Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musa ne Alooni Balaba Falaawo

Musa ne Alooni Balaba Falaawo

OLUGERO 31

Musa ne Alooni Balaba Falaawo

MUSA bwe yaddayo e Misiri, yabuulira muganda we Alooni byonna ebikwata ku byamagero ebyo. Era Musa ne Alooni bwe baalaga Abaisiraeri eby’amagero bino, abantu bonna bakkiriza nti Yakuwa yali wamu nabo.

Awo Musa ne Alooni ne bagenda okulaba Falaawo. Ne bamugamba: ‘Yakuwa Katonda wa Isiraeri agamba, “Leka abantu bange bagende okumala ennaku ssatu, bansinze mu ddungu.”’ Naye Falaawo yaddamu: ‘Sikkiririza mu Yakuwa. Era sigenda kuleka Isiraeri kugenda.’

Falaawo yasunguwala, kubanga abantu baali baagala baweebwe ekiseera okuva ku mirimu gyabwe bagende okusinza Yakuwa. N’olwekyo, yabakaka okukola ennyo n’okusingawo. Abaisiraeri baanenya Musa olw’engeri embi ennyo gye baali bayisibwamu, era Musa n’anakuwala. Naye Yakuwa yamugamba aleme kweraliikirira. ‘Nja kuwaliriza Falaawo okuleka abantu bange bagende,’ bw’atyo Yakuwa bwe yagamba.

Musa ne Alooni baddayo okulaba Falaawo. Ku mulundi guno baakola eky’amagero. Alooni yasuula wansi omuggo gwe, era ne gufuuka omusota omunene. Naye abasajja ba Falaawo abagezigezi nabo ne basuula wansi emiggo, nagyo ne gifuuka emisota. Naye laba! Omusota gwa Alooni gulya emisota gy’abasajja abagezigezi. Wadde kiri kityo Falaawo agaana okukkiriza Abaisiraeri okugenda.

N’olwekyo, ekiseera kyatuuka Yakuwa okuyigiriza Falaawo essomo. Omanyi engeri gye yakikolamu? Ng’aleeta ebibonyoobonyo 10, oba okubonaabona okw’amaanyi ku Misiri.

Oluvannyuma lw’ebibonyoobonyo ebiwerako, Falaawo yatumya Musa, n’agamba: ‘Komya ekibonyoobonyo, nange nnaaleka Isiraeri okugenda.’ Naye ekibonyoobonyo bwe kyakomanga, Falaawo nga yeekyusa. Abantu nga tabaleka kugenda. Naye, mu nkomerero, oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekya 10, Falaawo yaleka Abaisiraeri okugenda.

Buli kimu ku bibonyoobonyo ebyo 10 okimanyi? Bikkula olupapula oluddako tubiyigeko.

Okuva 4:27-31; 5:1-23; 6:1-13, 26-30; 7:1-13.

Ebibuuzo