Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda

Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda

Ekitundu 10

Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda

1, 2. Kiki ekijja okubaawo oluvannyuma lw’olutalo olulongoosa olwa Kalumagedoni?

OLUVANNYUMA lw’olutalo lwa Katonda olulongoosa olwa Kalumagedoni, kiki ekinaddirira? Embeera empya ez’ekitalo zijja kutandika. Abanaawona Kalumagedoni, nga bamaze okukakasa bwe banyweredde ku bufuzi bwa Katonda, bajja kuyingizibwa mu nsi empya. Nga gujja kuba mulembe muppya ogw’essanyu ennyo mu byafaayo ng’emiganyulo egy’ekitalo giyiikira olulyo lw’omuntu okuva eri Katonda!

2 Wansi w’obulagirizi bw’Obwakabaka bwa Katonda, abanaawonawo bajja kutandika okussaawo olusuku lwa Katonda. Amaanyi gaabwe gonna bajja kugamalira mu kunoonya ebitali bya kwerowoozaako bokka ekijja okuganyula buli omu alibaawo. Ensi ejja kutandika okuba ng’efuulibwa amaka amalungi, ag’emirembe era agamatiza eri abantu.

Obutuukirivu Budda mu Kifo Ky’Obubi

3. Buweerero ki obw’embagirawo obujja okuwulirwa nga Kalumagedoni yaakaggwa?

3 Bino byonna bijja kusoboka olw’okuzikirizibwa kw’ensi ya Setaani. Tewajja kuddamu kubeerawo ddiini za bulimba, mbeera za bulamu oba zigavumenti ezireetawo enjawukana. Tewajja kuddamu kubeerawo pokopoko wa Setaani okubuzaabuza abantu; emikutu gyonna mw’ayitira gijja kuzikirizibwa n’embeera za Setaani. Kirowoozeemu: embeera yonna ey’obutwa ey’ensi ya Setaani ng’eggiddwawo! Nga bujja kuba buweerero bwa maanyi!

4. Nnyonnyola enkyukakyuka mu njigiriza ejja okubaawo.

4 Awo ate mu kifo ky’endowooza ez’akabi ez’obufuzi bw’omuntu waddewo okuyigiriza okuzimba okuva eri Katonda. “Abaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama.” (Isaaya 54:13) Nga waliwo okuyigirizibwa kuno okulungi buli mwaka oguddawo, “ensi erijjula okumanya Mukama [“Yakuwa,” NW ] , ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” (Isaaya 11:9) Abantu tebajja kuddamu kuyiga kibi, naye ‘abatuula ku nsi bajja kuyiga obutuukirivu.’ (Isaaya 26:9) Ebirowoozo era n’ebikolwa ebizimba y’ejja okuba enkola eya bulijjo mu bantu.​—Ebikolwa 17:31; Abafiripi 4:8.

5. Kiki ekijja okutuuka ku bubi n’abantu ababi?

5 Bwe kityo, tewajja kubeerawo nate bussi, bukambwe, kukwata bakazi, bunyazi, oba eky’obumenyi bw’amateeka ekirala. Tewali ajja kubonaabona olw’ebikolwa ebibi eby’abalala. Engero 10:30 lugamba: “Omutuukirivu tajjululwenga ennaku zonna: naye ababi tebalibeera mu nsi.”

Obulamu Obutuukiridde Buzziddwaawo

6, 7. (a) Buzibu ki obuliwo obufuzi bw’Obwakabaka bwe bugenda okumalawo? (b) Yesu yakyolesa atya ng’ali ku nsi?

6 Mu nsi empya, wajja kubaawo okujjululwa okw’obubi bwonna obwava mu bujeemu obw’olubereberye. Ng’ekyokulabirako, obufuzi bw’Obwakabaka bujja kumalawo obulwadde n’okukaddiwa. Leero, ne bw’oba ng’olina obulamu obulungi, amazima gali nti bw’ogenda ng’okaddiwa, amaaso go gayimbaala, amannyo go gavunda, okuwulira kwo kukendeera, olususu lwo lujjako enkanyanya, ebitundu byo eby’omunda bigenda byonooneka, era mu nkomerero n’ofa.

7 Naye nno, ebinakuwaza ebyo bye twasikira okuva ku bazadde baffe ababereberye mangu bijja kuba nga tebikyaliwo. Ojjukira Yesu kye yayolesa ng’ali ku nsi ku bikwata ku bulamu? Baibuli egamba nti: “Ebibiina bingi ne bijja gy’ali, nga birina abawenyera, n’abazibe b’amaaso, ne bakasiru, n’abalema, n’abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n’abawonya: ekibiina n’okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n’abazibe b’amaaso nga balaba.”​—Matayo 15:30, 31.

8, 9. Nnyonnyola essanyu erijja okubaawo ng’obulamu obutuukiridde buzziddwawo.

8 Ng’essanyu lya maanyi nnyo erijja okubaawo mu nsi empya ng’ebituluma byonna biggiddwaawo! Okubonaabona okuva mu bulwadde tekujja kuddamu nate kututawaanya. “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” “Awo amaaso g’omuzibe w’amaaso ne galyoka gazibuka, n’amatu g’omuggavu w’amatu galigguka. Awo awenyera n’alyoka abuuka ng’ennangaazi, n’olulimi lwa kasiru luliyimba.”​—Isaaya 33:24; 35:5, 6.

9 Tekirisanyusa nnyo okuzuukukanga buli nkya n’okimanya nti kati oli mu bulamu obulungi ddala? Tekirizzaamu nnyo bannamukadde amaanyi okumanya nti bakomezeddwaawo mu maanyi gennyini ag’obuvubuka era nga bajja kufuna obutuukirivu Adamu ne Kaawa bwe baalina okusooka? Ekisuubizo kya Baibuli kiri nti: “Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw’omwana omuto; adda mu nnaku z’obuto bwe.” (Yobu 33:25) Nga kijja kuba kya ssanyu nnyo okusuula galubindi ezo, obuuma obuyamba mu kuwulira, emiggo, obugaali, n’eddagala! Amalwaliro, abasawo, era n’abo abakola ku mannyo bajja kuba nga tebakyetaagibwa nate.

10. Kiki ekijja okutuuka ku kufa?

10 Abantu abanyumirwa obulamu obulungi ng’obwo tebajja kwagala kufa. Era tebajja kufa, kubanga abantu bajja kuba nga tebakyawambaatiddwa butali butuukirivu n’okufa. Kristo “kimugwanira okufuganga okutuusa lw’alissa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Omulabe ow’enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.” “Ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo.”​—1 Abakkolinso 15:25, 26; Abaruumi 6:23; era laba Isaaya 25:8.

11. Okubikkulirwa kuwumbawumba kutya emiganyulo gy’omu nsi empya?

11 Okuwumbawumba emiganyulo egijja okuyiikira olulyo lw’abantu mu lusuku lwa Katonda okuva eri Katonda afaayo, ekitabo ekisembayo mu Baibuli kigamba: “Naye [Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

Abafu Bakomawo

12. Yesu yayolesa atya amaanyi agaamuweebwa Katonda ag’okuzuukiza?

12 Yesu teyakoma ku kuwonya balwadde na balema. Era yakomyawo abantu okuva mu magombe. Mu ngeri eyo yayolesa amaanyi ago ag’ekitalo ag’okuzuukiza Katonda ge yali amuwadde. Ojjukira omulundi ogwo Yesu lwe yajja ku nnyumba y’omusajja eyali afiiriddwa muwala we? Yesu yagamba omuwala oyo eyali afudde: “Omuwala, nkugamba nti Golokoka.” Kiki ekyavaamu? “Amangu ago omuwala n’agolokoka, n’atambula.” Mu kulaba kino, abantu “ne bawuniikirira okuwuniikirira kunene.” Baali tebasobola kukoma ku ssanyu lwabwe!​—Makko 5:41, 42; era laba Lukka 7:11-16; Yokaana 11:1-45.

13. Bantu ba ngeri ki abajja okuzuukizibwa?

13 Mu nsi empya, “walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Mu kiseera ekyo Yesu ajja kukozesa obuyinza bwe obwamuweebwa Katonda okuzuukiza abafu, nga bwe yagamba nti, “Nze kuzuukira, n’obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng’afudde, aliba mulamu.” (Yokaana 11:25) Era yagamba: “Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana [mu kujjukira kwa Katonda] lwe baliwulira eddoboozi lye [lya Yesu], ne bavaamu.”​—Yokaana 5:28, 29.

14. Olw’okuba okufa tekujja kuddamu kubaawo, bintu ki ebijja okuvaawo?

14 Essanyu lijja kuba lya nsusso mu nsi yonna nga kibinja ku kibinja eky’abafu kikomawo mu bulamu okwegatta ku baagalwa baabwe! Waliba tewakyali biwandiiko ku bafu eby’omu butabo ebireeta ennaku eri abafiirwa. Mu kifo ky’ekyo, wayinza okubeerawo eky’enjawulo ddala ku ekyo: ebirango ku abo abaakazuukizibwa okuleeta essanyu eri abaagalwa baabwe. Bwe kityo nno, tewalibawo kuziika, kwokya mirambo, byoto awookerwa emirambo, oba bifo awaziikibwa abafu!

Ensi ey’Emirembe Ddala

15. Obunnabbi bwa Mikka bunaatuukirizibwa butya mu bujjuvu?

15 Emirembe egy’amazima mu mbeera zonna ez’obulamu gijja kubeerawo. Entalo, abaleetereza entalo, era n’okukola eby’okulwanyisa bijja kuba nga tebikyaliwo. Lwaki? Kubanga okweyawulayawulamu okusinziira ku mawanga, ebika, ne langi bijja kuba nga bivuddewo. Awo, mu makulu amajjuvu ddala, “eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.”​—Mikka 4:3.

16. Katonda anaakakasa atya nti entalo teziddamu kubaawo?

16 Kino kiyinza okulabika nga kyewuunyisa okusinziira ku byafaayo by’omuntu eby’okuyiwa omusaayi olw’entalo ezitaggwa. Naye ekyo kibaddewo olw’okuba abantu babadde wansi w’obufuzi bw’abantu ne balubaale. Mu nsi empya, wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, kino kye kigenda okubaawo: “Mujje mulabe ebikolwa bya Mukama . . . Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi; amenya omutego, n’effumu alikutula; n’amagaali [ag’entalo] agookya omuliro.”​—Zabbuli 46:8, 9.

17, 18. Mu nsi empya, nkolagana ki ejja okubaawo wakati w’omuntu n’ensolo?

17 Omuntu n’ensolo nabyo bijja kubeera mu mirembe, nga bwe kyali mu Adeni. (Olubereberye 1:28; 2:19) Katonda agamba nti: “Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n’ensolo ez’omu nsiko n’ennyonyi ez’omu bbanga n’ebintu eby’ettaka ebyewalula: era . . . ndibagalamiza mirembe.”​—Koseya 2:18.

18 Emirembe egyo girigaziwa kutuuka wa? “N’omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’ekya ssava wamu; n’omwana omuto alizikantiriza.” Ensolo teziriddamu kubeera za ntiisa eri abantu oba eri zo zokka na zokka. Wadde “empologoma erirya omuddo ng’ente”!​—Isaaya 11:6-9; 65:25.

Ensi Efuuliddwa Olusuku lwa Katonda

19. Ensi ejja kufuulibwa ki?

19 Ensi yonna ejja kufuulibwa amaka ag’olusuku lwa Katonda ag’okubeeramu abantu. Yesu kyeyava asuubiza omusajja eyamukkiririzaamu: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” Baibuli egamba nti: “Olukoola n’amatongo birijaguza; n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti . . . Kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n’emigga mu ddungu.”​—Lukka 23:43, NW; Isaaya 35:1, 6.

20. Lwaki enjala tejja kuddamu kubonyaabonya muntu?

20 Wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, enjala teriddamu kukosa obukadde n’obukadde. “Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y’ensozi.” “N’omuti ogw’omu ttale gulibala ebibala byagwo, n’ettaka lirireeta ekyengera kyalyo, nabo baliba mu nsi yaabwe tebaliiko kye batya.”​—Zabbuli 72:16; Ezeekyeri 34:27.

21. Kiki ekijja okutuuka ku butabaako wa kusula, obuyuuyuyu obucaafu, era n’emiriraano emibi?

21 Tewalibaawo nate bwavu, bantu batalina we basula, buyumba obucaafucaafu, oba emiriraano egijjudde obumenyi bw’amateeka. “Balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya.” “Balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga.”​—Isaaya 65:21, 22; Mikka 4:4.

22. Baibuli ennyonnyola etya emikisa gy’obufuzi bwa Katonda?

22 Abantu bajja kuweebwa emikisa gino gyonna, era n’ebisingawo, mu Lusuku lwa Katonda. Zabbuli 145:16 lugamba: “[Katonda] oyanjuluza engalo zo, n’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.” Tekyewuunyisa okuba nti obunnabbi bwa Baibuli bugamba: “Abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi. . . . Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”​—Zabbuli 37:11, 29.

Okujjulula eby’Emabega

23. Obwakabaka bwa Katonda bunajjulula butya okubonaabona kwonna kwe tuyiseemu?

23 Obwakabaka bwa Katonda bujja kujjulula obubi bwonna obukoleddwa ku lulyo lw’omuntu okumala emyaka akakaaga egiyiseewo. Essanyu erijja okubaawo mu kiseera ekyo lijja kusingira wala nnyo okubonaabona kwonna abantu kwe babonyeebonye. Obulamu tebujja kutawaanyizibwa na kujjukira kubonaabona kwonna oku-bi okw’emabega. Ebirowoozo n’eby’okukola ebizimba ebigenda okuba ekya bulijjo mu bulamu bw’abantu, bijja kusangula mpola mpola eby’obulumi ebijjukirwa.

24, 25. (a) Kiki Isaaya kye yalagula ekijja okubaawo? (b) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti okujjukira okubonaabona okw’emabega kujja kukendeerera ddala?

24 Katonda afaayo agamba: “Ntonda eggulu eriggya [gavumenti empya ey’omu ggulu] n’ensi empya [ekibiina ky’abantu abatuukirivu]: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda.” “Ensi yonna ewummudde, era eteredde: baguka okuyimba.”​—Isaaya 14:7; 65:17, 18.

25 Bwe kityo okuyitira mu Bwakabaka bwe, Katonda ajja kuggirawo ddala embeera embi ebaddewo okumala ebbanga eddene bwe lityo. Emirembe gyonna ajja kulaga okufaayo kwe okw’amaanyi gye tuli ng’atuyiira emikisa egijja okuba emingi ennyo okubikka ku bulumi bwe tuyinza okuba nga twafuna mu biseera eby’emabega. Emitawaana gye twafuna emabega gijja kukendeerera ddala okutuva mu birowoozo tube nga tetukyasobola na kubijjukira bulungi, bwe tuliba tufuddeyo okubijjukira.

26. Lwaki Katonda ajja kutuliyirira olw’okubonaabona kwonna okw’emabega?

26 Eyo ye ngeri Katonda gy’ajja okutuliyiramu olw’okubonaabona kwe tuyinza okuba nga twayitamu mu nsi eno. Akimanyi nti tegwali musango gwaffe okuzaalibwa nga tetutuukiridde, kubanga twasikira obutali butuukirivu okuva ku bazadde baffe abaasooka. Tegwali musango gwaffe okuzaalibwa mu nsi ya Setaani, kubanga singa Adamu ne Kaawa baali beesigwa, twandibadde tuzaaliddwa mu lusuku lwa Katonda mu kifo ky’ekyo. Kale mu busaasizi obw’amaanyi Katonda ajja kutuddizaawo n’okusinga ebyo bye tufiiriddwa olw’ebiseera ebibi eby’emabega kye bitukoze.

27. Bunnabbi ki obujja okufuna okutuukirizibwa kwabwo okw’ekitalo?

27 Mu nsi empya, abantu bajja kufuna eddembe eryalagulwa mu Abaruumi 8:21, 22: “N’ebitonde byennyini nabyo biriweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda. Kubanga tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.” Mu kiseera ekyo abantu baliraba okutuukirizibwa okujjuvu okw’okusaba kuno: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Matayo 6:10) Embeera ez’ekitalo mu lusuku lwa Katonda ku nsi zijja kwolesa embeera eziri mu ggulu.

[Ebibuuzo]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Mu nsi empya, bannamukadde bajja kukomawo mu maanyi ag’obuvubuka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Obulwadde bwonna n’obulema bijja kumalibwawo mu nsi empya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Mu nsi empya, abafu bajja kuzuukizibwa mu bulamu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

‘Tebaliyiga kulwana nate’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Abantu n’ensolo bajja kubeera mu mirembe egya namaddala mu Lusuku lwa Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

‘Katonda aliyanjuluza engalo ze n’akkusa buli kiramu bye kyetaaga’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuddizaawo bingi n’okusinga byonna bye tufiiriddwa olw’okubonaabona kwe tubaddemu