Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Akayana aka Zaabu

Akayana aka Zaabu

OLUGERO 36

Akayana aka Zaabu

EE, EE! Abantu bakola ki kati? Basinza akayana! Lwaki bakola bwe bati?

Musa bw’abeera ku lusozi okumala ebbanga ddene, abantu bagamba: ‘Tetumanyi kituuse ku Musa. N’olwekyo, ka twekolere katonda atukulembere okuva mu nsi eno.’

‘Kale,’ bw’atyo muganda wa Musa, Alooni, bw’agamba. ‘Muggyeko empeta za zaabu ez’oku matu gammwe muzindeetere.’ Abantu bwe bakikola, Alooni azisaanuusa n’akolamu akayana aka zaabu. Abantu ne bagamba: ‘Ono ye Katonda waffe eyatukulembera okuva e Misiri!’ Awo, Abaisiraeri ne bakola embaga ennene, era ne basinza akayana ako aka zaabu.

Yakuwa bw’akiraba, asunguwala nnyo. Bwe kityo agamba Musa: ‘Yanguwa oddeyo wansi. Abantu beeyisizza bubi nnyo. Beerabidde amateeka gange era bavvunamira akayana aka zaabu.’

Musa akka mangu okuva ku lusozi. Era bw’asembera, kino ky’alaba. Abantu bayimba era bazina nga bwe beetooloola akayana aka zaabu! Musa asunguwala nnyo n’asuula wansi ebipande by’amayinja ebiriko amateeka, era bibejjukamu obutundutundu bungi. Awo, atwala akayana aka zaabu n’akasaanuusa. Era akamementula ne kafuuka effuffuge.

Abantu bakoze ekintu ekibi ennyo. N’olwekyo, Musa alagira abasajja abamu okukwata ebitala byabwe. ‘Abantu ababi abasinzizza akayana aka zaabu balina okufa,’ bw’atyo Musa bw’agamba. Bwe kityo abasajja bano batta abantu 3,000! Kino tekitulaga nti tulina okuba abeegendereza ne tusinzanga Yakuwa yekka, so si bakatonda abalala ab’obulimba?

Okuva 32:1-35.

Ebibuuzo