Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abagibyoni ab’Amagezi

Abagibyoni ab’Amagezi

OLUGERO 48

Abagibyoni ab’Amagezi

KATI ebibuga bingi mu Kanani byetegeka okulwanyisa Isiraeri. Birowooza nti biyinza okuwangula. Naye bo abantu b’omu kibuga kya Gibyoni ekiriraanyewo tebalowooza bwe batyo. Bakkiriza nti Katonda ayamba Abaisiraeri, era tebaagala kulwanyisa Katonda. Kati olwo, omanyi Abagibyoni kye bakola?

Basalawo okulabika ng’abava ewala. Bwe kityo abamu ku basajja bambala engoye enjulifu n’engatto ezikutuse. Batikka endogoyi zaabwe ensawo enkadde, ne batwala emigaati egikutte obukuku. Awo ne bagenda ewa Yoswa ne bamugamba nti: ‘Tuvudde mu nsi ey’ewala, kubanga twawulira ku Katonda wammwe ow’amaanyi, Yakuwa. Twawulira ebintu byonna bye yabakolera mu Misiri. N’olwekyo abakulembeze baffe baatugamba tuteeketeeke emmere ey’okutwala ku lugendo tujje tubagambe nti: “Tuli baddu bammwe. Mutusuubize nti temujja kulwana naffe.” Muyinza n’okulaba nti engoye zaffe zikutuse olw’olugendo oluwanvu era n’emmere yaffe ekukudde.’

Yoswa n’abakulembeze abalala bakkiriza ebyo Abagibyoni bye babagamba. N’olwekyo basuubiza obutabalwanyisa. Naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu bakizuula nti Abagibyoni babeera kumpi awo.

Yoswa ababuuza nti: ‘Lwaki mwatugamba nti muva mu nsi ey’ewala?’

Abagibyoni baddamu: ‘Twakikola kubanga twawulira nti Katonda wammwe Yakuwa yabasuubiza okubawa ensi yonna eya Kanani. Bwe kityo, twatya nti mujja kututta.’ Naye Abaisiraeri bakuuma ekisuubizo kyabwe, era tebatta Bagibyoni. Wabula babafuula baddu baabwe.

Kabaka wa Yerusaalemi asunguwala nnyo kubanga Abagibyoni bakoze endagaano y’emirembe n’Abaisiraeri. Bw’atyo agamba bakabaka abalala bana: ‘Mujje munyambe okulwanyisa Abagibyoni.’ Era ekyo bakabaka bano abataano kye bakola. Abagibyoni baali ba magezi okukola emirembe ne Isiraeri, kati ekireetedde bakabaka bano abalala okujja okubalwanyisa? Tujja kulaba.

Yoswa 9:1-27; 10:1-5.

Ebibuuzo