Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibonyoobonyo 10

Ebibonyoobonyo 10

OLUGERO 32

Ebibonyoobonyo 10

TUNUULIRA ebifaananyi. Buli kimu kiraga ekibonyoobonyo Yakuwa kye yaleetera Misiri. Mu kifaananyi ekisooka olaba Alooni ng’akuba mu Mugga Nile omuggo. Bwe yakikola, amazzi agali mu mugga ne gafuuka omusaayi. Ebyennyanja byafa, era omugga ne gutandika okuwunya.

Ekyaddako, Yakuwa yaleetera ebikere okuva mu Mugga Nile. Byali buli wonna—mu byoto, mu ntamu, mu bitanda by’abantu—buli wonna. Ebikere bwe byafa, Abamisiri baabikuŋŋaanya mu ntuumu ennene, era ensi n’ewunya nnyo olwa byo.

Awo ate Alooni n’akuba ku ttaka n’omuggo gwe, enfuufu n’efuuka enkukunyi. Buno buwuka obutono obubuuka era obuluma. Enkukunyi kye kyali ekibonyoobonyo eky’okusatu ku nsi y’e Misiri.

Ebibonyoobonyo ebyaddako byalumya Bamisiri bokka, so si Baisiraeri. Eky’okuna, kyali kibonyoobonyo eky’agasowera aganene egajjula mu mayumba g’Abamisiri bonna. Ekibonyoobonyo eky’okutaano kyakosa bisolo. Ente n’endiga era n’embuzi eby’Abamisiri bingi byafa.

Ekyaddako, Musa ne Alooni batwala evvu ne balimansira mu bbanga. Lyaleetera abantu n’ebisolo okufuna amayute amabi ennyo. Kino kye kyali ekibonyoobonyo eky’omukaaga.

Oluvannyuma lw’ekyo, Musa n’agolola omukono gwe ng’agwolekeza eggulu, era Yakuwa n’aleeta okubwatuka n’omuzira. Ono ye yali kibuyaga n’omuzira ebisingirayo ddala obubi Misiri bye yali efunye.

Ekibonyoobonyo eky’omunaana kyali ekibinja ekinene ennyo eky’enzige. Waali tewabangawo nzige nnyingi bwe zityo era teziddangamu kubaawo. Zaalya buli kamu omuzira ke gutaayonoona.

Ekibonyoobonyo eky’omwenda kyali kizikiza. Okumala ennaku ssatu ekizikiza eky’amaanyi kyakwata wonna mu nsi eyo, naye Abaisiraeri bo baalina ekitangaala gye baali babeera.

Mu nkomerero, Katonda yagamba abantu be okumansira omusaayi gw’akabuzi oba ogw’akaliga ku mifuubeeto gy’ennyumba zaabwe. Awo malayika wa Katonda n’ayita mu Misiri. Malayika bwe yalabanga omusaayi, tewali gwe yattanga mu nnyumba eyo. Naye mu nnyumba okutaali musaayi ku mifuubeeto, malayika wa Katonda yattanga buli kibereberye eky’abantu n’ensolo. Kino kye kyali ekibonyoobonyo 10.

Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo kino ekyasembayo, Falaawo yagamba Abaisiraeri okugenda. Abantu ba Katonda bonna baali beetegefu okugenda, era mu kiro ekyo kyennyini baatandika okuva mu Misiri.

Okuva essuula 7 okutuuka ku 12.

Ebibuuzo