Obwakabaka Bwawuddwamu
OLUGERO 65
Obwakabaka Bwawuddwamu
OMANYI lwaki omusajja ono ayuzaamu ekyambalo kye? Yakuwa yamugamba akikole. Omusajja ono nnabbi wa Katonda ayitibwa Akiya. Omanyi nnabbi ky’ali? Ye muntu Katonda gw’abuulira ebigenda okubaawo mu maaso.
Wano Akiya ayogera ne Yerobowaamu. Yerobowaamu ye musajja Sulemaani gwe yalonda okukulira egimu ku mirimu gye egy’okuzimba. Akiya bw’asisinkana Yerobowaamu wano mu kkubo, Akiya akola ekintu ekyewuunyisa. Yeeyambula ekyambalo kye ekippya era n’akiyuzaamu ebitundu 12. Agamba Yerobowaamu: ‘Twalako ebitundu 10.’ Omanyi lwaki Akiya awa Yerobowaamu ebitundu 10?
Akiya annyonnyola nti Yakuwa agenda kuggyako Sulemaani obwakabaka. Agamba nti Yakuwa agenda kuwa Yerobowaamu ebika 10. Kino kitegeeza nti mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu, ajja kusigaza ebika bibiri byokka eby’okufuga.
Sulemaani bw’awulira ekyo Akiya ky’agambye Yerobowaamu, asunguwala nnyo. Agezaako okutta Yerobowaamu. Naye Yerobowaamu addukira e Misiri. Oluvannyuma lw’ekiseera Sulemaani afa. Abadde kabaka okumala emyaka 40, naye kati mutabani we Lekobowaamu afuuka kabaka. Ng’ali e Misiri Yerobowaamu awulira nti Sulemaani afudde, bwe kityo akomawo mu Isiraeri.
Lekobowaamu si kabaka mulungi. Ayisa bubi nnyo abantu n’okusinga kitaawe Sulemaani. Yerobowaamu n’abasajja abalala abakulu bagenda eri Kabaka Lekobowaamu ne bamusaba abeere mulungi eri abantu. Naye Lekobowaamu tawuliriza. Mu butuufu, yeeyongera okubayisa obubi n’okusinga okusooka. Bwe kityo abantu bafuula Yerobowaamu kabaka ow’ebika 10, naye ebika ebibiri ekya Benyamini n’ekya Yuda bisigaza Lekobowaamu nga kabaka waabwe.
Yerobowaamu tayagala bantu kugenda mu Yerusaalemi okusinziza mu yeekaalu ya Yakuwa. N’olwekyo akola ennyana bbiri eza zaabu era abantu ab’ebika 10 batandika okuzisinza. Mangu ddala, ensi ejjula obumenyi bw’amateeka n’ettemu.
Ne mu bwakabaka obw’ebika ebibiri eriyo emitawaana. Nga teginnawera myaka etaano kasookedde Lekobowaamu afuuka kabaka, kabaka wa Misiri ajja okulwanagana ne Yerusaalemi. Atwala eby’obugagga bingi okuva mu yeekaalu ya Yakuwa. Bwe kityo yeekaalu emala akaseera katono ng’eri mu mbeera gye yalimu nga yaakazimbibwa.
1 Bassekabaka 11:26-43; 12:1-33; 14:21-31.