Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”

Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”

Ekitundu 9

Engeri Gye Tumanyiimu nga Tuli mu “Nnaku ez’Oluvannyuma”

1, 2. Tuyinza tutya okumanya obanga tuli mu nnaku ez’oluvannyuma?

TUYINZA tutya okukakasa nga tuli mu kiseera Obwakabaka bwa Katonda we bunaagendera mu nkola okuggyawo embeera zino eziriwo ez’obufuzi bw’omuntu? Tuyinza kumanya tutya nga tuli kumpi nnyo n’ekiseera Katonda w’anaaletera enkomerero y’obubi n’okubonaabona?

2 Abayigirizwa ba Yesu Kristo baayagala okumanya ebintu bino. Baamubuuza “akabonero” bwe kandibadde ak’okubeerawo kwe mu buyinza bw’Obwakabaka era ne “ak’amavannyuma g’embeera z’ebintu.” (Matayo 24:3, NW) Yesu yabaddamu ng’abategeeza ebintu eby’okubaawo n’embeera eziyuuguumya ensi ebyandibaddewo okulaga abantu nti bayingidde ‘ekiseera eky’enkomerero,’ ‘ennaku ez’oluvannyuma’ ez’embeera zino ez’ebintu. (Danyeri 11:40; 2 Timoseewo 3:1) Ffe abaliwo mu kyasa kino tulabye akabonero kano ak’awamu? Yee, tukalabye, mu bungi ddala!

Entalo ez’Ensi Yonna

3, 4. Entalo ez’omu kyasa kino zituukana zitya n’obunnabbi bwa Yesu?

3 Yesu yalagula nti ‘eggwanga liritabaala eggwanga, n’obwakabaka bulitabaala obwakabaka.’ (Matayo 24:7) Mu 1914 ensi yagwamu olutalo amawanga n’obwakabaka mwe byalumbaganira mu ngeri ey’enjawulo ku ntalo endala ezaali zibaddewo. Olw’okukkiriza ekyo ekyaliwo, bannabyafaayo baaluyita Olutalo Ssematalo. Lwe lwali olutalo olw’engeri eyo olwasooka mu byafaayo, olutalo olw’ensi yonna olwasooka. Abaserikale n’abantu aba bulijjo 20,000,000 be baafiirwa obulamu bwabwe, bangi nnyo okusinga mu lutalo lwonna olw’emabega.

4 Ssematalo I yalamba entandikwa y’ennaku ez’enkomerero. Yesu yagamba nti kino n’eby’okubaawo ebirala byandibadde “lubereberye lw’okulumwa.” (Matayo 24:8) Bwe kyali ddala, kuba Ssematalo II yafiiramu bangi nnyo n’okusingawo, abaserikale n’abantu aba bulijjo nga 50,000,000 ne bafiirwa obulamu bwabwe. Mu kyasa kino ekya 20, abantu abasukka mu 100,000,000 be battiddwa mu ntalo, nga basingawo emirundi ena ku abo abattibwa mu ntalo mu myaka 400 egy’emabega ng’ogasse wamu! Nga musango gwa maanyi oguvunaanibwa obufuzi bw’omuntu!

Obujulizi Obulala

5-7. Obumu ku bujulizi obulala obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma bwe buluwa?

5 Yesu yalaga ebintu ebirala ebyali eby’okubaawo mu nnaku ez’oluvannyuma: “Walibaawo n’ebikankano ebinene, ne mu bifo ebirala kawumpuli [okusaasaana okunene okw’endwadde].” (Lukka 21:11) Ekyo kikwatagana bulungi n’ebibaddewo okuva mu 1914, nga bwe wabaddewo okweyongera okunene okw’obuyinike obuva mu mitawaana ng’egyo.

6 Musisi ow’amaanyi atera okubaawo bulijjo, n’atwala obulamu bw’abantu bungi. Sseseeba yekka yatta abantu nga 20,000,000 oluvannyuma lwa Ssematalo I​—okuteebereza okumu nga kugamba 30,000,000 oba n’okusingawo. Mukenenya atutte obulamu bw’abantu mitwalo na mitwalo era ayinza n’okutwala abalala bukadde na bukadde mu kiseera kitono eky’omu maaso. Buli mwaka abantu bukadde na bukadde bafa olw’endwadde z’emitima, kookolo, n’endwadde endala. Abalala bukadde na bukadde bafa okufa okw’empolampola olw’enjala. Awatali kubuusabuusa ‘abeebagazi b’embalaasi ab’omu Kubikkulirwa’ n’entalo zaabwe, ebbula ly’emmere, n’okusaasaana kw’endwadde babadde basalako emiwendo minene egy’olulyo lw’abantu okuva mu 1914.​—Okubikkulirwa 6:3-8.

7 Yesu era yalagula okweyongera kw’obumenyi bw’amateeka obusangibwa mu nsi zonna. Yagamba nti: “Kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw’abasinga obungi kuliwola.”​—Matayo 24:12.

8. Obunnabbi obuli mu 2 Timoseewo essuula 3 butuukana butya n’ebiseera byaffe?

8 Ate era, obunnabbi bwa Baibuli bwalagula okuddirira mu mpisa okulabise ennyo mu nsi yonna leero: “Mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, abaagala ebintu, abeenyumiriza, ab’amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda, abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab’enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abaagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi ky’okutya Katonda, naye nga beegaana amaanyi gaakwo . . . Abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi.” (2 Timoseewo 3:1-13) Bino byonna bituukiriziddwa mu maaso gaffe.

Ensonga Endala

9. Kiki ekyaliwo mu ggulu ekyakwatagana n’entandikwa y’ennaku ez’oluvannyuma ku nsi?

9 Waliwo ensonga endala ereetedde okweyongera kuno okunene mu kubonaabona mu kyasa kino. Nga kikwatagana n’entandikwa y’ennaku ez’oluvannyuma mu 1914, waaliwo ekintu ekirala ekyateeka abantu mu kabi ak’amaanyi akasingawo. Mu kiseera ekyo, ng’obunnabbi mu kitabo ekisembayo ekya Baibuli bwe butegeeza: “Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri [Kristo mu buyinza obw’omu ggulu] ne bamalayika be nga batabaala okulwana n’ogusota [Setaani]; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo [balubaale]; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”​—Okubikkulirwa 12:7-9.

10, 11. Abantu baakwatibwako batya nga Setaani ne balubaale be basuuliddwa wansi ku nsi?

10 Kyavaamu ki eri olulyo lw’omuntu? Obunnabbi bweyongera: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” Yee, Setaani akimanyi nti embeera z’ataddewo zoolekedde enkomerero yaazo, bw’atyo akola kyonna ky’asobola okufuula abantu abalabe ba Katonda, ye n’ensi ye nga tebinnaggibwawo. (Okubikkulirwa 12:12; 20:1-3) Nga byonoonefu nnyo ebitonde ebyo eby’omwoyo olw’okuba byakozesa bubi eddembe lyabyo ery’okwesalirawo! Ng’embeera zibadde mbi nnyo wano ku nsi wansi w’enkola yaabyo, naddala okuva mu 1914!

11 Tekyewuunyisa nno okuba nti Yesu yalagula ku kiseera kyaffe: “Ne ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira . . . Abantu nga bazirika olw’entiisa n’olw’okutunuulira ebyo ebijja ku nsi.”​—Lukka 21:25, 26.

Enkomerero y’Obufuzi bw’Omuntu ne Balubaale Eri Kumpi

12. Obumu ku bunnabbi obusigaddeyo okutuukirizibwa ng’embeera zino embi zivaawo bwe buluwa?

12 Obunnabbi bumeka obwa Baibuli obusigadde okutuukirizibwa nga Katonda tannaleeta nkomerero y’embeera zino embi? Butono nnyo ddala! Obumu ku obwo obusembayo bwebwo obuli mu 1 Abasessalonika 5:3, obugamba nti: “Mu kiseera ekyo nga boogera ku mirembe n’obutebenkevu, amangu ddala okuzikirira ne kubatuukako.” (The New English Bible) Kino kiraga nti enkomerero y’embeera zino ejja kutandika “mu kiseera ekyo nga boogera.” Ng’ensi tekirengedde, okuzikirizibwa kujja kubalukawo mu kiseera we kutasuubirirwa n’akatono, ng’abantu ebirowoozo byabwe babitadde ku mirembe n’obutebenkevu byabwe bye basuubira.

13, 14. Kiseera ki eky’emitawaana Yesu kye yalagula, era kinaaggwaako kitya?

13 Ekiseera kiweddeyo eri ensi eno wansi w’enkola ya Setaani. Mangu ejja kutuuka ku nkomerero yaayo mu kiseera eky’omutawaana Yesu kye yayogerako bw’ati: “Mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde nsi eno ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.”​—Matayo 24:21.

14 Entikko ya “ekibonyoobonyo ekinene” ejja kuba olutalo lwa Katonda olwa Kalumagedoni. Kino kye kiseera ekyogerwako nnabbi Danyeri Katonda w’ajja ‘okumenyaamenyera era n’okuzikiriza obwakabaka buno bwonna.’ Kino kijja kutegeeza enkomerero y’obufuzi bw’omuntu bwonna obuliwo obwekutudde ku Katonda. Obufuzi bwe obw’Obwakabaka okuva mu ggulu olwo bujja kutwalira ddala obuyinza obujjuvu mu nsonga z’ensi. Tekiriddamu kubaawo nate, Danyeri bwe yalagula, ne kiba nti obuyinza obw’okufuga bulekerwa ‘eggwanga eddala.’​—Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14-16.

15. Kiki ekijja okutuuka ku nkola ya Setaani ne balubaale be?

15 Mu kiseera ekyo enkola yonna eya Setaani ne balubaale ejja nayo kukoma. Ebitonde ebyo eby’omwoyo ebijeemu bijja kuggibwawo bireme ‘kuddamu kulimba mawanga nate.’ (Okubikkulirwa 12:9; 20:1-3) Bisaliddwa gwa kufa era birindirira kuzikirizibwa. Nga bujja kuba buweerero bwa maanyi eri abantu okuba nga basumuluddwa okuva wansi w’enkola yaabyo engwenyufu!

Baani Abanaawonawo? Baani Abataawonewo?

16-18. Baani abajja okuwonawo ku nkomerero y’embeera zino, era baani abataawonewo?

16 Ensala ya Katonda eri ensi eno bw’eneeba ng’eteekeddwa mu nkola, baani abanaawonawo? Baani abataawonewo? Baibuli eraga nti abo abaagala obufuzi bwa Katonda bajja kukuumibwa era bajja kuwonawo. Abo abatayagala bufuzi bwa Katonda tebajja kukuumibwa naye bajja kuzikirizibwa awamu n’ensi ya Setaani.

17 Engero 2:21, 22 wagamba: “Abagolokofu [abo abakkiriza obufuzi bwa Katonda] banaabeeranga mu nsi, n’abo abaatuukirira balisigala omwo. Naye ababi [abo abagaana okukkiriza obufuzi bwa Katonda] balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.”

18 Zabbuli 37:10, 11 nalwo lugamba: “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Olunyiriri 29 lugattako: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”

19. Kubuulirirwa ki kwe tusaanidde okutwala?

19 Tusaanidde okutwala okubuulirirwa okuli mu Zabbuli 37:34, olugamba nti: “Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye naye alikugulumiza okusikira ensi: ababi bwe balizikirizibwa oliraba.” Olunyiriri 37 ne 38 zigamba: “Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow’amazima: kubanga enkomerero [“ebiseera eby’omu maaso,” NW ] ey’omuntu oyo mirembe. Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna: enkomerero [“ebiseera eby’omu maaso,” NW ] ddala ey’omubi erizikirizibwa.”

20. Lwaki tuyinza okugamba nti bino biseera biyitirivu nnyo bye tulimu?

20 Nga kibudaabuda nnyo, yee, nga kizzaamu endasi okukimanya nti Katonda ddala afaayo era nti mangu ajja kukomya obubi bwonna n’okubonaabona! Nga kibuguumiriza okukitegeera nti okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno obw’ekitiibwa kuli kumpi nnyo ddala!

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Baibuli yalagula ebintu eby’okubaawo ebyandikoze “akabonero” k’ennaku ez’oluvannyuma

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Mangu, ku Kalumagedoni, abo abatakkiriza bufuzi bwa Katonda bajja kuzikirizibwa. Abo ababukkiriza bajja kuwonawo okuyingira mu nsi empya ey’obutuukirivu