Tuyinza Tutya Okumanya nga Katonda Gyali
Ekitundu 3
Tuyinza Tutya Okumanya nga Katonda Gyali
1, 2. Musingi ki ogutuyamba okumanya obanga Katonda gyali?
ENGERI emu ey’okumanyamu obanga Katonda gyali kwe kukozesa omusingi guno ogumanyiddwa obulungi: Ekikoleddwa kyetaaga omukozi. Ekintu ekikoleddwa gye kikoma okuba ekizibu, n’oyo akikoze gy’akoma okuba omukugu.
2 Ng’ekyokulabirako, tunulatunula mu nnyumba yo. Emmeeza, entebe, ebitanda, emmeeza ezisomerwako, ensuwa, amasefuliya, essowaani, n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu kulya byonna byetaagisa omukozi, era n’ebisenge, seminti wansi, ne siriingi. Kyokka, ebintu ebyo mu kugeraageranya birabika nga byangu okukola. Okuva ebintu ebyangu ennyo bwe byetaaga omukozi, tekuba kulowooza kutuufu nti ebintu ebizibu okukola byetaaga omukozi asingawo n’okuba ow’amagezi?
Obutonde Bwonna obw’Ekitalo
3, 4. Obwengula butuyamba butya okumanya nti Katonda gy’ali?
3 Essaawa yeetaaga omukozi w’essaawa. Kati ate obwakabaka bwa Wanjuba mwe tuli obusingawo ennyo obuzibu, omuli Enjuba n’ensi zaayo ezigyetooloola awatali kusuulamu katikitiki na kamu okumala ebyasa n’ebyasa by’emyaka? Ate galakisi yaffe ey’entiisa mwe tuli, eyitibwa Ekkubo ly’Amata, omuli emmunyeenye ezisukka mu buwumbi 100? Wali oyimiriddeko wabweru ekiro okutunuulira Ekkubo ly’Amata? Wasamaalirira? Kati ate lowooza ku bwengula obunene ennyo obulimu galakisi obukadde n’obukadde eziringa eyo eyaffe, Ekkubo ly’Amata! Ate, obutonde obwo obuli mu bwengula bwesigika nnyo ddala mu ntambula yaabwo ebyasa n’ebyasa by’emyaka ne kiba nti buyinza okugeraageranyizibwa ku ssaawa ezitasuula budde.
4 Obanga essaawa, erabika nga nnyanguko okukola, eraga ku bwayo nga wateekwa okubaawo eyagikola, mazima obutonde bwonna obusingawo ennyo obuzibu era obw’ekitalo bulaga nga waliwo omuyiiya era omukozi waabwo. Ye nsonga lwaki Baibuli etugamba ‘tuyimuse amaaso gaffe waggulu tulabe,’ ate n’ebuuza: “Ani yatonda ebintu bino?” Eky’okuddamu: “Y’Oyo [Katonda] afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli, byonna abiyita n’amannya. Olw’amaanyi ge amangi, era nga wa maanyi mu buyinza, tewali na kimu ku byo ekibulako.” (Isaaya 40:26, NW) Bwe kityo, obutonde bwonna weebuli olw’ow’amaanyi ow’amagezi, ow’obuyinza, atalabika—Katonda.
Ensi Yakolebwa mu Ngeri ya Njawulo Nnyo
5-7. Bya mazima ki ebikwata ku nsi ebiraga nti erina Omukozi waayo?
5 Bannasayansi gye bakoma okuyiga ebikwata kunsi, gye bakoma okukitegeera nti yakolebwa mu ngeri ya njawulo olw’abantu okugibeeramu. Awo weeri, eri mu bbanga ttuufu okuva ku njuba okufuna ekitangaala ekimala n’ebbugumu. Omulundi gumu omwaka yeetooloola enjuba, nga yeewunzise mu kipimo ekituufu, ne kisobozesa obudde obw’enjawulo okubeerawo mu bitundu bingi eby’ensi. Era ensi yeekulungula omulundi mulamba buli ssaawa 24, ne kiteekawo bulijjo ebiseera eby’obudde obw’emisana n’obw’ekiro. Erina ebbanga erigyetoolodde eririmu ekipimo ekituufu eky’emikka tusobole okussa era n’okukuumibwa okuva ku mikka egy’akabi egiva mu bwengula. Era eriko amazzi n’ettaka ebyetaagibwa ebimera okukula.
6 Awatali mbeera ezo zonna, awamu n’endala, nga zonna zikolera wamu, obulamu bwandibadde tebuyinza kubeerawo. Bino byonna byajjawo mu butanwa? Akatabo Science News kagamba nti: “Kirabika ng’embeera enkakafu era entuufu ng’ezo tezandisobodde kumala gabaawo.” Mazima ddala, tezandisobodde. Zaali zeetaagisa okukolebwa Omukozi ow’ekitalo.
7 Singa oyingidde mu nnyumba ennungi ennyo era n’osanga ng’erimu eby’okulya bingi, ng’erimu ebyoto ebirungi ebikuuma ebbugumu era nga n’empewo yaamu nnungi, era ng’erina emidumu emirungi egitambuza amazzi, kiki kye wandisazewo? Nti byonna byamala gajjawo byokka? Nedda, mazima wandisazewo nti omuntu ow’amagezi yabitegeka era n’abikola n’obwegendereza obw’amaanyi. Ensi nayo yateekebwateekebwa era n’ekolebwa n’obwegendereza obw’amaanyi esobole okuwa abagituulako bye beetaaga, ate nga nzibu nnyo mu ntegeka yaayo era erimu bingi nnyo okusinga ennyumba yonna.
8. Kiki ekirala ekikwata ku nsi ekiraga okufaayo kwa Katonda okw’okwagala gye tuli?
8 Ate, lowooza ku bintu ebingi ennyo ebyongera essanyu mu bulamu. Tunuulira ebimuli eby’enjawulo ebingi ennyo eby’erangi ennungi awamu n’obuwoowo bwabyo obulungi obusanyusa abantu. Ate ne wabaawo ebika by’emmere ebingi ennyo ebituwoomera ennyo. Waliwo ebibira, ensozi, ennyanja, n’ebitonde ebirala ebisanyusa okutunuulira. Ate okugwa kw’enjuba okulabika obulungi ennyo okwongera essanyu lyaffe mu bulamu? Ate ku luuyi olw’ebisolo, tetusanyusibwa obuzanyiikirizi era n’embeera ezisanyusa ez’obubwa obuto, bukkapa, era n’ebisolo ebirala ebito? Bwe kityo ensi erimu eby’ekyewuunyo bingi ebisanyusa ebiteetaagibwa n’akamu obulamu okubaawo. Bino biraga nti ensi yategekebwa n’obwegendereza obw’okwagala, ng’etegekerwa bantu, kitusobozese si kubeerawo kwokka naye tunyumirwe obulamu.
9. Ani eyakola ensi, era lwaki yagikola?
9 N’olwekyo, okusalawo okw’amagezi kwe kukkiriza Omugabi w’ebintu bino byonna, ng’omuwandiisi wa Baibuli eyayogera ku Yakuwa Katonda nti: “Gwe wakola eggulu n’ensi.” Lwa kigendererwa ki? Awa eky’okuddamu ng’ayogera ku Katonda ng’oyo “eyabumba ensi n’agikola; ye yaginyweza, yagitonda obutaba ddungu, yagibumba okutuulwamu.”—Isaaya 37:16; 45:18.
Akatofaali Ak’Obulamu Ak’Ekyewuunyo
10, 11. Lwaki akatofaali ak’obulamu ka kyewuunyo nnyo?
10 Ate byo ebiramu? Tebyetaaga mukozi? Ng’ekyokulabirako, lowooza ku by’ekyewuunyo ebimu eby’akatofaali ak’obulamu. Mu kitabo kye Evolution: A Theory in Crisis, munnabayoloje ow’obusirikitu Michael Denton agamba nti: “Wadde n’ebitonde ebiramu ebisingayo okuba ebyangu ku nsi leero, obutofaali bwa bakiteriya, nabwo buzibu nnyo mu kukolebwa kwabwo. Newakubadde ng’obutofaali bwa bakiteriya obusingayo okuba obutono buba butono nnyo ddala . . . buli kamu ku bwo mu butuufu kalinga akakolero akatono ennyo akalimu ebyuma nkumi na nkumi ebitegekeddwa mu ngeri ey’ekitalo . . . nga bikakali nnyo n’okusinga ekyuma kyonna ekyakolebwa omuntu era nga tebirina bibifaanana n’akatono mu ebyo ebitalina bulamu.”
11 Ku bikwata ku biwandiiko ebiba mu buli katofaali akalamu, agamba nti: “Obusobozi bwa DNA okutereka amawulire bwa waggulu nnyo okusinga obw’entegeka endala yonna emanyiddwa; bukola mu ngeri ematiza ddala n’okuba nti amawulire gonna ageetaagibwa okunnyonnyola ku kiramu ekizibu ng’omuntu, obuzito bwago buli wansi wa kimu kya kawumbi ekya gramu . . . Ng’otunuulidde obusobozi obwa waggulu era n’obuzibu obulagibwa obutundu obusirikitu obw’obulamu, yadde [ebyo bye tukoze] ebisingayo okuba eby’amagezi aga waggulu birabika nga temuli. Tufeebezebwa.”
12. Kiki munnasayansi omu kye yayogera ku nsibuko y’akatofaali ak’obulamu?
12 Denton agattako: “Obuzibu bw’akatofaali ak’obulamu akamanyiddwa okuba nga ke kasingayo obwangu bwa maanyi nnyo okuba nti tekisoboka okukkiriza nti akantu ng’ako kaagwawo bugwi mbagirawo, olw’ekyaliwo ekitali kya bulijjo, era ekitateeberezeka kubeerawo n’akamu.” Kateekwa okuba nga kaalina eyakawa enfaanana era eyakakola.
Obwongo Bwaffe obw’Ekyewuunyo
13, 14. Lwaki obwongo bwa kyewuunyo nnyo n’okusinga akatofaali ak’obulamu?
13 Munnasayansi ono ate n’agamba nti: “Mu bikwata ku buzibu, akatofaali k’obulamu akamu obumu si kintu ng’okageraageranyizza n’ekintu ng’obwongo bw’ekiyonka kyonna. Obwongo bw’omuntu bulimu obutofaali obw’obusimu ng’obukadde mutwalo gumu. Buli katofaali akamu ak’obusimu kalina entabiro wakati w’omutwalo ogumu n’emitalo ekkumi ze kakozesa okukwatagana n’obutofaali obulala obw’obusimu obuli mu bwongo. Omuwendo gwonna
awamu ogw’entabiro mu bwongo bw’omuntu gwolekera . . . obukadde kawumbi.”14 Denton yeeyongera mu maaso: “Yadde ne bwe kyandibadde nti kimu kya kikumi eky’entabiro z’omu bwongo kye kyali kitegekeddwa, kino era kyandibadde kyoleka entegeka erimu omuwendo ogwa waggulu ennyo ogw’entabiro okusinga eziri mu ntegeka ey’eby’empuliziganya byonna eby’oku Nsi.” Awo n’abuuza: “Enkola ey’engeri yonna egwawo obugwi mu butanwa yandisobodde okuvaamu entegeka ng’ezo?” Kya lwatu, eky’okuddamu kiteekwa kuba nedda. Obwongo buteekwa okuba nga bwalina Eyabuwa Enfaanana yaabwo era Omukozi waabwo afaayo.
15. Abalala boogedde ki ku bwongo?
15 Obwongo bw’omuntu buleetera ne zikompyuta ez’ekika ekya waggulu ennyo okufaanana nga zikyali mabega nnyo. Omuwandiisi w’ebyasayansi Morton Hunt yagamba: “Okujjukira kwaffe kusobola okubeeramu amawulire agasingawo emirundi nkumi za bukadde ku ago agasobola okubeera mu kompyuta ennene ey’eby’okunoonyereza ey’omu kiseera kino.” Bwe kityo nno, omusawo w’obwongo Dr. Robert J. White yawunzika bw’ati: “Sirina kya kusalawo kirala wabula okukkiriza nti waliyo Ow’Amagezi Agasingiridde, avunaanyizibwa olw’entegeka n’okukulaakulana kw’enkolagana ey’ekyewuunyo eriwo wakati w’obwongo n’ebirowoozo—ekintu ekisukkiridde okutegeera kw’omuntu. . . . Nnina okukikkiriza nti bino byonna byalina entandikwa eriko amagezi, nti waliwo Omuntu eyabikola.” Era ateekwa okuba nga yali Omuntu afaayo.
Entegeka y’Omusaayi ey’Enjawulo Ennyo
16-18. (a) Mu ngeri ki entegeka y’omusaayi gy’eri ey’enjawulo ennyo? (b) Tulina kutuuka ku kusalawo ki?
16 Lowooza, ate, ku ntegeka y’omusaayi ey’enjawulo ennyo etambuza ebiriisa omubiri ne oxygen ate n’ekuuma omubiri obutalumbibwa bulwadde. Ku bikwata ku butofaali obumyufu obw’omu musaayi, ekitundu ekikulu ennyo eky’entegeka eno, ekitabo ABC’s of the Human Body kigamba nti: “Ettondo erimu bwe liti ery’omusaayi lirimu obutofaali obutono kinnakamu obukola omusaayi obusukka mu bukadde 250 . . . Omubiri gulimu nga obukadde bw’obukadde 25 ku bwo, nga singa buba bwanjuluziddwa, busobola okumalako ebisaawe bina omuzannyirwa tenisi. . . . Obutofaali obuppya bukolebwa, ku muwendo gwa bukadde 3 buli katikitiki.”
17 Ku bikwata ku butofaali obweru obw’omu musaayi, ekitundu ekirala eky’entegeka y’omusaayi ey’enjawulo ennyo, ekitabo kye kimu kino kitubuulira nti: “Yadde nga waliwo ekika kimu kyokka eky’akatofaali akamyufu, obutofaali obweru obw’omu musaayi buba bwa ngeri nnyingi ez’enjawulo, nga buli kika kisobola okulwana mu ngeri ya njawulo entalo ezirwanibwa mu mubiri. Ng’ekyokulabirako, ekika ekimu kizikiriza obutofaali obuba bufudde. Ebika ebirala bikola ebyo ebirwanyisa vayirasi, biggyamu obutwa obuli mu ebyo ebiyingidde mu mubiri, oba birya bulyi n’okumementulira ddala bakiteriya.”
18 Nga ntegeka ya kyewuunyo era ey’ekika ekya waggulu! Mazima ddala ekintu kyonna ekitegeke obulungi bwe kityo ate nga kya bukuumi ng’obwo kiteekwa okuba nga kirina omutegesi ow’amagezi ennyo ate afaayo nnyo—Katonda.
Ebyewuunyo Ebirala
19. Eriiso ligeraageranyizibwa litya n’ebyuma ebikoleddwa abantu?
19 Waliwo ebyewuunyo ebirala bingi nnyo mu mubiri gw’omuntu. Ekimu ku byo lye liiso, eryakolebwa mu ngeri ey’ekitalo ennyo ne kiba nti tewali kamera eyinza kulifaanana. Omukugu mu by’emmunyeenye Robert Jastrow yagamba: “Eriiso lirabika okuba nga lyakolebwa; tewali mukozi wa galubindi yandisobodde kukola ekisingako awo obulungi.” Era ekitabo Popular Photography kigamba: “Amaaso ag’abantu galaba kalonda w’ebintu mungi okusinga firimu. Galaba enjuyi ssatu ez’ekintu, ku bugazi obw’amaanyi ddala, awatali kukikyusa ndabika yaakyo, ng’ate kitambula . . . Okugeraageranya kamera n’eriiso ly’omuntu tekuba kugeraageranya kutuufu. Eriiso ly’omuntu liringa kompyuta ey’ekika ekya waggulu ennyo erina ekyefaananyiriza ku magezi, obusobozi bw’okukozesamu amawulire, sipiidi, era n’enkola esukkiridde ekintu kyonna omuntu kye yali akoze, kompyuta oba kamera.”
20. Ebimu ku birala eby’ekyewuunyo ebiri ku mubiri gw’omuntu bye biruwa?
20 Lowooza, ate, ku ngeri ebitundu by’omubiri byonna gye bikolaganamu n’amaanyi gaffe ag’okukola. Ng’ekyokulabirako, tuteeka mu mbuto zaffe ebika by’emmere n’eby’okunywa bingi nnyo, kyokka omubiri gubirongoosa ne gufunamu amaanyi. Gezaako okuteeka ebintu ng’ebyo eby’enjawulo mu tanka y’emmotoka ey’amafuta olabe ng’eneetambulako! Ate waliwo ekyamagero eky’okuzaala, okuzaala omwana ayagalwa—afaanana ne bazadde be—mu myezi mwenda gyokka. Ate, bwo, obusobozi bw’omwana ow’emyaka emitono ennyo okuyiga okwogera olulimi oluzibu?
21. Nga bafumiitiriza ku by’ekyewuunyo ebiri ku mubiri, abantu abalowooza bagamba ki?
21 Yee, ebitonde ebingi ennyo, eby’ekyewuunyo ebizibu okukola ebiri mu mubiri gw’omuntu bituwuniikiriza. Tewali yinginiya yandisobodde kukola bintu ebyo. Byandisobodde bitya okuba omulimu ogwekola gwokka mu butanwa? Ddala nedda. Wabula, bwe balowooza ku by’ekitalo byonna ebiri mu mubiri gw’omuntu, abantu abategeera bagamba, ng’omuwandiisi wa zabbuli: “Naakwebazanga [Katonda]; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo.”—Zabbuli 139:14.
Omuzimbi Asingiridde Obukulu
22, 23. (a) Lwaki tusaanidde okukkiriza okubeerawo kw’Omutonzi? (b) Nga ntuufu ddala, kiki Baibuli ky’eyogera ku Katonda?
22 Baibuli egamba nti: “Buli nnyumba ezimbibwa muntu, kyo kikakafu; naye Katonda ye yazimba buli kintu kyonna ekiriwo.” (Abebbulaniya 3:4, The Jerusalem Bible) Okuva ennyumba yonna, k’ebeere nnyangu etya, bw’eteekwa okuba ng’erina eyagizimba, olwo n’obutonde bwonna obusingawo ennyo okuba obuzibu, awamu n’ebika by’obulamu ebingi ennyo ebiri ku nsi, nabyo biteekwa okuba nga birina eyabikola. Era okuva bwe tukikkiriza nga waliwo abantu abaakola ebintu ng’ennyonyi, ttivi, ne zikompyuta, era tetwandikikkirizza nga waliwo Oyo eyawa abantu obwongo okukola ebintu ng’ebyo?
23 Baibuli ekikkiriza, n’emuyita “Katonda [ow’amazima] Mukama [“Yakuwa,” NW ], eyatonda eggulu n’alibamba; eyayanjuluza ensi n’ebyo ebigivaamu; awa omukka abantu abagiriko.” (Isaaya 42:5) Nga ntuufu, Baibuli n’erangirira nti: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe [“Yakuwa,” NW ], Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.”—Okubikkulirwa 4:11.
24. Tuyinza tutya okumanya nga Katonda gyali?
24 Yee, tuyinza okumanya nga Katonda gyali okusinziira ku bintu by’akoze. “Kubanga ebibye Abaruumi 1:20.
[Katonda] ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde [Katonda bye yakola].”—25, 26. Lwaki ekintu okukozesebwa obubi tebeera nsonga kugamba nti tekirina yakikola?
25 Okuba nti ekintu kikozeseddwa bubi tekitegeeza nti tekirina yakikola. Ennyonyi esobola okukozesebwa ku lw’ebigendererwa eby’emirembe, ng’ennyonyi y’abasaabaze. Naye era esobola okukozesebwa okuzikiriza, ng’ennyonyi ensuuzi ya bbomu. Okuba ng’ekozesebwa mu ngeri ey’akabi eri obulamu tekitegeeza nti terina yagikola.
26 Mu ngeri y’emu, okuba nti abantu emirundi mingi ddala bafuuse babi tekitegeeza nti tebalina Eyabakola, nti teri Katonda. N’olwekyo, Baibuli eyogera butuufu nti: “Muvuunikira ddala ebintu. Omubumbi balimwenkanya ebbumba; ekintu ekikolebwa n’okwogera ne kyogera ku oyo eyakikola nti Teyankola; oba ekintu ekibumbibwa ne kyogera ku oyo eyakibumba nti Talina magezi?”—Isaaya 29:16.
27. Lwaki tuyinza okusuubira Katonda okuddamu ebibuuzo byaffe ebikwata ku kubonaabona?
27 Omutonzi alaze amagezi ge mu buzibu obuliwo mu kukolebwa kw’ebyo bye yakola. Alaze nti ddala atufaako ng’akola ensi mu ngeri esaanira okugibeerako, ng’akola emibiri gyaffe n’ebirowoozo byaffe mu ngeri ey’ekitalo bw’etyo, era ng’akola ebintu bingi nnyo bye tuyinza okunyumirwa. Ddala ddala yandiraze amagezi ge gamu ng’awa eby’okuddamu mu bibuuzo nga bino: Lwaki Katonda akkirizza okubonaabona? Kiki ky’anaakola ku kyo?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ensi, awamu n’ebbanga erigyetoolodde erigikuuma, maka ga njawulo nnyo agaatutegekerwa Katonda afaayo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ensi yakolebwa mu ngeri ey’okufaayo okw’okwagala tusobole okunyumirwa obulamu mu bujjuvu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
‘Obwongo bumu bulimu entabiro nnyingi nnyo okusinga ezo eziri mu ntegeka ey’eby’empuliziganya byonna eby’oku Nsi.’
—Munnabayoloje ow’obusirikitu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
“Eriiso lirabika okuba nga lyakolebwa; tewali mukozi wa galubindi yandisobodde kukola ekisingako awo obulungi.”—Omukugu mu by’emmunyeenye