Lwaki Dawudi Alina Okudduka
OLUGERO 59
Lwaki Dawudi Alina Okudduka
OLUVANNYUMA lwa Dawudi okutta Goliyaasi, omukulu w’eggye lya Isiraeri ayitibwa Abuneeri amuleeta ewa Sawulo. Sawulo asanyukira nnyo Dawudi. Amufuula omukulu mu ggye lye era n’amutwala abeere mu nnyumba ya kabaka.
Oluvannyuma, ng’eggye likomyewo okuva okulwanyisa Abafirisuuti, abakazi batandika okuyimba: ‘Sawulo asse nkumi na nkumi, naye Dawudi asse mitwalo na mitwalo.’ Kino kikwasa Sawulo obuggya, kubanga Dawudi aweereddwa ekitiibwa kingi okusinga Sawulo. Naye mutabani wa Sawulo ayitibwa Yonasaani takwatibwa buggya. Ayagala nnyo Dawudi, era ne Dawudi ayagala nnyo Yonasaani. Bombi beeyama okusigala nga ba mukwano.
Dawudi akuba bulungi ennanga, era Sawulo ayagala nnyo ennyimba z’akuba. Naye lumu obuggya bwa Sawulo bumuleetera okukola ekintu ekibi ennyo. Nga Dawudi akuba ennanga, Sawulo akwata effumu lye n’alikanyuga, ng’agamba: ‘Nja kutunga Dawudi mu kisenge!’ Naye Dawudi alyewoma ne lifumita ebbali. Oluvannyuma Dawudi yeewoma effumu lya Sawulo omulundi ogw’okubiri. Dawudi kati akitegeera nti ateekwa okwegendereza.
Ojjukira obweyamo Sawulo bwe yakola? Yagamba nti yandiwadde muwala we omusajja eyandise Goliyaasi. Mu nkomerero Sawulo agamba Dawudi nti ayinza okutwala muwala we Mikali, naye okusooka ateekwa okutta abalabe Abafirisuuti 100. Kirowoozeko ekyo! Sawulo asuubira nti Abafirisuuti bajja kutta Dawudi. Naye balemwa, n’olwekyo Sawulo awa Dawudi muwala we okuba mukyala we.
Lumu Sawulo agamba Yonasaani awamu n’abaddu be bonna nti ayagala kutta Dawudi. Naye Yonasaani agamba kitaawe: ‘Tokola kabi konna ku Dawudi. Talina kibi kyonna kye yali akukoze. Wabula, buli kintu kyonna ky’akoze kikuganyudde nnyo. Yateeka obulamu bwe mu kabi bwe yatta Goliyaasi, era bwe wakiraba, wasanyuka.’
Sawulo awuliriza mutabani we, era asuubiza obutakola Dawudi kabi konna. Dawudi akomezebwawo, era n’addamu okuweereza Sawulo mu nnyumba ye nga bwe yali akola mu kusooka. Kyokka, lumu nga Dawudi akuba ennyimba, Sawulo addamu okukanyugira Dawudi effumu. Dawudi alyewoma, era effumu lifumita ekisenge. Guno mulundi gwa kusatu! Dawudi akimanya nti kati alina okudduka!
Ekiro ekyo Dawudi agenda mu nnyumba ye. Naye Sawulo atuma abasajja okumutta. Mikali amanyi kitaawe ky’ateekateeka okukola. N’olwekyo agamba mwami we: ‘Singa toogende ekiro, enkya ojja kuttibwa.’ Ekiro ekyo Mikali ayamba Dawudi okudduka ng’ayita mu ddirisa. Okumala emyaka nga musanvu Dawudi alina okwekweka mu bifo eby’enjawulo Sawulo aleme okumuzuula.