—1 Abakkolinso 15:22, 45; Matayo 4:1-11.

7, 8. Bintu ki ebirungi Yesu bye yakola ng’ali ku nsi, era yayolesa ki?

7 Mufuzi ki eyali akoze ebirungi ebingi ng’ebyo Yesu bye yakola mu myaka emitono egy’okuweereza kwe? Ng’aweereddwa amaanyi ag’omwoyo omutukuvu ogwa Katonda, Yesu yawonya abalwadde, abalema, abazibe b’amaaso, bakiggala, ne bakasiru. Yazuukiza n’abafu! Yalaga ku kigero ekitono ekyo kye yali ajja okukolera abantu ng’azze mu buyinza bw’Obwakabaka.​—Matayo 15:30, 31; Lukka 7:11-16.

8 Yesu yakola ebirungi bingi ng’ali ku nsi n’okuba nti omuyigirizwa we Yokaana yagamba: “Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n’ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.”​—Yokaana 21:25. *

9. Lwaki abantu ab’emitima emyesigwa beeyuna Yesu?

9 Yesu yali wa kisa era musaasizi, ng’alina okwagala kungi eri abantu. Yayambanga abaavu era abalinnyiriddwa, naye teyasosolanga bagagga oba abali mu bifo ebya waggulu. Abantu ab’emitima emyesigwa baayanukula okuyitibwa okw’okwagala okwava eri Yesu bwe yabagamba nti: “Mujje gye ndi, mmwe mmwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky’omu myoyo gyammwe. Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n’omugugu gwange mwangu.” (Matayo 11:28-30) Abantu abatya Katonda baamweyuna era ne beesunga nnyo obufuzi bwe.​—Yokaana 12:19.

Abafuzi Abafugira Awamu

10, 11. Baani abajja okwetaba ne Yesu mu kufuga ensi?

10 Nga gavumenti z’abantu bwe zibeera n’abafuzi abafugira awamu, n’Obwakabaka bwa Katonda nabwo bwe buli. Abalala okugatta ku Yesu bajja kwetaba mu kufuga ensi, kuba Yesu yasuubiza abo abaamubeeranga ku lusegere nti bajja kufugira wamu naye abantu nga bakabaka.​—Yokaana 14:2, 3; Okubikkulirwa 5:10; 20:6.

11 N’olwekyo, awamu ne Yesu, abantu ab’omuwendo omugere nabo bazuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu. Bakola Obwakabaka bwa Katonda obujja okuleeta emikisa egy’olubeerera eri abantu. (2 Abakkolinso 4:14; Okubikkulirwa 14:1-3) Kale mu bbanga lyonna erizze liyitawo, Yakuwa ataddewo omusingi ogw’obufuzi obujja okuleetera olulyo lw’abantu emikisa egy’emirembe gyonna.

Obufuzi obwa Kyetwala Bwa Kukoma

12, 13. Obwakabaka bwa Katonda bwetegese kukola ki?

12 Mu kyasa kino Katonda ayingidde mu nsonga z’ensi. Nga Ekitundu 9 eky’akatabo kano bwe kijja okukiraga, obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda wansi wa Kristo bwateekebwawo mu 1914 era kati bweteeseteese okumenyaamenya embeera za Setaani zonna. Obwakabaka obwo bwetegese ‘okugenda nga buwangula wakati w’abalabe ba [Kristo].’​—Zabbuli 110: 2, NW.

13 Ku nsonga eno obunnabbi obuli mu Danyeri 2:44 bugamba: “Era mu mirembe gya bakabaka abo [abaliwo kati] Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala [obufuzi bw’abantu tebuliddamu kukkirizibwa]: naye [Obwakabaka bwa Katonda] bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”

14. Egimu ku miganyulo egijja okubaawo ng’obufuzi bw’abantu buvuddewo gye giruwa?

14 Ng’obufuzi bw’abantu bwonna obuwakanya Katonda buggiddwaawo, obufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda ku nsi bujja kuba bujjuvu. Era olw’okuba Obwakabaka bufuga okusinziira mu ggulu, tebuyinza kwonoonebwa bantu. Obuyinza obufuga bujja kubeera eyo gye bwali mu kusooka, mu ggulu, ne Katonda. Era olw’okuba obufuzi bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna, tewali muntu yenna ajja kuddamu kubuzaabuzibwa ddiini ez’obulimba oba endowooza ez’amagezi g’abantu ezitamatiza yadde endowooza z’eby’obufuzi. Tewali na kimu ku bino kijja kukkirizibwa kubeerawo.​—Matayo 7:15-23; Okubikkulirwa, essuula 17 okutuuka ku 19.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 8 Okufuna okutegeezebwa okujjuvu ku bulamu bwa Yesu, laba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived, ekyakubibwa mu 1991 aba Watchtower Society.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Ng’ali ku nsi Yesu yawonya abalwadde n’azuuukiza abafu okulaga ekyo ky’alikola mu nsi empya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Obwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu bujja kumenyaamenya obufuzi obw’engeri zonna obumuwakanya