Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Atubuulira Ebikwata ku Bigendererwa Bye

Katonda Atubuulira Ebikwata ku Bigendererwa Bye

Ekitundu 4

Katonda Atubuulira Ebikwata ku Bigendererwa Bye

1, 2. Tumanyi tutya nti Katonda awa eby’okuddamu eri abo ababuuza mu bwesimbu?

KATONDA omwagazi mazima ddala abikkula ebigendererwa bye eri abantu abeesimbu abamunoonya. Awa eby’okuddamu eri abantu ababuuliriza, ku bibuuzo ng’ensonga kyavudde akkiriza okubonaabona.

2 Baibuli egamba nti: “[Katonda] bw’onoomunoonyanga, anaalabikanga gy’oli.” “Waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama.” “Mukama taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.”​—1 Ebyomumirembe 28:9; Danyeri 2:28; Amosi 3:7.

Eby’okuddamu Biri Luuyi Wa?

3. Wa gye tuyinza okuzuula ensonga lwaki Katonda akkirizza okubonaabona?

3 Eby’okuddamu mu bibuuzo nga lwaki Katonda akkirizza okubonaabona okubeerawo era naki ky’ajja okukolawo ku kyo bisangibwa mu biwandiiko bye yaluŋŋamya olw’okutugasa. Ebiwandiiko ebyo kye Kigambo kye, Baibuli. “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.”​—2 Timoseewo 3:16, 17.

4, 5. Kiki ekifuula Baibuli ekitabo ekyawufu?

4 Baibuli ddala kitabo kyawufu nnyo. Erimu ebiwandiiko by’ebyafaayo by’abantu ebisingirayo ddala okuba ebituufu ddala era eddirayo ddala ne ku byaliwo ng’okutondebwa kw’abantu tekunnabaawo. Ate era etuukana n’ebiseera, kubanga obunnabbi bwayo bukwatagana n’ebiriwo mu kiseera kyaffe era n’ebyo eby’omu biseera eby’omu maaso awo.

5 Tewali kitabo kirala kimanyifu nga kino olw’ebyafaayo byakyo eby’amazima. Ng’ekyokulabirako, ebiwandiiko bitono nnyo ddala eby’abawandiisi ab’edda ennyo ebikyaliwo. So ng’ate ebiwandiiko bingi ebiriwo ebya Baibuli, ebimu nga bitundutundu n’ebirala nga biramba: nga 6,000 ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya (ebitabo 39 ebya “Endagaano Enkadde”) ate nga 13,000 eby’Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani (ebitabo 27 ebya “Endagaano Empya”).

6. Lwaki tusobola okukakasa nti Baibuli leero y’emu ddala nga Katonda bwe yagiruŋŋamya?

6 Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyaluŋŋamya Baibuli, akakasizza nti obulongoofu bw’ebyawandiikibwa ebigirimu bukuumibwa mu kukoppololwa kw’ebiwandiiko ebyo. Bwe kityo Baibuli ze tulina leero mu mazima ze zimu n’ebiwandiiko biri ebyasooka ebyaluŋŋamizibwa. Ensonga endala etuyamba okutegeera kino eri nti ebiwandiiko ebimu ebyakoppololwa ku Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani biddirayo ddala ku myaka egitasukka kikumi okuva ku kiseera we byawandiikirwa. Ebyakoppololwa ebitonotono ku biwandiiko by’abawandiisi abatali ba bya ddiini ebikyaliwo tebitera kukka wansi wa byasa ebiwerako eby’emyaka okuva ku bawandiisi bali abaasooka okubiwandiika.

Ekirabo kya Katonda

7. Okubunyisibwa kwa Baibuli kunene kwenkana wa?

7 Baibuli kye kitabo ekisingidde ddala okubunyisibwa mu byafaayo byonna. Baibuli ng’obukadde enkumi ssatu ze zaakakubibwa. Tewali kitabo kirala kisemberera muwendo ogwo. Era Baibuli oba ebitundu byayo bikyusiddwa mu nnimi nga 2,000. Bwe kityo, kiteeberezebwa nti abantu 98 ku buli kikumi abali ku nsi bayinza okuba n’obusobozi obw’okuba ne Baibuli.

8-10. Nsonga ki ezimu Baibuli kyeva ebeera nti egwanira okwekebejjebwa?

8 Mazima ddala ekitabo ekigamba nga kyava wa Katonda era nga kirina obujulizi bwonna, ebweru ne munda, obulaga nga kya mazima kyandibadde kigwanira okukyekebejja. * Kinnyonnyola ekigendererwa ky’obulamu, amakulu g’embeera z’ensi, era naki ekiri mu biseera eby’omu maaso. Tewali kitabo kirala kiyinza kukola ekyo.

9 Yee, Baibuli bwe bubaka bwa Katonda eri olulyo lw’omuntu. Yaluŋŋamya okuwandiikibwa kwayo ng’akozesa amaanyi ge agakola, oba omwoyo gwe, abantu nga 40 nga be baakola ogw’okuwandiika. Mu ngeri eyo Katonda ayogera gye tuli okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Bwe mwaweebwa ffe Ekigambo eky’okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda.”​—1 Abasessalonika 2:13.

10 Abraham Lincoln, presidenti owa 16 owa United States, yayita Baibuli “ekirabo ekisingirayo ddala obulungi Katonda kye yali awadde abantu . . . Era weetali tetwandisobodde kumanya kituufu okuva ku kikyamu.” Kati olwo, ekirabo kino ekisingiridde kitubuulira ki ku ngeri okubonaabona gye kwatandikamu, ku nsonga lwaki Katonda akukkirizza okubeerawo era naki ky’anaakolawo ku kyo?

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 8 Okufuna ebisingawo ku butuufu bwa Baibuli, laba ekitabo The Bible​God’s Word or Man’s?, ekyakubibwa mu 1989 aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.

[Ebibuuzo]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Baibuli, eyaluŋŋamizibwa katonda, bwe bubaka bwa katonda eri olulyo lw’abantu