Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekirabo eky’Ekitalo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo

Ekirabo eky’Ekitalo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo

Ekitundu 5

Ekirabo eky’Ekitalo eky’Eddembe ery’Okwesalirawo

1, 2. Kirabo ki eky’ekitalo kye tulina mu butonde bwaffe?

OKUTEGEERA ensonga Katonda kyavudde akkiriza okubonaabona era n’ekyo ky’ajja okukolawo ku kyo, twetaaga okutegeera engeri gye yatukolamu. Teyakoma ku kututonda butonzi nga tulina omubiri n’obwongo. Era yatutonda nga tulina engeri ez’enjawulo ez’ebirowoozo n’enneewulira ey’omunda.

2 Ekitundu ekikulu eky’obutonde obw’ebirowoozo byaffe n’enneewulira ey’omunda lye ddembe ery’okwesalirawo. Yee, Katonda yatuteekamu obusobozi obw’eddembe ery’okwesalirawo. Ddala kyali kirabo kya kitalo okuva gy’ali.

Engeri Gye Twakolebwamu

3-5. Lwaki tusiima eddembe ery’okwesalirawo?

3 Ka twetegereze engeri eddembe ery’okwesalirawo gye likwatibwako mu kuba nti Katonda akkirizza okubonaabona. Okusookera ddala, lowooza ku kino: Osiima okubeera n’eddembe ery’okweronderawo ky’onookola ne ky’onooyogera, ky’onoolya ne ky’onooyambala, mulimu gwa ngeri ki gw’onookola, wa aw’okubeera n’engeri gy’onoobeeramu? Oba wandyagadde omuntu okukubuuliranga buli kigambo kyonna n’ekikolwa eky’okukola buli kaseera konna ak’obulamu bwo?

4 Tewali muntu ayagala bulamu bwe kumuggibwako mu ngeri eyo n’aba nga takyalina kye yeesalirawo. Lwaki? Olw’engeri Katonda gye yatukolamu. Baibuli etugamba nti Katonda yatonda omuntu mu ‘ngeri ye era mu kifaananyi kye,’ era ng’obumu ku busobozi Katonda kennyini bw’alina lye ddembe ery’okwesalirawo. (Olubereberye 1:26; Ekyamateeka 7:6) Bwe yatonda abantu, yabawa obusobozi obwo obw’ekitalo bwe bumu​—ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo. Eyo y’emu ku nsonga lwaki tukisanga nga kiremesa okubeera nga tufugibwa abafuzi abannyigiriza.

5 Bwe kityo okwegomba eddembe tekyagwa bugwi, kubanga Katonda ye Katonda ow’eddembe. Baibuli etugamba nti: “Awaba omwoyo gwa Yakuwa we waba eddembe.” (2 Abakkolinso 3:17, NW) N’olwekyo, Katonda yatuwa eddembe ery’okwesalirawo ne libeerera ddala ekitundu ky’obutonde bwaffe. Okuva bwe yali amanyi engeri ebirowoozo byaffe n’enneewulira ey’omunda bwe bikola, yakimanya nti twandibadde basanyufu ekisingira ddala nga tulina eddembe ery’okwesalirawo.

6. Ngeri ki Katonda gye yatondamu obwongo bwaffe okukolera awamu n’eddembe ery’okwesalirawo?

6 Awamu n’ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo, Katonda yatuwa obusobozi obw’okulowooza, okupimapima ensonga, okusalawo, n’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. (Abebbulaniya 5:14) Bwe kityo, eddembe ery’okwesalirawo lyali lya kwesigamizibwanga ku kusalawo okw’amagezi. Tetwakolebwa nga tulinga roboti ezitalina kulowooza kwonna okwesalirawo ku lwazo. Era tetwatondebwa nga tukola bukozi bintu ng’ensolo. Wabula, obwongo bwaffe obw’ekitalo bwakolebwa nga bwa kukoleranga wamu n’eddembe lyaffe ery’okwesalirawo.

Entandikwa Esingira Ddala Obulungi

7, 8. Ntandikwa ki ennungi Katonda gye yawa bazadde baffe abaasooka?

7 Okulaga nga ddala Katonda yali afaayo nnyo, bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, awamu n’ekirabo eky’eddembe ery’okwesalirawo, baaweebwa buli kintu kyonna ekisaanira omuntu kye yandibadde yeetaaga. Baateekebwa mu lusuku lwa Katonda olugazi olulinga paaka. Baalina ebintu bingi eby’okukozesa. Baalina ebirowoozo n’emibiri ebituukiridde, bwe batyo nga baali si ba kukaddiwa oba kulwala oba kufa​—bandisobodde okuba abalamu emirembe gyonna. Bandibadde babeera n’abaana abatuukiridde nabo abandibadde n’ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu emirembe gyonna. Era abantu nga beeyongera obungi bandibadde n’omulimu ogumatiza ogw’okufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda.​—Olubereberye 1:26-30; 2:15.

8 Ku bikwata ku byali bibaweereddwa, Baibuli egamba nti: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era, laba, kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Era Baibuli eyogera ku Katonda nti: “Omulimu gwe gwatuukirira.” (Ekyamateeka 32:4) Yee, Omutonzi yawa olulyo lw’abantu entandikwa etuukiridde. Tewali kyandisinze ku ekyo bulungi. Nga yeeraga bw’ali ddala Katonda afaayo!

Eddembe Eririko Ekkomo

9, 10. Lwaki eddembe ery’okwesalirawo lirina okukozesebwa obulungi?

9 Kyokka, Katonda yakigenderera eddembe ery’okwesalirawo libe nga teririiko kkomo? Teeberezaamu ekibuga ekirimu ebidduka ebingi naye nga tewali mateeka ga bidduka, nga buli muntu asobola okuvuga ng’adda oluuyi lwonna ate ku sipiidi gy’ayagala. Wandyagadde okuvugira ekidduka mu mbeera ezo? Nedda, ogwo gwandibadde muvuyo gwennyini ogw’ebidduka era kyandivuddemu obubenje bungi.

10 Bwe kityo era bwe kiri ku kirabo kya Katonda eky’eddembe ery’okwesalirawo. Eddembe eritaliiko kkomo lyandibadde livaamu embeera ey’okuba ng’amateeka tegagobererwa n’akamu mu bantu. Walina okubaawo amateeka okuluŋŋamya abantu mu ebyo bye bakola. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Mweyise ng’abantu ab’eddembe, era temukozesanga ddembe lyammwe ng’eky’okwekasa okukola obubi.” (1 Peetero 2:16, JB) Katonda ayagala eddembe ery’okwesalirawo likozesebwe bulungi olw’okugasa bonna. Teyakigenderera tubeere n’eddembe eryemalirira, wabula eryo eririko ekkomo, nga tuli wansi w’obufuzi obugoberera amateeka.

Mateeka g’Ani?

11. Twatondebwa nga tulina kugondera mateeka g’ani?

11 Twakolebwa nga tulina kugondera mateeka g’ani? Ekitundu ekirala eky’ekyawandiikibwa ekyo mu 1 Peetero 2:16 (JB) kigamba: “Muli baddu si ba mulala yenna wabula ba Katonda.” Kino tekitegeeza buddu obunnyigiriza, naye, wabula, kitegeeza nti twakolebwa nga tujja kubeera basanyufu ekisingirayo ddala nga tugondedde amateeka ga Katonda. (Matayo 22:35-40) Amateeka ge, okusinga amateeka gonna agakoleddwa abantu, gawa obulagirizi obusingira ddala obulungi. “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”​—Isaaya 48: 17.

12. Ddembe ki ery’okwesalirawo lye tulina mu mateeka ga Katonda?

12 Mu kiseera kye kimu, amateeka ga Katonda gawa eddembe ddene ery’okwesalirawo mu go gennyini. Kino kitusobozesa okuba ab’enjawulo era ne kifuula olulyo lw’abantu okuba olusanyusa. Lowooza ku bika by’emmere eby’enjawulo, eby’okwambala, ennyimba, ebifaananyi, n’amaka ag’enjawulo okwetooloola ensi. Ddala twagala okweronderawo mu bintu ng’ebyo okusinga okuleka omuntu omulala okuba nga y’atusalirawo.

13. Mateeka ki agafuga obutonde ge tuteekwa okugondera ku lw’obulungi bwaffe?

13 Bwe tutyo twatondebwa okubeera abasanyufu ekisingirayo ddala nga tugondera amateeka ga Katonda agakwata nneeyisa y’abantu. Kye kimu n’okugondera amateeka ga Katonda agafuga obutonde. Nga ekyokulabirako, singa tulagajjalira etteeka ery’amaanyi agasika ebintu okudda wansi ne tubuuka okuva ku kifo ekigulumivu, tujja kulumizibwa oba okufa. Bwe tulagajjalira amateeka agafuga munda mu mubiri gwaffe ne tulekera awo okulya emmere, okunywa amazzi, oba okusika empewo, tujja kufa.

14. Tumanyi tutya ng’abantu tebaatondebwa kubeera bakyetwala okuva ku Katonda?

14 Ddala nga bwe twatondebwa nga twetaaga okugondera amateeka ga Katonda agafuga obutonde, era twatondebwa nga twetaaga okugondera amateeka ga Katonda ag’empisa n’enkolagana ne bannaffe. (Matayo 4:4) Abantu tebaatondebwa nga ba kubeera bakyetwala okuva ku Mutonzi waabwe ne babeera bulungi. Nnabbi Yeremiya agamba: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. Ai Mukama, ombuulire.” (Yeremiya 10:23, 24) Bwe kityo mu buli ngeri abantu baatondebwa nga ba kubeera wansi w’obufuzi bwa Katonda, so si bwabwe.

15. Amateeka ga Katonda gandibadde mugugu eri Adamu ne Kaawa?

15 Okugondera amateeka ga Katonda tekwandibadde mugugu eri abazadde baffe abaasooka. Mu kifo ky’ekyo, kwaliwo ku lwa bulungi bwabwe era n’olulyo lw’abantu bonna. Singa abantu abo ababiri abaasooka baasigala wansi w’amateeka ga Katonda, byonna byandibadde birungi. Mu butuufu, kati twandibadde tuli mu lusuku lwa Katonda olw’ekitalo olw’okwesiima ng’olulyo lw’abantu olwagazi, oluli obumu! Tewandibaddewo bubi, kubonaabona, na kufa.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Omutonzi yawa abantu entandikwa etuukiridde

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Wandyagadde okuvugira mu bidduka ebingi singa tewaaliwo mateeka ga bidduka?