Omusingi gw’Ensi Empya Gugenda Gukolebwa Kati
Ekitundu 11
Omusingi gw’Ensi Empya Gugenda Gukolebwa Kati
1, 2. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli, kiki ekigenda kibaawo kye tulabako n’amaaso gaffe?
EKY’EKITALO ekirala kwe kuba nti omusingi ogw’ensi empya eya Katonda gugenda gukolebwa kati, ng’ensi enkadde eya Setaani bw’egenda esebengerera. Nga tukirabirako ddala n’amaaso gaffe, Katonda akuŋŋaanya abantu okuva mu mawanga gonna era abakolamu omusingi ogw’ekibiina eky’ensi empya mangu ekijja okudda mu kifo ky’ensi eriwo kati eteriimu bumu. Mu Baibuli, mu 2 Peetero 3:13, ekibiina kino ekippya kiyitibwa “ensi empya.”
2 Obunnabbi bwa Baibuli era bugamba: “Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma [ekiseera kye tulimu kati] . . . amawanga mangi Isaaya 2:2, 3.
agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama [“Yakuwa,” NW] [okusinza kwe okw’amazima], . . . anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze.”—3. (a) Obunnabbi bwa Isaaya butuukirizibwa mu baani? (b) Ekitabo ekisembayo ekya Baibuli kyogera kitya ku kino?
3 Obunnabbi obwo bugenda butuukirizibwa kati mu abo abagondera ‘amakubo ga Katonda era ne batambulira mu mpenda ze.’ Ekitabo ekisembayo ekya Baibuli kyogera ku kibiina eky’ensi yonna ekyagazi ky’emirembe nga ‘ekibiina ekinene okuva mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi,’ oluganda olw’ensi yonna olw’amazima abaweereza Katonda mu bumu. Era Baibuli egamba nti: “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi.” Kwe kugamba, bajja kuwona enkomerero y’embeera zino embi ez’ebintu.—Okubikkulirwa 7:9, 14; Matayo 24:3.
Oluganda olw’Ensi Yonna olw’Amazima
4, 5. Lwaki oluganda olw’ensi yonna olw’Abajulirwa ba Yakuwa lusoboka?
4 Obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa bagezaako mu bwesimbu ddala okutambulira ku biragiro bya Katonda n’amakubo ge. Essuubi lyabwe ery’obulamu obutaggwaawo lisimbye mu nsi empya eya Katonda. Nga bakulembera obulamu bwabwe obwa bulijjo mu buwulize eri amateeka ga Katonda, bamulaga nga bwe bali abeetegefu okubeera wansi w’obufuzi bwe kati era ne mu nsi empya. Buli wamu, ka babeere ba ggwanga ki oba langi ki, bagoberera emitindo gye gimu—egyo egyateekebwawo Katonda mu Kigambo kye. Kyebava babeera oluganda olw’ensi yonna olw’amazima, ekibiina eky’ensi empya ekikoleddwa Katonda.—Isaaya 54:13; Matayo 22:37, 38; Yokaana 15:9, 14.
5 Abajulirwa ba Yakuwa tebeetendereza bo bennyini olw’okubeera mu luganda olw’ensi yonna olw’enjawulo ddala. Bakimanyi nti kino kivudde mu mwoyo gwa Katonda ogw’amaanyi ogukola ku bantu be abagoberera amateeka ge. (Ebikolwa 5:29, 32; Abaggalatiya 5:22, 23) Katonda y’akikola. Nga Yesu bwe yagamba nti, “ebitayinzika eri abantu biyinzika eri Katonda.” (Lukka 18:27) Bwe kityo Katonda eyasobozesa obutonde bwonna obuwangaazi okubaawo y’omu y’asobozesezza ekibiina eky’ensi empya empangaazi okubaawo.
6. Lwaki oluganda olw’Abajulirwa ba Yakuwa luyinza okuyitibwa ekyamagero eky’ennaku zino?
6 Bwe kityo, engeri y’obufuzi bwa Yakuwa mu nsi empya eyinza okulabibwa kati mu ekyo ky’ataddewo mu musingi ogw’ensi empya ogukolebwa kati. Era ky’akoze mu Bajulirwa be, mu ngeri emu, kya magero eky’ennaku zino. Lwaki? Kubanga akoze mu Bajulirwa ba Yakuwa oluganda olw’ensi yonna olw’amazima, olwo olutayinza kumenyebwa lwa njawukana z’amawanga, langi, oba ez’amadiini. Wadde ng’Abajulirwa bali mu bukadde era nga babeera mu nsi ezisukka mu 200, bali wamu kitole mu bumu obutajjulukuka. Luno luganda lwa nsi yonna, lwa njawulo nnyo mu byafaayo byonna, ddala kya magero eky’omu kiseera kino—ekikoleddwa Katonda.—Isaaya 43:10, 11, 21; Ebikolwa 10:34, 35; Abaggalatiya 3:28.
Okwawulawo Abantu ba Katonda
7. Yesu yagamba ng’abagoberezi be ab’amazima bandyawuddwawo batya?
7 Kiyinza kitya okweyongera okukakasibwa bantu ki Katonda b’akozesa ng’omusingi ogw’ensi ye empya? Abaffe, be baani abatuukiriza ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 13:34, 35? Yagamba nti: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” Abajulirwa ba Yakuwa bakkiririza mu bigambo bya Yesu era ne babikolerako. Ng’ekigambo kya Katonda bwe kiragira, ‘balina okwagalana okungi ennyo bokka na bokka.’ (1 Peetero 4:8) ‘Bambala okwagala kubanga kye kinyweza okutuukirira.’ (Abakkolosaayi 3:14) Kale nno okwagala kw’ab’oluganda ye “nkwaso” ebagatta awamu okwetooloola ensi yonna.
8. Yokaana Ekisooka 3:10-12 wongera watya okwawulawo abantu ba Katonda?
8 Ate, 1 Yokaana 3:10-12 wagamba: “Ku kino abaana ba Katonda n’abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we. Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga: si nga Kayini bwe yali ow’omubi n’atta muganda we.” Bwe batyo, abantu ba Katonda lwe luganda olw’ensi yonna olutaliimu ttemu.
Ekintu Ekirala Ekyawulawo
9, 10. (a) Mulimu ki ogwandyawuddewo abaweereza ba Katonda mu nnaku zino ez’oluvannyuma? (b) Abajulirwa ba Yakuwa batuukirizza batya Matayo 24:14?
9 Waliwo engeri endala ey’okwawulawo abaweereza ba Katonda. Mu bunnabbi bwe obukwata ku nkomerero y’ensi, Yesu yayogera ku bintu bingi ebyandirambye ekiseera kino ng’ennaku ez’oluvannyuma. (Laba Ekitundu 9.) Ekimu ku bikulu eby’omu bunnabbi buno kyogerwako mu bigambo bye ebiri mu Matayo 24:14, NW: “Amawulire gano amalungi ag’obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”
10 Obunnabbi obwo obulabye nga butuukirizibwa? Yee. Okuva ennaku ez’oluvannyuma bwe zaatandika mu 1914, Abajulirwa ba Yakuwa babadde babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna mu ngeri Yesu gye yalagira, mu mayumba g’abantu. (Matayo 10:7, 12; Ebikolwa 20:20) Obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa batuukirira abantu mu buli ggwanga okwogera nabo ku nsi empya. Kino kye kikuviiriddeko okufuna akatabo kano, engeri omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gye gutwaliramu n’okukuba mu kyapa era n’okusaasaanya obukadde n’obukadde bw’ebiwandiiko ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Olinayo abantu abalala bonna b’omanyi ababuulira ku Bwakabaka bwa Katonda okuva nnyumba ku nnyumba okwetooloola ensi yonna? Era Makko 13:10 lulaga nti omulimu guno ogw’okubuulira n’okuyigiriza guteekwa okukolebwa ‘okusooka,’ ng’enkomerero tennajja.
Okuddamu Ensonga Enkulu ey’Okubiri
11. Kiki ekirala Abajulirwa ba Yakuwa kye batuukiriza olw’okugondera obufuzi bwa Katonda?
11 Olw’okugondera amateeka ga Katonda n’emisingi gye, Abajulirwa ba Yakuwa batuukiriza ekintu ekirala. Balaga nti Setaani yali mulimba bwe yagamba nti abantu tebandisobodde kubeera beesigwa eri Katonda wansi w’okugezesebwa, mu ngeri eyo ne baddamu ensonga enkulu ey’okubiri, etwaliramu obugolokofu bw’omuntu. (Yobu 2:1-5) Olw’okubeera ekibiina ekirimu obukadde bw’abantu okuva mu mawanga gonna, Abajulirwa, ng’ekibiina ekimu, balaga nga bwe banyweredde ku bufuzi bwa Katonda. Newakubadde bali abantu abatatuukiridde, bawagira oludda lwa Katonda ku nsonga enkulu ey’obufuzi bw’obutonde bwonna, wadde nga waliwo okunnyigirizibwa kwa Setaani.
12. Olw’okukkiriza kwabwe, Abajulirwa ba Yakuwa bakoppa baani?
12 Leero, obukadde bw’Abajulirwa ba Yakuwa bano bugatta obujulirwa bwabwe ku obwo obw’olunyiriri oluwanvu olw’abajulirwa abalala mu biseera ebyayita abaakyolesa nga banyweredde ku Katonda. Abamu ku bo baali Abeeri, Nuuwa, Yobu, Ibulayimu, Saala, Isaaka, Yakobo, Debola, Luusi, Dawudi, ne Danyeri, okumenyayo abatono. (Abebbulaniya, essuula 11) Nga Baibuli bw’egamba, lwe ‘lufu olunene olw’abajulirwa abeesigwa.’ (Abebbulaniya 12:1) Bano awamu n’abalala nga mw’otwalidde n’abayigirizwa ba Yesu baakuuma obugolokofu eri Katonda. Era Yesu kennyini yateekawo ekyokulabirako ekisingiridde eky’okukuuma obugolokofu obutuukiridde.
13. Bigambo ki Yesu bye yayogera ku Setaani ebikakasiddwa nga bya mazima?
13 Kino kikakasa nti Yesu kye yayogera ku Setaani eri abakulembeze b’eddiini kya mazima: “Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby’amazima, bye nnawulira eri Katonda. . . . Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.”—Yokaana 8:40, 44.
Olonzewo Ki?
14. Kiki ekigenda kibaawo ku musingi ogw’ensi empya kati?
14 Omusingi ogw’ensi empya Katonda gw’akola
kati mu kibiina eky’ensi yonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa gugenda gweyongerayongera amaanyi. Buli mwaka abantu mitwalo na mitwalo bakozesa eddembe lyabwe ery’okwesalirawo, nga basinziira ku kumanya okutuufu, okukkiriza obufuzi bwa Katonda. Bafuuka ekitundu ky’ekibiina eky’ensi empya, ne banywerera ku ludda lwa Katonda olw’ensonga enkulu ey’obufuzi obw’obutonde bwonna, era ne balaga nga Setaani mulimba.15. Mulimu ki ogwawulawo Yesu gw’atuukiriza mu kiseera kyaffe?
15 Nga balondawo obufuzi bwa Katonda, batuukiriza ebisaanyizo okuteekebwa ku “mukono ogwa ddyo” ogwa Kristo ng’ayawulamu “endiga” okuva ku ‘mbuzi.’ Mu bunnabbi bwe obukwata ku nnaku ez’oluvannyuma, Yesu yalagula: “Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi: endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono ogwa kkono.” Endiga be bantu abawombeefu abakolaganira awamu ne baganda ba Kristo era ne babawagira, nga bagondera obufuzi bwa Katonda. Embuzi be bantu ab’emputtu abagaana baganda ba Kristo era ne batabaako kye bakolawo okuwagira obufuzi bwa Katonda. Kiki ekivaamu? Yesu yagamba: “Na bano [embuzi] baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu [endiga] baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”—Matayo 25:31-46.
16. Kiki ky’oteekwa okukola singa oyagala okubeera mu Lusuku lwa Katonda olujja?
16 Mazima ddala, Katonda afaayo gye tuli! Mangu ddala ajja kuteekawo olusuku lwe olusanyusa ku nsi. Oyagala okubeera mu Lusuku lwa Katonda olwo? Obanga bwe kiri, laga okusiima kwo eri enteekateeka za Yakuwa ng’oyiga ebimukwatako era ng’okolera ku by’oyiga. “Munoonye Mukama [“Yakuwa,” NW ] nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi: omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama [“Yakuwa,” NW ] , naye anaamusaasira.”—Isaaya 55:6, 7.
17. Lwaki tewaliwo biseera bya kwonoona mu kulonda ani ow’okuweereza?
17 Tewali biseera bya kwonoona. Enkomerero y’embeera zino enkadde eri kumpi nnyo. Ekigambo kya Katonda kibuulirira: “Temwagalanga nsi newakubadde ebiri mu nsi. Omuntu yenna bw’ayagala ensi okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye . . . Era ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:15-17.
18. Kikolwa ki ekijja okukusobozesa okwesunga n’obwesige okubeera mu nsi empya ey’ekitalo eya Katonda?
18 Abantu ba Katonda bagenda batendekebwa kati olw’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. Bayiga engeri ez’eby’omwoyo awamu n’endala ezeetaagibwa mu kuteekawo olusuku lwa Katonda. Tukukubiriza okulondawo Katonda ng’Omufuzi era n’okuwagira omulimu ogw’okuwonya obulamu gw’akubiriza mu nsi yonna leero. Yiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era manya Katonda oyo akufaako ddala era ajja okukomya okubonaabona. Mu ngeri eno, naawe ojja kufuuka kitundu ky’omusingi ogwo ogw’ensi empya. Awo nno, oyinza okwesunga n’obwesige okufuna okusiimibwa kwa Katonda n’okubeera emirembe gyonna mu nsi eyo empya ey’ekitalo.
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abajulirwa ba Yakuwa balina oluganda olw’ensi yonna olw’amazima
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Omusingi ogw’ensi empya eya Katonda gugenda gukolebwa kati