Omukono Guwandiika ku Kisenge
OLUGERO 78
Omukono Guwandiika ku Kisenge
KIKI ekigenda mu maaso? Abantu bali ku mbaga ennene. Kabaka wa Babulooni ayise abagenyi abakulu lukumi. Bakozesa ebikopo ebya zaabu n’ebya feeza ebyaggibwa mu yeekaalu ya Yakuwa e Yerusaalemi. Naye, amangu ddala, engalo z’omukono gw’omuntu zirabika mu bbanga ne zitandika okuwandiika ku kisenge. Buli omu atya nnyo.
Berusazza, muzzukulu wa Nebukadduneeza, kati ye kabaka. Alagira abasajja be abagezigezi baleetebwe. ‘Omuntu yenna asobola okusoma ebigambo bino n’ambuulira kye bitegeeza,’ bw’atyo kabaka bw’agamba, ‘ajja kuweebwa ebirabo bingi era afuulibwe omuntu ow’okusatu mu bukulu mu bwakabaka buno.’ Naye tewali n’omu ku basajja be abagezigezi asobola okusoma ebiwandiikiddwa ku kisenge wadde okutegeeza amakulu gaabyo.
Maama wa kabaka awulira oluyogaano era ajja mu kisenge ekinene ekiriirwamu. ‘Totya,’ bw’atyo bw’agamba kabaka. ‘Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo amanyi bakatonda abatukuvu. Jjajjaawo Nebukadduneeza bwe yali kabaka, yamufuula mukulu w’abasajja be bonna abagezigezi. Erinnya lye ye Danyeri. Mutumye, era ajja kukubuulira kye bitegeeza.’
Amangu ago Danyeri aleetebwa. Oluvannyuma lw’okugaana ebirabo, Danyeri annyonnyola lwaki Yakuwa yaggya jjajja wa Berusazza, Nebukadduneeza, ku bwakabaka. ‘Yali wa malala,’ bw’atyo Danyeri bw’agamba. ‘Era Yakuwa yamubonereza.’
‘Naye ggwe,’ Danyeri agamba Berusazza, ‘wamanya byonna ebyamutuukako, naye era oli wa malala nga Nebukadduneeza bwe yali. Oleese ebikopo n’ebibya ebyava mu yeekaalu ya Yakuwa era obinywereddemu. Otenderezza bakatonda abaakolebwa mu miti n’amayinja, era towadde kitiibwa Mutonzi waffe ow’Ekitalo. Eyo ye nsonga lwaki Katonda atumye omukono okuwandiika ebigambo bino.’
‘Bino bye biwandiikiddwa,’ bw’atyo Danyeri bw’agamba: ‘MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN.’
‘MENE kitegeeza nti Katonda abaze ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza. TEKEL kitegeeza nti ogereddwa mu kigera era n’osangibwa nga toli mulungi n’akamu. UFARSIN kitegeeza nti obwakabaka bwo, buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.’
Nga Danyeri akyayogera, Abameedi n’Abaperusi batandika okulumba Babulooni. Bawamba ekibuga ne batta Berusazza. Ebiwandiikiddwa ku kisenge bituukirira ekiro ekyo kyennyini! Naye kati kiki ekigenda okutuuka ku Baisiraeri? Tujja kukizuula mu bbanga ttono, naye okusooka ka tulabe ekituuka ku Danyeri.