Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensi Omutali Kubonaabona

Ensi Omutali Kubonaabona

Ekitundu 2

Ensi Omutali Kubonaabona

1, 2. Ndowooza ki ey’enjawulo abantu bangi gye balina?

NAYE nno, abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi balina endowooza ya njawulo nnyo. Balengera ebiseera eby’omu maaso eby’ekitalo eri abantu. Bagamba nti wano wennyini ku nsi mangu we wajja okubeera ensi omutali bubi na kubonaabona. Balina obwesige nti obubi mangu bujja kuggibwawo ddala ensi empya eteekebwewo. Era bagamba nti omusingi gw’ensi eno empya gugenda guteekebwawo kati!

2 Abantu bano bakkiriza nti ensi empya tejja kubeeramu ntalo, bukambwe, bumenyi bwa mateeka, butali bwenkanya, n’obwavu. Ejja kubeera ensi omutali bulwadde, nnaku, maziga, wadde n’okufa. Mu kiseera ekyo abantu bajja kufuuka abatuukiridde era babe balamu emirembe gyonna mu ssanyu mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Weewuunye, abo abaafa bajja kuzuukizibwa bafune omukisa gw’okuba abalamu emirembe gyonna!

3, 4. Lwaki abantu ng’abo bakakafu ku ndowooza yaabwe?

3 Endowooza eno ku biseera eby’omu maaso kirooto bulooto, okwegwanyiza obwegwanyiza? Nedda, si bwe kiri. Yeesigamiziddwa ku kukkiriza okunywevu nti Olusuku lwa Katonda luno olujja kintu kikakafu. (Abebbulaniya 11:1) Lwaki bakakafu bwe batyo? Kubanga Omutonzi ow’obutonde bwonna ayinza byonna y’akisuubizza.

4 Ku bikwata ku bisuubizo bya Katonda, Baibuli egamba nti: “Tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.” “Katonda si muntu okulimba . . . Ayogedde, n’okukola talikikola? Oba agambye, n’okutuusa talikituusa?” “Mukama w’eggye alayidde, ng’ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo.”​—Yoswa 23:14; Okubala 23:19; Isaaya 14:24.

5. Bibuuzo ki ebyetaaga okuddibwamu?

5 Kyokka, obanga ekigendererwa kya Katonda kyali kya kussaawo olusuku lwe ku nsi omutali kubonaabona, lwaki yakkiriza ebintu ebibi ne bibaawo? Lwaki yalindirira emyaka kakaaga egiyiseewo alyoke atereeze ebyasoba? Ebyasa ebyo byonna eby’emyaka biyinza okubaako kye bitulaga nti ddala Katonda atufaako, oba n’okuba nti gyali?

[Ebibuuzo]