Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Musoke Eyasooka

Musoke Eyasooka

OLUGERO 11

Musoke Eyasooka

OMANYI ekintu Nuuwa kye yasooka okukola ye n’ab’omu maka ge bwe baafuluma mu lyato? Yawaayo ekiweebwayo oba ekirabo eri Katonda. Oyinza okumulaba ng’akikola mu kifaananyi ekyo ekiri wansi. Nuuwa yawaayo ekirabo kino eky’ebisolo okwebaza Katonda olw’okuwonya ab’omu maka ge mu mataba ag’amanyi.

Olowooza Yakuwa yasiima ekirabo ekyo? Yee, yakisiima. Era n’asuubiza Nuuwa nti taliddamu kuzikiriza nsi ng’akozesa amataba.

Mu kiseera kitono amazzi gaali gakalidde okuva ku nsi, era Nuuwa n’ab’omu maka ge baatandika obulamu obuppya ebweru w’eryato. Katonda yabawa omukisa era n’abagamba: ‘Muli­na okuzaala abaana bangi. Mulina okweyongera obungi okutuusa abantu lwe banaabuna ensi yonna.’

Naye oluvannyuma, abantu bwe bandiwulidde ku mataba ag’amaanyi, oboolyawo banditidde nga balowooza nti amataba ng’ago gayinza okuddamu. Bwe kityo, Katonda yateekawo ekintu ekyandijjukizza abantu ekisuubizo kye eky’obutaddamu kuleeta mataba ku nsi yonna. Omanyi kye yateekawo okubajjukiza? Yali musoke.

Musoke atera okulabibwa ku ggulu akasana bwe kaaka ng’enkuba emaze okutonnya. Musoke alina langi nnyingi ezirabika obulungi ennyo. Wali omulabyeko? Ali mu kifaananyi omulaba?

Katonda bw’ati bwe yayogera: ‘Nsuubiza nti tekiribaawo nate abantu bonna n’ebisolo okuzikirizibwa amataba. Nteeka musoke wange ku bire. Era musoke bw’anaalabikanga, nange nnaamulaba era ne nzijukira ekisuubizo kyange.’

N’olwekyo, bw’olaba musoke, yandikujjukizza ki? Yee, ekisuubizo kya Katonda nti taliddamu kuzikiriza nsi n’amataba.

Olubereberye 8:18-22; 9:9-17.

Ebibuuzo