Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baganda ba Yusufu Bamukyawa

Baganda ba Yusufu Bamukyawa

OLUGERO 21

Baganda ba Yusufu Bamukyawa

LABA omulenzi oyo bw’ali omunakuwavu ennyo. Ye Yusufu. Baganda be baakamutunda eri abasajja bano abagenda e Misiri. Eyo Yusufu bajja kumufuula muddu. Lwaki baganda be bakoze ekintu kino ekibi? Olw’okuba baakwatirwa Yusufu obuggya.

Taata waabwe Yakobo yali ayagala nnyo Yusufu. Yalaga nti amwagala bwe yamutungisiza ekizibaawo ekiwanvu ekirabika obulungi. Baganda be abakulu 10 bwe baalaba engeri Yakobo gye yali ayagalamu ennyo Yusufu, baakwatibwa obuggya era ne bakyawa Yusufu. Naye era waaliwo ensonga endala lwaki baamukyawa.

Yusufu yaloota ebirooto bibiri. Mu birooto bya Yusufu byombi baganda be baamuvvunamira. Yusufu bwe yabuulira baganda be ebirooto ebyo, beeyongera okumukyawa.

Lumu nga baganda ba Yusufu abakulu balunda endiga za kitaabwe, Yakobo asaba Yusufu agende alabe bwe bali. Baganda ba Yusufu bwe bamulengera ng’ajja, abamu bagamba: ‘Tumutte!’ Naye, Lewu­beeni mukulu waabwe, agamba: ‘Nedda, ekyo temukikola!’ Mu kifo ky’ekyo bakwata Yusufu ne bamusuula mu kinnya ekyakalira amazzi. Awo ne batuula okusalawo eky’okumukola.

Mu kiseera ekyo waaliwo abasajja Abaisimaeri abaali bayitawo. Yuda agamba baganda be: ‘Tumuguze Abaisimaeri.’ Era ekyo kye bakola. Batunda Yusufu ebitundu bya ffeeza 20. Nga kyali kikolwa kya ttima era eky’obukyayi!

Baganda be banaagamba ki taata waabwe? Batta embuzi ne bannyika ekizibaawo kya Yusufu ekifaanana obulungi mu musaayi gwayo emirundi egiwerako. Awo ne batwala ekizibaawo ewa kitaabwe Yakobo ne bagamba: ‘Kino kye twasanze. Kyetegereze, olabe oba si kye kizibaawo kya Yusufu.’

Yakobo akiraba nga ky’ekyo. ‘Ensolo y’omu nsiko eteekwa okuba nga yasse Yusufu,’ n’akaaba. Era ekyo kyennyini baganda ba Yusufu kye baagala kitaabwe alowooze. Yakobo anakuwala nnyo. Akaaba okumala ennaku nnyingi. Naye Yusufu si mufu. Ka tulabe ekimutuukako eyo gye bamutwala.

Olubereberye 37:1-35.

Ebibuuzo