Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sulemaani Azimba Yeekaalu

Sulemaani Azimba Yeekaalu

OLUGERO 64

Sulemaani Azimba Yeekaalu

NGA Dawudi tannafa, yawa Sulemaani pulaani okuva eri Katonda ey’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwe, Sulemaani atandika okuzimba yeekaalu, era kitwala emyaka musanvu n’ekitundu okugimaliriza. Enkumi n’enkumi z’abasajja benyigira mu kuzimba yeekaalu era ekizimbe kino kimalawo ssente nnyingi nnyo. Kiri bwe kityo lwa kuba zaabu ne ffeeza ebikozesebwa bingi nnyo.

Yeekaalu erimu ebisenge bibiri ebikulu, nga bwe kyali mu weema. Naye ebisenge bino bisinga ebya weema emirundi ebiri obunene. Sulemaani ateeka essanduuko y’endagaano mu kisenge eky’omunda ekya yeekaalu, era ebintu ebirala ebyabanga mu weema biteekebwa mu kisenge ekirala.

Nga yeekaalu ewedde, wabeerawo okujaguza okw’amanyi. Sulemaani afukamira mu maaso ga yeekaalu era n’asaba, nga bw’oyinza okulaba mu kifaananyi. ‘N’eggulu si ddene ekimala okukuwanirira,’ Sulemaani agamba Yakuwa, ‘n’olwekyo yeekaalu eno nga ntono nnyo okukuwanirira. Naye, Ai Katonda wange, nkwegayiridde wuliriza abantu bo bwe basabanga nga bali mu kifo kino.’

Sulemaani ng’amaze okusaba, omuliro guva mu ggulu. Gwokya ebiweebwayo eby’ensolo ebyategekeddwa. Era ekitangaala eky’amaanyi okuva eri Yakuwa kijjula mu yeekaalu. Kino kiraga nti Yakuwa awuliriza, era nti asanyukidde yeekaalu n’okusaba kwa Sulemaani. Yeekaalu kati edda mu kifo kya weema, ng’ekifo abantu gye bajja okusinza.

Okumala ekiseera kiwanvu Sulemaani afuga mu ngeri ey’amagezi, era abantu basanyufu. Naye Sulemaani awasa abakazi bangi abatasinza Yakuwa okuva mu nsi endala. Oyinza okulaba omu ku bo ng’asinza ekifaananyi? Mu nkomerero abakazi ba Sulemaani naye bamuleetera okusinza ba katonda abalala. Omanyi ekibaawo Sulemaani bw’akola kino? Alekera awo okuyisa abantu mu ngeri ey’ekisa. Afuuka mukambwe, era abantu babulwa essanyu.

Kino kireetera Yakuwa okusunguwalira Sulemaani, era amugamba: ‘Nja kukuggyako obwakabaka mbuwe omusajja omulala. Kino sijja kukikola mu kiseera ky’obulamu bwo, naye mu kiseera ky’obufuzi bwa mutabani wo. Naye abantu b’omu bwakabaka bonna sijja kubaggya ku mutabani wo.’ Ka tulabe engeri kino gye kibaawo.

1 Ebyomumirembe 28:9-21; 29:1-9; 1 Bassekabaka 5:1-18; 2 Ebyomumirembe 6:12-42; 7:1-5; 1 Bassekabaka 11:9-13.

Ebibuuzo