Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaka Gagenda e Misiri

Amaka Gagenda e Misiri

OLUGERO 25

Amaka Gagenda e Misiri

YUSUFU takyayinza kuzibiikiriza nneewulira ye. Alagira abaweereza be bonna okufuluma ekisenge. Ng’asigadde yekka ne baganda be, Yusufu atandika okukaaba. Tuyinza okuteebereza engeri gye kyewuunyisaamu baganda be, kubanga tebamanyi lwaki akaaba. Oluvannyuma abagamba: ‘Nze Yusufu. Kitange akyali mulamu?’

Baganda be beewuunya nnyo ne balemwa n’okwogera. Batidde nnyo. Naye Yusufu abagamba: ‘Munsemberere.’ Bwe bamusemberera abagamba: ‘Nze muganda wammwe Yusufu gwe mwatunda e Misiri.’

Yusufu ayongera okwogera nabo mu ngeri ey’ekisa: ‘Temwevunaana kubanga mwantunda eno. Mazima ddala Katonda ye yansindika e Misiri okuwonya obulamu bw’abantu. Falaawo anfudde omufuzi w’eggwanga lyonna. N’olwekyo, mwanguwe muddeeyo eri kitange mu bimutegeeze bino. Era mumugambe ajje abeere eno.’

Awo Yusufu n’awambaatira baganda be, n’abagwa mu bifuba era n’abanywegera bonna. Falaawo bw’awulira nti baganda ba Yusufu bazze, agamba Yusufu: ‘Leka batwale amagaali banone kitaabwe era n’ab’omu maka gaabwe bakomewo eno. Nja kubawa ekitundu ekisingayo obugimu mu Misiri.’

Era ekyo kye baakola. Wano osobola okulaba Yusufu ng’asisinkana kitaawe bwe yajja e Misiri n’ab’omu maka ge bonna.

Amaka ga Yakobo gaali gafuuse manene nnyo. Bonna awamu baali 70 bwe baasengukira e Misiri, ng’obaze Yakobo n’abaana be era n’abazzukulu. Naye mwalimu n’abakyala, oboolyawo n’abaddu bangi. Bano bonna bakkalira mu Misiri. Baali bayitibwa Baisiraeri, kubanga Katonda yali akyusizza erinnya lya Yakobo okuba Isiraeri. Abaisiraeri baafuuka abantu ba Katonda ab’enjawulo, nga bwe tujja okulaba mu maaso.

Olubereberye 45:1-28; 46:1-27.

Ebibuuzo