Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Emitawaana mu Nnyumba ya Dawudi

Emitawaana mu Nnyumba ya Dawudi

OLUGERO 62

Emitawaana mu Nnyumba ya Dawudi

NGA Dawudi atandise okufugira mu Yerusaalemi, Yakuwa awa eggye lye obuwanguzi bungi ku balabe baabwe. Yakuwa yali asuubizza okuwa Abaisiraeri ensi y’e Kanani. Era kati, olw’obuyambi bwa Yakuwa, ensi yonna eyabasuubizibwa erwaddaaki n’efuuka yaabwe.

Dawudi mufuzi mulungi. Ayagala nnyo Yakuwa. N’olwekyo ekintu ky’asookerako okukola ng’amaze okuwamba Yerusaalemi kwe kuleeta essanduuko ya Yakuwa ey’endagaano. Era ayagala okuzimba yeekaalu omw’okugiteeka.

Dawudi bw’akula, akola ensobi ennene. Dawudi akimanyi nti kikyamu okutwala ekintu ky’omuntu omulala. Naye akawungeezi kamu ng’ali waggulu ku lubiri lwe, atunula wansi n’alaba omukazi alabika obulungi ennyo. Erinnya lye ye Basuseba, era omwami we omu ku baserikale be ayitibwa Uliya.

Dawudi ayagala nnyo Basuseba era asaba bamuleete mu lubiri lwe. Omwami we agenze kulwana. Dawudi yeebaka naye era oluvannyuma omukazi akizuula nti agenda kuzaala mwana. Dawudi yeeraliikirira nnyo era atumira omukulu w’eggye lye Yowaabu ateeke Uliya mu kifo eky’omu maaso mu lutalo w’asobola okuttirwa. Uliya ng’afudde, Dawudi awasa Basuseba.

Yakuwa asunguwalira nnyo Dawudi. Bw’atyo atuma omuweereza we Nasani amutegeeze ebibi bye. Osobola okulaba Nasani awo ng’ayogera ne Dawudi. Dawudi anakuwala nnyo olw’ekyo ky’akoze, era Yakuwa tamutta. Naye Yakuwa agamba: ‘Olw’okuba okoze ebintu bino ebibi, ojja kubeera n’emitawaana mingi mu nnyumba yo.’ Era nga Dawudi afuna emitawaana mingi nnyo!

Okusooka, mutabani wa Basuseba afa. Ate era mutabani wa Dawudi omukulu ayitibwa Amunoni akwata mwannyina Tamali. Mutabani wa Dawudi Abusaalomu anyiiga nnyo olw’ekikolwa kino n’atta Amunoni. Oluvannyuma, Abusaalomu ayagalibwa abantu bangi, era yeefuula kabaka. Mu nkomerero, Dawudi awangula Abusaalomu mu lutalo, era Abusaalomu attibwa. Yee, Dawudi afuna emitawaana mingi nnyo.

Bino byonna nga bigenda mu maaso, Basuseba azaala omwana ayitibwa Sulemaani. Dawudi ng’akaddiye era nga mulwadde, mutabani we Adoniya ayagala okwefuula kabaka. Dawudi agamba kabona ayitibwa Zadooki okufuka amafuta ku mutwe gwa Sulemaani okulaga nti Sulemaani y’ajja okufuuka kabaka. Ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo Dawudi afa ng’aweza emyaka 70 egy’obukulu. Yafugira Isiraeri emyaka 40, naye kati Sulemaani ye kabaka wa Isiraeri.

2 Samwiri 11:1-27; 12:1-18; 1 Bassekabaka 1:1-48.

Ebibuuzo