Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Bayibuli teyogera ku kuwanika magiraasi, naye lwali Abajulirwa ba Yakuwa tebawanika magiraasi?

Okuwanika amagiraasi omuli omwenge, kintu ekirudde nga kikolebwa, wadde nga kiyinza okuba nga kikolebwa mu ngeri za njawulo mu bitundu ebitali bimu. Ebiseera ebimu abo abawanika amagiraasi bagakoonaganya. Omuntu asoose okuwanika egiraasi ayinza okwagaliza omulala obulamu obulungi, essanyu, obuwangaazi, oba ekirala. Abalala bayinza okukkiriziganya naye nabo ne bawanika amagiraasi gaabwe era ne banywa omwenge okugalimu. Abantu bangi balowooza nti okuwanika amagiraasi tekiriimu buzibu bwonna. Naye waliwo ensonga ennungi lwaki Abajulirwa ba Yakuwa tebawanika magiraasi.

Tekitegeeza nti Abakristaayo tebaagaliza balala kuba basanyufu oba okuba obulungi. Mu bbaluwa akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka gye kaawandiikira ebibiina, kaafundikira n’ebigambo ebiyinza okuvvuunulwa nti “tubaagaliza obulamu obulungi,” oba “mubeere bulungi.” (Ebikolwa 15:29) Ate era abaweereza ba Katonda abamu baagamba bakabaka nti: “Mukama wange Kabaka . . . awangaale” oba “Kabaka awangaale.”​—1 Bassekabaka 1:31; Nekkemiya 2:3.

Naye akalombolombo k’okuwanika amagiraasi kaasibuka wa? Magazini ya Watchtower eya Jjanwali 1, 1968, yajuliza ebigambo ebiri mu Encyclopædia Britannica (1910), Omuzingo 13, olupapula 121, awagamba nti: “Akalombolombo k’okuwanika amagiraasi okwagaliza abalala ‘obulamu’ obulungi, kaasibuka mu madiini ag’edda omwali abantu abaanywanga omwenge ng’akalombolombo ak’okuwaayo omwenge eri bakatonda n’eri abafu. Abayonaani n’Abaruumi bwe baabanga ku bijjulo baafukanga omwenge wansi nga baguwaayo eri bakatonda baabwe, era bwe baabanga ku mikolo baanywanga omwenge era baawanikanga amagiraasi okugulumiza bakatonda baabwe era n’abafu.” Ekitabo Encyclopædia Britannica kigattako nti: “Ate era bwe baabanga ku mikolo egyo bayinza okuba nga baanywanga omwenge, era ne baagaliza abalala obulamu obulungi.”

Ne leero abantu bakyagoberera obulombolombo obwo? Ekitabo ekiyitibwa International Handbook on Alcohol and Culture ekya 1995 kigamba nti: “Leero abantu bwe [bawanika amagiraasi], wadde nga baba tebakikola lwa nsonga za bya ddiini, okuwanika amagiraasi kyasibuka mu bulombolombo obw’edda obw’okuwaayo eby’okunywa, gamba ng’omwenge oba omusaayi eri bakatonda, nga babasaba basobole okuba mu ‘bulamu obulungi!’”

Eky’okuba nti ekintu kyakozesebwanga mu madiini ag’obulimba ag’edda, ku bwakyo tekikifuula kikyamu eri abo abasinza Katonda mu ngeri entuufu. Lowooza ku nkomamawanga. Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli kigamba nti: “Amadiini ag’obulimba ag’edda gaakozesanga enkomamawanga mu kusinza.” Wadde kyali kityo, Katonda yagamba Abayisirayiri okutonaatona ekyambalo kya kabona asinga obukulu n’obuntu obwali ng’enkomamawanga era n’empagi ez’ekikomo ezaali ku yeekaalu Sulemaani gye yazimba, nazo zaali zaatonebwatonebwa n’obuntu obulinga enkomamawanga. Okwambala empeta nakwo kuyinza okuba nga kwasibuka mu madiini ag’ekikaafiiri ag’edda. (Okuva 28:33; 2 Bassekabaka 25:17) Kyokka leero abantu bwe bambala empeta, ekyo si kye balowoozaako. Bagyambala ng’akabonero obubonero akalaga nti bafumbo.

Ate Bayibuli eyogera ki ku kukozesa omwenge mu kusinza? Ng’ekyokulabirako, abasajja b’e Sekemu abaali basinza katonda eyali ayitibwa Bbaali ‘baagenda mu nnyumba ya katonda waabwe ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki,’ eyali mutabani wa Gidiyoni. (Ekyabalamuzi 9:22-28) Olowooza omuweereza wa Yakuwa omwesigwa yali asobola okwegatta ku bantu abo n’anywa nabo omwenge era n’asaba Bbaali abonereze Abimereki? Kya lwatu nedda. Ng’ayogera ku kiseera Abayisirayiri abasinga obungi lwe baali bajeemedde Yakuwa, nnabbi Amosi yagamba nti: “Bagalamira ku mabbali ga buli kyoto ku ngoye ze baatwala ng’omusingo, era omwenge gwe banywera mu nnyumba za bakatonda baabwe.” (Amosi 2:8) Olowooza omuweereza wa Katonda ow’amazima yali asobola okwetaba mu kintu ng’ekyo, wadde ng’Abayisirayiri abo omwenge baaguyiwanga buyiyi wansi oba baagunywanga nga bawaayo ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba? (Yeremiya 7:18) Omuweereza wa Katonda ow’amazima yandiwanise giraasi ng’asaba Katonda awe omuntu omulala omukisa?

Kyo kituufu nti n’abaweereza ba Yakuwa baawanikanga emikono gyabwe waggulu nga basaba. Naye emikono gyabwe baagiwanikanga eri Katonda ow’amazima. Bayibuli egamba nti: ‘Sulemaani yayimirira mu maaso g’ekyoto kya Yakuwa n’agolola emikono gye eri eggulu, n’agamba nti: “Ai Yakuwa Katonda wa Isirayiri, waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi tewali Katonda alinga ggwe. Wuliranga ng’oyima mu kifo ky’obeeramu mu ggulu; wuliranga era osonyiwe.”’ (1 Bassekabaka 8:22, 23, 30) Mu ngeri y’emu, ‘Ezera yatendereza Yakuwa . . . abantu bonna ne baddamu nti “Amiina! Amiina!” era ne bawanika emikono gyabwe. Abantu ne bavunnamira Yakuwa obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka.’ (Nekkemiya 8:6; 1 Timoseewo 2:8) Kyeyoleka lwatu nti abaweereza ba Katonda abo abeesigwa baali tebawanika mikono gyabwe waggulu nga basaba Katonda ow’obulimba abawe emikisa.​—Isaaya 65:11.

Abantu bangi leero abawanika amagiraasi tebakirowoozaako nti baba basaba bakatonda ab’obulimba babawe emikisa, naye era tebasobola kunnyonnyola nsonga lwaki bawanika amagiraasi. Eky’okuba nti tebamanyi makulu g’ebyo bye bakola, tekitegeeza nti Abakristaayo ab’amazima basaanidde okukola nga bo.

Oyinza okuba ng’okimanyi nti waliwo ebintu ebirala abantu abalala bye bakola, naye ng’Abajulirwa ba Yakuwa tebabyenyigiramu. Ng’ekyokulabirako, abantu bangi bakubira bbendera saluti, oba bakola ebintu ebirala ebyoleka mwoyo gwa ggwanga, naye nga tebakimanyi nti ebyo biba bikolwa bya kusinza. Abakristaayo ab’amazima tebavumirira abo abakola ebintu ebyo, naye bo tebabyenyigiramu. Abajulirwa ba Yakuwa bwe bamanya ekifo n’ekiseera ebintu ebyo we bigenda okubeererawo, beewala okugendayo baleme okunyiiza abalala. Bwe kiba nti bateekeddwa okubaayo, beewala okukola ekintu kyonna ekikontana ne Bayibuli. (Okuva 20:4, 5; 1 Yokaana 5:21) Leero, okuwanika amagiraasi abantu bangi bayinza obutakitwala ng’ekirina akakwate n’okusinza. Naye tulabye nti waliwo ensonga ennungi lwaki Abakristaayo ab’amazima tebawanika magiraasi. Kubanga ekikolwa ekyo kyasibuka mu kusinza okw’edda okw’obulimba, era nga ne mu kiseera kino abo abakikola bayinza okutwalibwa ng’abasaba emikisa okuva eri bakatonda ab’obulimba.​—Okuva 23:2.