Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baibuli by’Eragula Bituukirira

Baibuli by’Eragula Bituukirira

Ekitundu 8

Baibuli by’Eragula Bituukirira

Baibuli tekoma ku kutegeeza bya mazima ebyaliwo mu biseera ebyayita naye era etegeeza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Abantu tebasobola kutegeeza biri mu biseera eby’omu mu maaso. Eyo ye nsonga lwaki tumanyi nti Baibuli yava wa Katonda. Kiki Baibuli ky’eyogera ku biseera eby’omu maaso?

Eyogera ku lutalo olukulu olwa Katonda. Mu lutalo luno Katonda ajja kuggyawo obubi bwonna ku nsi era n’abantu ababi, naye ajja kukuuma abo abamuweereza. Kabaka wa Katonda, Yesu Kristo, ajja kukakasa nti abaweereza ba Katonda bafuna emirembe n’essanyu, era nti tebaddamu kulwala wadde okufa.

Tuyinza okuba abasanyufu nti Katonda ajja kussaawo olusuku oluppya ku nsi, si bwe kiri? Naye tulina kye tuteekwa okukola bwe tuba ab’okubeera mu lusuku lwa Katonda luno. Mu lugero oluse­mbayo mu kitabo kino tuyiga kye tuteekwa okukola okusobola okunyumirwa ebintu eby’ekitalo Katonda by’ategekedde abo abamuweereza. N’olwekyo, soma EKITUNDU 8 ozuule Baibuli ky’eragula ku biseera eby’omu maaso.