Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okununulibwa Okuva mu Misiri Okutuuka ku Kabaka wa Isiraeri Eyasooka

Okununulibwa Okuva mu Misiri Okutuuka ku Kabaka wa Isiraeri Eyasooka

EKITUNDU 3

Okununulibwa Okuva mu Misiri Okutuuka ku Kabaka wa Isiraeri Eyasooka

Musa yakulembera Abaisiraeri okuva mu buwambe e Misiri okutuuka ku Lusozi Sinaayi, Katonda we yabaweera amateeka ge. Oluvannyuma, Musa yasindika abasajja 12 okuketta ensi y’e Kanani. Naye 10 ku bo baakomyawo amawulire mabi. Baaleetera abantu okwagala okuddayo e Misiri. Olw’obutaba na kukkiriza, Katonda yababonereza ng’abaleetera okubundabundira mu ddungu okumala emyaka 40.

Mu nkomerero, Yoswa yalondebwa okukulembera Abaisiraeri okutuuka mu nsi y’e Kanani. Okubayamba okuwamba ensi eyo, Yakuwa yakola ebyamagero. Yaleetera Omugga Yoludaani okulekera awo okukulukuta, bbugwe wa Yeriko okugwa, n’enjuba obutaseguka mu kifo okumala olunaku lulamba. Nga wayiseewo emyaka mukaaga, ensi yaggibwa ku Bakanani.

Okutandikira ku Yoswa, Isiraeri yafugibwa abalamuzi okumala emyaka 356. Bangi tubayigako, nga mw’otwalidde Balaki, Gidyoni, Yekosofaati, Samusooni ne Samwiri. Era tusoma ku bakyala nga Lakabu, Debola, Yayeeri, Luusi, Nawomi ne Derira. Mu kutwalira awamu, Ekitundu EKY’OKUSATU kyogera ku myaka 396 egy’ebyafaayo.