Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Alonda Dawudi

Katonda Alonda Dawudi

OLUGERO 57

Katonda Alonda Dawudi

OYINZA okulaba ekibaddewo? Omulenzi awonyezza akaliga kano akato okuva ku ddubu. Eddubu lyajja ne litwala akaliga era lyali ligenda kukalya. Naye omulenzi yaliwondera, n’awonya akaliga okuva mu kamwa k’eddubu. Era eddubu bwe lyayimuka, omulenzi yalikuba n’alitta! Ku mulundi omulala yawonya endiga okuva ku mpologoma. Omulenzi ono si muzira? Omumanyi?

Ono ye Dawudi omuto. Abeera mu kibuga kya Besirekemu. Jjajjaawe ye Obedi, mutabani wa Luusi ne Bowaazi. Obajjukira? Era taata wa Dawudi ye Yese. Dawudi alabirira endiga za taata we. Dawudi yazaalibwa nga wayiseewo emyaka 10 okuva Yakuwa bwe yalonda Sawulo okuba kabaka.

Ekiseera kituuka Yakuwa n’agamba Samwiri: ‘Twala agamu ku mafuta ag’enjawulo ogende mu nnyumba ya Yese e Besirekemu. Nnonze omu ku batabani be okubeera kabaka.’ Samwiri bw’alaba mutabani wa Yese omukulu ayitibwa Eriyaabu, ayogera yekka mu mutima gwe: ‘Mazima ddala ono Yakuwa gw’alonze.’ Naye Yakuwa amugamba: ‘Totunuulira buwanvu na ndabika ye nnungi. Simulonze kuba kabaka.’

Yese ayita mutabani we omulala ayitibwa Abinadaabu era n’amuleeta eri Samwiri. Naye Samwiri agamba: ‘Nedda, n’ono Yakuwa tamulonze.’ Yese addako n’aleeta mutabani we Samma. ‘Nedda, n’oyo Yakuwa tamulonze,’ bw’atyo Samwiri bw’agamba. Yese aleetera Samwiri batabani be musanvu, naye Yakuwa n’atalondako n’omu. ‘Bano be balenzi bokka b’olina?’ Samwiri abuuza.

‘Ekyaliyo asingayo obuto,’ bw’atyo Yese bw’agamba. ‘Naye ali ku ttale alunda ndiga.’ Dawudi bw’aleetebwa, Samwiri alaba nti mulenzi alabika bulungi. ‘Ye wuuyo,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba. ‘Mufukeeko amafuta.’ Era ekyo Samwiri ky’akola. Ekiseera kijja kutuuka Dawudi afuuke kabaka wa Isiraeri.

1 Samwiri 17:34, 35; 16:1-13.

Ebibuuzo