Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuggibwa mu musaayi?
Ekitundu kino wammanga kyaddamu okukubibwa okuva mu kitundu ekyali mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2000.
Eky’okuddamu kiri nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kuteekebwako musaayi. Tukkiriza nti etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi teririna kukyusibwa okusobola okutuukana n’endowooza z’abantu ezikyukakyuka. Kyokka waliwo ebibuuzo ebijjawo, kubanga omusaayi kati gusobola okwawulibwamu ebitundu bina ebikulu n’obutundutundu obulala obuva bitundu ebyo ebina ebikulu. Omukristaayo okusobola okusalawo obanga anakkiriza obujjanjabi obumu, teyandikomye ku kulowooza ku miganyulo oba akabi akayinza okuba mu bujjanjabi obwo byokka. Wabula yandisinze kufaayo ku ekyo Bayibuli ky’egamba era ne ku nkolagana ye ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.
Ensonga enkulu nnyangu okutegeera. Okusobola okulaba lwaki kiri bwe kityo, weetegereze ebintu ebimu ebyogerwako mu Bayibuli, ebyafaayo, n’abasawo bye bagamba.
Yakuwa Katonda yagamba Nuuwa nti omusaayi guteekwa okutwalibwa ng’ekintu eky’omuwendo. (Olubereberye 9:3, 4) Oluvannyuma, amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri nago gaalaga nti omusaayi mutukuvu. Katonda yabagamba nti: “Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri oba omugwira yenna abeera mu mmwe bw’anaalyanga ku musaayi ogw’engeri yonna, nja kumwesamba era nja kumutta.” (Eby’Abaleevi 17:10) Oluvannyuma, mu lukuŋŋaana olwali mu Yerusaalemi, abatume n’abakadde baalagira nti tuteekwa ‘okwewala omusaayi.’ Okukola ekyo kikulu nnyo ng’okwewala obwenzi n’okusinza ebifaananyi.—Ebikolwa 15:28, 29.
‘Okwewala’ omusaayi kyali kitegeeza ki mu kiseera ekyo? Abakristaayo tebaalyanga musaayi gwa ngeri yonna; era tebaalyanga nnyama ya nsolo etaggiddwamu musaayi. N’ebirala ebitaaliibwanga mwe mwali emmere eteekeddwamu omusaayi, gamba nga kaffecce. Okulya omusaayi mu ngeri ezo kwandibadde kumenya tteeka lya Katonda.—1 Samwiri 14:32, 33.
Abantu abasinga obungi mu biseera eby’edda tebaakitwalanga nti okulya omusaayi kibi, nga bwe kiragibwa mu biwandiiko bya Tertullian (eyaliwo mu kyasa eky’okubiri n’eky’okusatu E.E.) Ng’ayanukula eby’obulimba ebyayogerwa nti Abakristaayo baalyanga omusaayi, Tertullian yayogera ku mawanga agattanga omukago nga gakomba ku musaayi. Era yagamba nti “emizannyo bwe gyabangawo mu bisaawe by’emizannyo, [abamu] baatwalanga omusaayi gw’abo abaabanga abamenyi b’amateeka . . . okubawonya ensimbu.”
Ebintu ebyo (wadde ng’Abaruumi abamu baabikolanga olw’okufuna obujjanjabi), Abakristaayo baali tebasobola kubikola. Tertullian yawandiika nti: “Tetulya musaayi gwonna, ka gube ogw’ensolo.” Abaruumi baakozesanga emmere omwabanga omusaayi okugezesa Abakristaayo okulaba obanga baali banyweredde ku ebyo bye baali bakkiriza. Tertullian yagattako nti: “Bwe muba nga muli bakakafu [nti Abakristaayo] beenyinyalanga omusaayi gw’ensolo, lwaki mulowooza nti bayinza okuba nga baalyanga omusaayi gw’abantu?”
Leero, abantu bangi balowooza nti okuteekebwako omusaayi tekimenya mateeka ga Katonda. Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa twagala okubeera abalamu, tuli bamalirivu okugondera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi. Kino kitegeeza ki bw’olowooza ku nzijanjaba eziriwo leero?
Enzijanjaba ey’okuteeka ku balwadde omusaayi bwe yeeyongera ennyo oluvannyuma lwa Ssematalo ow’okubiri, Abajulirwa ba Yakuwa baakiraba nti ekyo kyali kikontana n’etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi, era tukyalina endowooza y’emu. Naye ebiseera bwe bizze biyitawo, eby’obujjanjabi bikyuse nnyo. Leero, abantu bangi tebateekebwako musaayi mu bulambalamba, wabula ebitundu byagwo bino ebina ebikulu: (1) obutoffaali obumyufu; (2) obutoffaali obweru; (3) platelets; ne (4) plasma (serum), ekitundu eky’amazzi. Okusinziira ku mbeera y’omulwadde, abasawo bayinza okusalawo okumuwa obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, oba plasma. Okuteeka ku bantu ekimu ku bitundu bino ebikulu kisobozesa omusaayi okugabanyizibwamu gusobole okuweebwa abalwadde bangi. Abajulirwa ba Yakuwa bakitwala nti okukkiriza omusaayi mu bulambalamba oba ekimu ku bitundu ebyo ebina ebikulu, kimenya etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Mu butuufu, okunywerera ku nnyimirira eno eyeesigamiziddwa ku Bayibuli kibawonyezza ebizibu bingi, nga mw’otwalidde n’endwadde, gamba nga hepatitis ne siriimu.
Kyokka okuva omusaayi bwe guyinza okwawulibwamu okusukka ne ku bitundu ebyo ebina ebikulu, waliwo ekibuuzo ekirala ekijjawo. Obutundutundu obwo bukozesebwa butya, era Omukristaayo yandirowoozezza ku ki ng’asalawo ku bikwata ku butundutundu obwo?
Omusaayi gwakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa. N’ekitundu ky’omusaayi ekiyitibwa plasma, ekirina amazzi ebitundu 90 ku kikumi, kirimu hormones, inorganic salts, enzymes, n’ebiriisa ebirala gamba nga minerals ne sukaali. Mu plasma era mulimu ekiriisa ekiyitibwa albumin, ekiyamba omusaayi okukwata, era n’ebintu ebirwanyisa endwadde. Abasawo baawulamu ebintu ebyo ebiri mu plasma ne babikozesa okujjanjaba. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebiyamba omusaayi okukwata biweebwa abo abatera okuvaamu omusaayi. Oba singa kisuubirwa nti omuntu ayinza okufuna obulwadde obumu, abasawo bayinza okumukuba empiso za gamma globulin aba yaggibwa mu plasma w’abantu abatakwatibwa bulwadde obwo. Waliwo n’ebirala ebiggibwa mu plasma ebikozesebwa mu bujjanjabi. Naye ebyogeddwako waggulu biraga engeri plasma, ekimu ku bitundu ebina ebikola omusaayi, gye kiyinza okwawulibwamu obutundutundu obulala. *
Nga plasma bw’ayinza okwawulibwamu obutundutundu obutali bumu, n’ebitundu ebirala ebikulu ebikola omusaayi (obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, ne platelets), nabyo biyinza okwawulibwamu obutundutundu obulala. Ng’ekyokulabirako, obutoffaali obweru buyinza okukolebwamu eddagala erikozesebwa okujjanjaba kookolo n’endwadde endala. Platelets ziyinza okukolebwamu eddagala eriwonya ebiwundu. Era abasawo bakyeyongera okuvumbula eddagala eddala eririmu obutundutundu obuba buggiddwa mu musaayi. Obujjanjabi ng’obwo tekuba kuteekebwamu bitundu bina ebikulu ebikola omusaayi, wabula buba butundutundu obuba buggiddwa mu bitundu ebyo ebina. Abakristaayo bandikkirizza obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obwo obuba buggiddwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi? Bayibuli teyogera butereevu ku nsonga eyo. N’olwekyo, buli Mukristaayo alina okwesalirawo ku lulwe ng’asinziira ku muntu we ow’omunda.
Abamu bayinza okugaana ekintu kyonna ekiggiddwa mu musaayi (wadde obutundutundu bwagwo obusobozesa omuntu okulwanyisa endwadde). Eyo ye ngeri bo gye baba bategeeramu ekiragiro kya Katonda ‘eky’okwewala omusaayi.’ Bayinza okugamba nti etteeka Katonda lye yawa Abayisirayiri liragira nti omusaayi gwonna oguggiddwa mu kisolo gulina ‘okuyiibwa ku ttaka.’ (Ekyamateeka 12:22-24) Lwaki ekyo kikulu? Okusobola okuteekateeka gamma globulin, ebiyamba omusaayi okukwata, n’ebirala, kyetaagisa okukuŋŋaanya omusaayi n’okugwawulamu. N’olwekyo, Abakristaayo abamu bayinza okugaana ebintu ng’ebyo, nga bwe bagaana okuteekebwamu omusaayi oba ekimu ku bitundu byagwo ebina ebikulu. Okusalawo kwe baba bakoze nga basinziira ku muntu waabwe ow’omunda kulina okussibwamu ekitiibwa.
Abakristaayo abalala bayinza okusalawo mu ngeri ya njawulo. Bakimanyi nti tebalina kukkiriza kussibwamu musaayi, obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, oba plasma. Kyokka bayinza okukkiriza omusawo okubajjanjaba ng’akozesa obutundutundu obuggiddwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi. Ne mu mbeera eyo, Abakristaayo bayinza okusalawo mu ngeri ya njawulo. Omukristaayo omu ayinza okukkiriza okukubibwa empisa ya gamma globulin, naye ayinza okukkiriza oba obutakkiriza kintu kyonna ekiggiddwa mu butoffaali obumyufu oba obutoffaali obweru. Kyokka, okutwalira awamu, kiki ekiyinza okuleetera Abakristaayo abamu okusalawo okukkiriza obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuba buggibwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi?
Ekitundu, “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyafulumira mu Watchtower eya Jjuuni 1, 1990, kyagamba nti obutundutundu bwa plasma buva mu musaayi gw’omukazi ali olubuto ne bugenda mu musaayi gw’omwana ali mu lubuto. Mu ngeri eyo, maama alina obutundutundu bw’awa omwana we obumuyamba okulwanyisa endwadde. Obutoffaali obumyufu obw’omwana ali mu lubuto bwe butuuka ku nkomerero y’obulamu bwabwo, obutundu bwabwo obutambuza omusaayi bwawulibwamu. Obumu ku butundu obwo bugenda mu maama ne bufulumizibwa mu mubiri. Abakristaayo abamu bayinza okugamba nti okuva obutundutundu bwe buva mu muntu omu okudda mu mulala mu butonde, bayinza okukkiriza obutundutundu obuba buggiddwa mu plasma oba mu butoffaali.
Okuva bwe kiri nti buli muntu yeesalirawo ku nsonga eyo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda, ekyo kitegeeza nti ensonga eyo si nkulu? Nedda. Nsonga nkulu nnyo. Kyokka, ebyogeddwako waggulu biraga nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriza kuteekebwako musaayi oba ebitundu byago ebina ebikulu. Bayibuli eragira Abakristaayo “okwewalanga ebintu ebiweereddwayo eri ebifaananyi, omusaayi, ebitugiddwa, n’ebikolwa eby’obugwenyufu.” (Ebikolwa 15:29) Kyokka bwe kituuka ku butundutundu obuba buggiddwa mu bitundu ebina ebikola omusaayi, buli Mukristaayo, oluvannyuma lw’okufumiitiriza awamu n’okusaba, alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda.
Abantu bangi beetegefu okukkiriza obujjanjabi bwonna obuba bubaweebwa, wadde ng’obujjanjabi obwo buba bumanyiddwa nti bwa bulabe, nga bwe kiri ku bintu ebiba biggibwa mu musaayi. Abakristaayo ab’amazima bafuba okubeera n’endowooza ennuŋŋamu bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku by’obujjanjabi. Abajulirwa ba Yakuwa basiima obujjanjabi obubaweebwa, era bafumiitiriza ku kabi n’emiganyulo egiri mu bujjanjabi obwo. Kyokka, bwe kituuka ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi, bafaayo nnyo ku ekyo Katonda ky’agamba n’enkolagana yaabwe n’oyo Eyatuwa Obulamu.—Zabbuli 36:9.
Kiba kirungi nnyo Omukristaayo okubeera ng’obw’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Yakuwa Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe; alaga ekisa era agaba ekitiibwa. Yakuwa talina kirungi kyonna ky’amma abo abatambulira mu bugolokofu. Ai Yakuwa . . . , alina essanyu oyo akwesiga.”—Zabbuli 84:11, 12.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 13 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjuuni 15, 1978, n’eya Okitobba 1, 1994. Kampuni z’eddagala zizudde ebintu ebitaggibwa mu musaayi, ebisobola okukozesebwa mu by’obujjanjabi mu kifo ky’obutundutundu obumu obuba buggiddwa mu musaayi obwakozesebwanga mu biseera ebyayita.
[Akasanduuko]
EBIBUUZO BY’OYINZA OKUBUUZA OMUSAWO
Bw’oba ow’okulongoosebwa oba ow’okuweebwa obujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi, buuza nti:
Abasawo bonna abagenda okunzijanjaba bakimanyi nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa, era sikkiriza kuteekebwako musaayi (oba obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, platelets, ne plasma) mu mbeera yonna?
Singa eddagala lyonna eriba ligenda okukuweebwa libaamu plasma, obutoffaali obumyufu, obutoffaali obweru, oba platelets, buuza nti:
Eddagala eryo lyakolebwa okuva mu kimu ku bitundu ebina ebikulu ebikola omusaayi? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okunnyonnyola ebiri mu ddagala eryo?
Eddagala lino eryaggibwa mu musaayi linaakozesebwa kwenkana wa, era mu ngeri ki?
Singa omuntu wange ow’omunda anzikiriza okukozesa eddagala eriba lyakolebwa okuva mu butundutundu obuna obukola omusaayi, kabi ki akayinza okuvaamu?
Singa omuntu wange ow’omunda tanzikiriza kukozesa ddagala eryo, bujjanjabi ki obulala obuyinza okukozesebwa?
Nga mmaze okulowooza ku nsonga ezo, ddi lwe nnyinza okubategeeza ekyo kye nsazeewo?