Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Dawudi Afuulibwa Kabaka

Dawudi Afuulibwa Kabaka

OLUGERO 61

Dawudi Afuulibwa Kabaka

SAWULO era agezaako okukwata Dawudi. Atwala abaserikale be 3,000 abasingayo obulungi n’agenda okunoonya Dawudi. Dawudi bw’akitegeera, atuma abakessi okuzuula wa Sawulo n’abasajja be we basiisidde ekiro. Dawudi abuuza abasajja be babiri: ‘Ani ku mmwe anaagenda nange mu lusiisira lwa Sawulo?’

‘Nze,’ Abisaayi addamu. Abisaayi ye mutabani wa mwannyina wa Dawudi ayitibwa Zeruyiya. Sawulo n’abasajja be bwe baali beebase, Dawudi ne Abisaayi basooba mpolampola ne bayingira mu lusiisira. Baggyawo effumu lya Sawulo n’ensumbi ye ey’amazzi, ebiri ddala ku mutwe gwa Sawulo. Tewali n’omu abalaba wadde okubawulira kubanga bonna bali mu tulo.

Kati laba Dawudi ne Abisaayi. Bavuddeyo, era kati bali ku lusozi waggulu. Dawudi ayogerera waggulu ng’ayita omukulu w’eggye lya Isiraeri: ‘Abuneeri, lwaki tokuuma mukama wo, kabaka? Laba! Effumu lye n’ensumbi ye biruwa?’

Sawulo azuukuka. Akimanya nti eryo lye ddoboozi lya Dawudi, era abuuza: ‘Ye gwe, Dawudi?’ Osobola okulaba Sawulo ne Abuneeri wansi awo?

‘Yee, mukama wange kabaka,’ bw’atyo Dawudi bw’addamu Sawulo. Dawudi abuuza: ‘Lwaki ogezaako okunkwata? Kibi ki kye nkukoze? Effumu lyo liirino, Ai kabaka. Tuma omu ku basajja bo aliddukire.’

‘Nnyonoonye,’ bw’atyo Sawulo bw’agamba. ‘Nkoze eky’obusiru.’ Awo Dawudi atambula makubo ge, ne Sawulo addayo ewuwe. Naye Dawudi ayogera mu mutima gwe: ‘Lumu Sawulo alinzitta. Nteekwa okuddukira mu nsi y’Abafirisuuti.’ Era ekyo Dawudi ky’akola. Dawudi alimbalimba Abafirisuuti, n’abakkirizisa nti kati ali ku ludda lwabwe.

Oluvannyuma Abafirisuuti bagenda okulwana n’Abaisiraeri. Mu lutalo, Sawulo ne Yonasaani battibwa. Kino kinakuwaza nnyo Dawudi, era n’awandiika oluyimba olulungi ennyo, mw’agambira: ‘Nkunakuwalidde nnyo, muganda wange Yonasaani. Ng’obadde wa mukwano nnyo gye ndi!’

Ng’ekyo kiwedde Dawudi addayo mu Isiraeri mu kibuga ky’e Kebbulooni. Wabaawo olutalo wakati w’abasajja abaagala mutabani wa Sawulo, Isubosesi, abeere kabaka n’abasajja abalala abaagala Dawudi okuba kabaka. Naye ku nkomerero abasajja ba Dawudi bawangula. Dawudi afuulibwa kabaka ng’aweza emyaka 30. Okumala emyaka musanvu n’ekitundu Dawudi afugira mu Kebbulooni. Abamu ku baana be yazaalira eyo bayitibwa Amunoni, Abusaalomu ne Adoniya.

Ekiseera kituuka Dawudi n’abasajja be ne bagenda okuwamba ekibuga ekirabika obulungi ekiyitibwa Yerusaalemi. Yowaabu, mutabani wa mwannyina wa Dawudi ayitibwa Zeruyiya, atwala obukulembeze mu lutalo. Dawudi asasula Yowaabu ng’amufuula omukulu w’eggye lye. Kati Dawudi atandika okufugira mu kibuga Yerusaalemi.

1 Samwiri 26:1-25; 27:1-7; 31:1-6; 2 Samwiri 1:26; 3:1-21; 5:1-10; 1 Ebyomumirembe 11:1-9.

Ebibuuzo