Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakessi 12

Abakessi 12

OLUGERO 38

Abakessi 12

TUNUULIRA ebibala abasajja bano bye basitudde. Weetegereze obunene bw’ekirimba ekyo eky’ezabbibu. Kyetaagisa abasajja babiri okukisitulira ku muti. Era laba ettiini n’amakomamawanga. Ebibala bino ebirungi bivudde wa? Bivudde mu nsi y’e Kanani. Jjukira nti, Kanani ye nsi Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo gye baabeerangamu. Naye olw’enjala eyaliyo, Yakobo, awamu n’amaka ge, baasengukira mu Misiri. Kaakati, nga wayiseewo emyaka nga 216, Musa akulembedde Abaisiraeri okuddayo mu Kanani. Batuuse mu ddungu mu kifo ekiyitibwa Kadesi.

Abantu ababi babeera mu nsi ya Kanani. N’olwekyo, Musa asindikayo abakessi 12, era n’abagamba: ‘Muzuule omuwendo gw’abantu ababeerayo, n’amaanyi gaabwe bwe gali. Muzuule obanga ettaka lyayo ddungi okusimbako ebintu. Era mutuleeterayo ku bibala ebiriyo’.

Abakessi bwe bakomawo e Kadesi, bategeeza Musa: ‘Ensi nnungi nnyo.’ Era okukikakasa, balaga Musa ebimu ku bibala bye baleese. Naye 10 ku bakessi abo bagamba: ‘Abantu ababeerayo banene nnyo era ba maanyi. Tujja kuttibwa singa tugezaako okutwala ensi eyo.’

Abaisiraeri batya nnyo bwe bawulira bino. ‘Kyandisinzeeko singa twafiira e Misiri oba okufiira wano mu ddungu,’ bwe batyo bwe bagamba. ‘Tujja kuttibwa mu lutalo, era bakazi baffe n’abaana baffe bajja kuwambibwa. Tulonde omukulembeze omuppya adde mu kifo kya Musa, tuddeyo e Misiri!’

Naye ababiri ku bakessi beesiga Yakuwa, era bagezaako okukkakkanya abantu. Bayitibwa Yoswa ne Kalebu. Bagamba: ‘Temutya. Yakuwa ali naffe. Kijja kuba kyangu okutwala ensi.’ Naye abantu tebawuliriza n’akamu. Baagala n’okutta Yoswa ne Kalebu.

Kino kinyiiza nnyo Yakuwa, era agamba Musa: ‘Tewali n’omu ku bantu aweza emyaka 20 n’okusingawo ajja okuyingira mu nsi y’e Kanani. Baalaba ebyamagero bye nnakola e Misiri ne mu ddungu, naye era tebanneesiga. N’olwekyo bajja kubeera mu ddungu emyaka 40 okutuuka omuntu asembayo bw’alifa. Yoswa ne Kalebu be bokka abajja okuyingira mu nsi y’e Kanani.’

Okubala 13:1-33; 14:1-38.

Ebibuuzo