Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yona n’Ekyennyanja Ekinene

Yona n’Ekyennyanja Ekinene

OLUGERO 70

Yona n’Ekyennyanja Ekinene

LABA omusajja ali mu mazzi. Ali mu buzibu bwa maanyi, si bwe kiri? Ekyennyanja kinaatera okumumira! Omusajja ono omumanyi? Erinnya lye ye Yona. Ka tulabe engeri gye yatuuka mu buzibu obw’amaanyi bwe butyo.

Yona nnabbi wa Yakuwa. Nga tewannayita kiseera kiwanvu kasookedde nnabbi Erisa afa, Yakuwa agamba Yona: ‘Genda mu kibuga ekinene ekya Nineeve. Obubi bw’abantu eyo bungi nnyo, era njagala oyogere nabo ku nsonga eyo.’

Naye Yona tayagala kugenda. N’olwekyo agenda mu lyato eryali ligenda mu kifo ekirala ekitali Nineeve. Ekikolwa kya Yona eky’okudduka Yakuwa takisanyukira. Bwe kityo Aleeta omuyaga ogw’amaanyi. Gwa maanyi nnyo ne kiba nti n’eryato lyagala kubbira. Abalunnyanja batya nnyo era ne bakaabirira bakatonda baabwe okubayamba.

Mu nkomerero Yona abagamba: ‘Nsinza Yakuwa, Katonda eyakola eggulu n’ensi. Era nziruka olw’obutaagala kukola ekyo Yakuwa ky’aŋŋambye okukola.’ N’olwekyo abalunnyanja bamubuuza: ‘Tukukole tutya okuziyiza omuyaga?’

‘Munsuule mu nnyanja, era ennyanja ejja kuteeka nate,’ bw’atyo Yona bw’agamba. Abalunnyanja tebaagala kukola bwe batyo, naye omuyaga bwe gweyongera balwaddaaki ne basuula Yona mu nnyanja. Amangu ddala omuyaga ne gukoma, era ennyanja n’eteeka nate.

Nga Yona akkirira wansi mu mazzi, ekyennyanja ekinene kimumira. Naye tafa. Okumala ennaku ssatu abeera mu lubuto lw’ekyennyanja. Yona yejjusa olw’okuba teyagondera Yakuwa n’agenda e Nineeve. Omanyi ky’akola?

Yona asaba Yakuwa okumuwa obuyambi. Awo Yakuwa aleetera ekyennyanja okusesema Yona ku lukalu. Oluvannyuma lw’ekyo Yona agenda e Nineeve. Kino tekituyigiriza obukulu bw’okukola byonna Yakuwa by’agamba?

Ekitabo kya Yona.

Ebibuuzo