Kabaka Sulemaani ow’Amagezi
OLUGERO 63
Kabaka Sulemaani ow’Amagezi
SULEMAANI aba akyali mutiini w’afuukira kabaka. Ayagala nnyo Yakuwa, era agoberera amagezi amalungi kitaawe Dawudi ge yamuwa. Yakuwa asanyukira Sulemaani, era ekiro kimu okuyitira mu kirooto amugamba: ‘Sulemaani, kiki ky’oyagala nkuwe?’
Sulemaani addamu: ‘Yakuwa Katonda wange, nkyali muto era simanyi kufuga. N’olwekyo mpa amagezi nsobole okufuga abantu bo mu ngeri entuufu.’
Yakuwa asanyukira Sulemaani ky’asaba. Bwe kityo agamba: ‘Olw’okuba osabye magezi so si kuwangaala oba bugagga, nja kukuwa amagezi okusinga omuntu yenna eyali abaddewo. Naye era nja kukuwa ne by’otasabye, obugagga n’ekitiibwa.’
Oluvannyuma lw’ekiseera kitono abakazi babiri bajja eri Sulemaani n’ekizibu eky’amaanyi. ‘Omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu,’ omu ku bo annyonnyola. ‘Nnazaala omwana ow’obulenzi, ne wayitawo ennaku bbiri naye n’azaala omwana ow’obulenzi. Ekiro ekimu omwana we n’afa. Naye bwe nnali nneebase, n’ateeka omwana we afudde okumpi nange n’atwalamu omwana wange. Bwe nnagolokoka ne ntunuulira omwana afudde, nnalaba nga si ye wange.’
Omukazi omulala n’agamba: ‘Nedda! Omwana omulamu ye wange, omufu ye wuwe!’ Omukazi eyasooka addamu: ‘Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange!’ Eno y’engeri abakazi gye bakaayanamu. Sulemaani anaakola ki?
Atumya ekitala, era bwe kireetebwa, agamba: ‘Salamu omwana omulamu ebitundu bibiri, buli mukazi omuwe ekitundu kimu.’
‘Nedda!’ maama w’omwana yennyini agamba. ‘Nkwegayiridde totta mwana. Mumuwe!’ Naye omukazi oli omulala agamba: ‘Tomuwa omu ku ffe; musalemu ebitundu bibiri.’
Mu nkomerero Sulemaani ayogera: ‘Totta mwana! Muwe omukazi eyasoose. Ye maama w’omwana.’ Sulemaani amanyi kino kubanga maama w’omwana yennyini ayagala nnyo omwana we ne kiba nti mwetegefu okumuwa omukazi omulala aleme kuttibwa. Abantu bwe bawulira engeri Sulemaani gy’asonjoddemu ekizibu kino, basanyuka nnyo okubeera ne kabaka ow’amagezi bw’atyo.
Mu bufuzi bwa kabaka Sulemaani, Katonda awa abantu omukisa ettaka lyabwe ne lisobola okubala ennyo eŋŋaano ne sayiri, emizabbibu n’ettiini era n’eby’okulya ebirala bingi. Abantu bambala engoye ennungi era babeera mu nnyumba ennungi. Waliwo buli kintu ekirungi ekimala buli muntu.
1 Bassekabaka 3:3-28; 4:29-34.