Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ibulayimu—Mukwano gwa Katonda

Ibulayimu—Mukwano gwa Katonda

OLUGERO 13

Ibulayimu—Mukwano gwa Katonda

EKIMU ku bifo abantu gye baagenda okubeera oluvannyuma lw’Amataba kyali kiyitibwa Uli. Kyafuuka kibuga kikulu ekirimu amayumba amalungi. Naye abantu abaali bakibeeramu baasinzanga bakatonda ab’obulimba. Era bwe batyo bwe baakolanga mu Baberi. Abantu b’omu Uli ne Baberi tebaali nga Nuuwa ne mutabani we Seemu, abeeyongera okuweereza Yakuwa.

Oluvannyuma, nga wayiseewo emyaka 350 okuva ku mataba, Nuuwa omwesigwa yafa. Emyaka ebiri oluvannyuma lw’ekyo omusajja gw’olaba mu kifaananyi kino y’azaalibwa. Yali muntu wa njawulo nnyo eri Katonda. Erinnya lye lyali Ibulayimu. Yabeeranga n’ab’omu maka ge mu kibuga ekyo ekya Uli.

Lumu Yakuwa yagamba Ibulayimu: ‘Va mu Uli era leka ab’eŋŋanda zo, ogende mu nsi gye nnaakulaga.’ Ibulayimu yagondera Katonda n’aleka ebintu byonna ebirungi eby’omu Uli? Yee, yamugondera. Ibulayimu yamanyibwa nga mukwano gwa Katonda olw’okuba yagonderanga Katonda.

Abamu ku b’omu maka ga Ibulayimu baagenda naye bwe yava mu Uli. Taata we, Teera, yagenda naye. Era ne Lutti, omwana wa muganda we. Era, ne Saala mukyala wa Ibulayimu yagenda naye. Oluvannyuma lw’ekiseera, bonna baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kalani, Teera gye yafiira. Baali wala nnyo okuva e Uli.

Oluvannyuma lw’ekiseera Ibulayimu n’ab’omu nnyumba ye baava e Kalani ne bagenda mu nsi eyitibwa Kanani. Eyo Yakuwa yagamba: ‘Eno ye nsi gye ndiwa abaana bo.’ Ibulayimu yabeera mu Kanani era ng’asula mu weema.

Katonda yatandika okuyamba Ibulayimu n’afuna ebisibo by’endiga ebinene era n’ensolo endala, awamu n’ebikumi n’ebikumi by’abaddu. Naye ye ne Saala tebaalina mwana n’omu owaabwe ku bwabwe.

Ibulayimu bwe yali aweza emyaka 99, Yakuwa yamugamba: ‘Nkusuubiza nti oliba taata w’amawanga mangi ag’abantu.’ Naye, kino kyandisobose kitya okuva Ibulayimu ne Saala bwe baali bakaddiye ennyo okusobola okuzaala omwana?

Olubereberye 11:27-32; 12:1-7; 17:1-8, 15-17 Olubereberye 18:9-19.

Ebibuuzo