Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amataba Okutuuka ku Kununulibwa Okuva e Misiri

Amataba Okutuuka ku Kununulibwa Okuva e Misiri

EKITUNDU 2

Amataba Okutuuka ku Kununulibwa Okuva e Misiri

Abantu munaana bokka be baawonawo ku Mataba, naye oluvannyuma lw’ekiseera omuwendo gwabwe gweyongera ne bafuuka nkumi na nkumi. Nga wayiseewo emyaka 352 oluvannyuma lw’Amataba, Ibulayimu yazaalibwa. Tulaba engeri Katonda gye yakuumamu ekisuubizo kye ng’awa Ibulayimu omwana ow’obulenzi ayitibwa Isaaka. Ate oluvannyuma, ku batabani ba Isaaka ababiri, Yakobo ye yalondebwa Katonda.

Yakobo yalina amaka amanene agaalimu abaana ab’obulenzi 12 era n’abaana ab’obuwala. Batabani ba Yakobo 10 baakyawa muganda waabwe omuto Yusufu era ne bamutunda mu buddu e Misiri. Oluvannyuma, Yusufu yafuuka omukungu owa waggulu mu Misiri. Enjala ey’amaanyi bwe yagwa, Yusufu yagezesa baganda be alabe oba ng’emitima gyabwe gyali gikyuse. Oluvannyuma, ab’omu maka ga Yakobo bonna, Abaisiraeri, baasengukira e Misiri. Kino kyabaawo nga wayiseewo emyaka 290 oluvannyuma lwa Ibulayimu okuzaalibwa.

Emyaka 215 egyaddako Abaisiraeri baagimala mu Misiri. Oluvannyuma lwa Yusufu okufa, baafuuka baddu eyo. Nga wayiseewo ekiseera, Musa yazaalibwa, era Katonda yamukozesa okununula Abaisiraeri okuva e Misiri. Gyonna awamu, emyaka 857 egy’ebyafaayo gye gyogerwako mu Kitundu EKY’OKUBIRI.