Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abalenzi Babiri Abalamuka Nate

Abalenzi Babiri Abalamuka Nate

OLUGERO 68

Abalenzi Babiri Abalamuka Nate

SINGA ofa, maama wo yandiwulidde atya ng’okomezeddwawo mu bulamu? Yandibadde musanyufu nnyo! Naye omuntu afudde ayinza okuba omulamu nate? Kyali kibaddewo?

Tunuulira omusajja ono ali wano, era n’omukazi oyo n’omulenzi omuto. Omusajja oyo ye nnabbi Eriya. Omukazi ono nnamwandu ow’omu kibuga kye Zalefaasi, ate omulenzi oyo mutabani we. Lumu omulenzi alwala. Yeeyongera okuba obubi ennyo okutuusa bw’afa. Awo Eriya agamba omukazi: ‘Omulenzi mumpe.’

Eriya atwala omwana afudde mu kisenge ekya waggulu era n’amuteeka ku kitanda. Awo asaba: ‘Ai Yakuwa, fuula omwana omulamu nate.’ Era omwana atandika okussa! Oluvannyuma lw’ekyo Eriya amuzzaayo wansi n’agamba omukazi: ‘Laba, mutabani wo mulamu!’ Eno y’ensonga lwaki maama we musanyufu nnyo.

Nnabbi wa Yakuwa omulala omukulu ayitibwa Erisa. Ayambako Eriya. Ekiseera bwe kiyitawo Yakuwa akozesa n’Erisa eby’amagero. Lumu Erisa agenda mu kibuga ky’e Sunemu, omukazi omu gy’amulagira ekisa ekingi. Oluvannyuma, omukazi ono azaala omwana ow’obulenzi.

Lumu ku makya, ng’omwana akuze, agenda kitaawe gy’akolera mu nnimiro. Amangu ago omulenzi agamba: ‘Omutwe gunnuma!’ Oluvannyuma lw’okutwalibwa eka, omulenzi afa. Maama we nga munakuwavu nnyo! Amangu ago agenda n’ayita Erisa.

Erisa bw’atuuka, agenda mu kisenge omuli omwana afudde. Asaba Yakuwa, era n’agalamira ku mwana afudde. Ddaaki omubiri gw’omwana gutandika okubuguma, era n’ayasimula emirundi musanvu. Nga maama we asanyuka nnyo bw’ayingira mu kisenge n’asanga ng’omwana we mulamu!

Abantu bangi nnyo bafudde. Kino kinakuwaza nnyo ab’omu maka gaabwe ne mikwano gyabwe. Tetulina buyinza kuzuukiza bafu. Naye Yakuwa abulina. Oluvannyuma tujja kuyiga engeri gy’ajja okukomyawo obukadde n’obukadde bw’abantu mu bulamu.

1 Bassekabaka 17:8-24; 2 Bassekabaka 4:8-37.

Ebibuuzo